TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Engeri omusajja gye yalumbye Paasita Bujingo n'amukuba ekigwo

Engeri omusajja gye yalumbye Paasita Bujingo n'amukuba ekigwo

By Lawrence Kitatta

Added 7th October 2018

PAASITA Bujingo yabadde akyayogera “Saba, saba, sabaaa….” Omusajja n’awamattuka mu bantu abangi abaabadde e Namboole, n’amuyoola n’amukuba ku ttaka!

Bugingo26 703x422

Ekyaddiridde kaabadde kasattiro ng’abayambi n’abaweereza mu Kkanisa ya House of Prayer Ministries balwana okutakkuluza omusajja ono ku Paasita.

Bujingo yabadde yaakajja ku katuuti era ng’akkiridde wansi mu kisaawe awuubira abantu mu kwebaza Katonda olw’okukikola ne bajjuza Namboole mu kusaba kwe baatuuma “Independence Night” okubeerawo buli mwaka, omusajja we yamulumbidde.

Omusajja yalabise ng’eyabadde yamwetegekedde edda era mu kumulumba yabuuse omulundi gumu ng’abakuumi tebategedde kigenda mu maaso.

Bujingo naye yeekanze ali ku ttaka era oluvannyuma yagambye nti amaanyi omusajja ge yakozesezza gaabadde mangi nnyo.

Abaserikale abaabadde bazze okunyweza obutebenkevu mu kisaawe e Namboole ku Lwokutaano nabo beegasse ku baweereza mu kukwata omusajja ono kyokka yabadde aweevuuma buweevuumi nga bye bamubuuza tabyanukula.

Abamu ku bagoberezi baamukubye era abamu obwedda bagamba abaserikale babamulekere bamukoleko ng’abamu bateebereza nti ono yabadde mulabe eyasindikiddwa Bapaasita abatakwatagana na Bujingo.

Bujingo bwe yavudde ku ttaka, yeetereezezza n’alinnya akatuuti wabula ng’awenyeramu katono era oluvannyuma embeera yazze mu nteeko n’asimbula essaala.

Oluvannyuma Bujingo yagambye nti yabadde wa mukisa obutatuusibwako buvune bwonna n’agattako nti, “Sifunyeeko yadde akataagule”.

Omusajja ono ataayogedde mannya ge ate nga talina bimwogerako bwe baamaze okumutaasa ku bantu yakwasiddwa poliisi eyabadde eduumirwa akulira poliisi y’e Bweyogerere, ASP Jonathan Atusingwize.

Oluvannyuma poliisi yamutadde mu kayumba kaayo ku kisaawe e Namboole naye bwe baalabye nga by’ayogera tebikwatagana ne basalawo ne bamuyimbula nga bamulagidde addeyo gye yavudde.

Waabaddewo okutya nti obulumbaganyi bwefanaanyirizaako obwaliwo e Namirembe, omusajja Herbert Kaddu bwe yalumba omulabirizi w’e Namirembe, Wilberforce Kityo Luwalira ng’abuulira ku katuuti mu kusaba kwa Paasika era nga ne gye buli eno Kaddu akyawerennemba n’emisango mu kkooti.

Bujingo oluvannyuma yagambye nti bwe yeetegerezza omusajja ono yateeberezza nti yabadde alinnyiddwaako emyoyo emibi kubanga abantu bwe batyo batera nnyo okweyuna Ekkanisa era bangi azze abasabira.

Atusingwize yagambye nti ng’oggyeeko omusajja ono eyalumbye Paasita, ebyokwerinda byabadde binywevu bulungi era tewali buzibu bulala bwatuuseewo.

Mu kusaba kuno okwabaddemu abantu abangi abajjuzza ekisaawe, Bujingo mwe yasinzidde okuvumirira ettemu erisusse mu ggwanga n’avumirira n’okusaddaaka abantu n’ajuliza abasamize be baakwatira e Kayunga gye baaziikula emirambo etaano.

Yalumbye ne Bapaasita b’agamba nti bamulima empindi ku mabega era yasinze kulumba Jackson Ssenyonga owa Christian Life Church e Bwaise gw’agamba nti amwogerera amafuukuule.

“Nze Bujingo siri muntu waakuvuganya nga bbo bye balimu era baalina ekirooto nti Kampala yenna waabwe be balina okumubeeramu naye we baviiridde mu by’okwenjeera nga Kampala tumuwambye,” Bujingo bwe yagambye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Muv1 220x290

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa...

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa Kennedy Kyakuwa

Reb2 220x290

Atiisatiisa okusobya ku Basisita...

Atiisatiisa okusobya ku Basisita lwa ttaka

Lab 220x290

Looya alaze ekiyinza okumalawo...

Looya alaze ekiyinza okumalawo enkalu z’abagagga ku bizimbe ebikaayanirwa

Deb2 220x290

Aba UPDF bateereddwa ku ssomero...

Aba UPDF bateereddwa ku ssomero eryayidde e Rakai

Leb2 220x290

Emmotoka mwe ntambulira etuuse...

Emmotoka mwe ntambulira etuuse okunsuza ku kkuno-Bp. Ssebaggala