TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Olulanyah alabudde ababaka ku nneeyisa: 'Mwegendereze, abalonzi bayinza obutabazza mu 2021

Olulanyah alabudde ababaka ku nneeyisa: 'Mwegendereze, abalonzi bayinza obutabazza mu 2021

By Muwanga Kakooza

Added 7th October 2018

OMUMYUKA wa sipiika Jacob Oulanyah alabudde ababaka okwegendereza ebikolwa n’enneeyisa yaabwe nga bakola emirimu gya palamenti n’agamba nti balina okukimanya nti kino kye kimu ku bijja okusalawo oba abalonzi babazza mu 2021.

Img20180403wa0025 703x422

‘’Tetwagala byaliwo mu 2016 kuddamu. Ababaka 80 buli 100 tebaakomezebwawo,’’ Oulanyah yagambye.

Yagambye nti ababaka balina okwefumintiriza nga bakola emirimu bakimanye nti  kye bakola kati kye kigenda okusalawo ebinabaawo mu 2021.

Yabadde asiibula palamenti eyagenze mu ggandaalo lya mwezi mulamba ogugenda n’okuzingiramu okukuza ameefuga g’eggwanga.

Yategeezezza nti ng’eggwanga likuza emyaka 56 bukyanga lyefuga liba likyali tto n’olwekyo ababaka balina okulaba ng’enkola y’emirimu omuli n’eya palamenti etambula bulungi.

Yabasoomozezza okwefuminitiriza kiki kye bakoledde Uganda. N’abuuza: ‘’Tukoze tutya okulaba ng’abantu bafuna eky’okulya, okuyamba abaana abawala, abalema n’abantu abalala nga tubateerawo embeera erongoosa obulamu bwabwe ?’’

Yagambye nti omulimu ababaka mu kifo ky’okwetaba mu kumalawo obutakanya obuba mu ggwanga ensonga olumu basajjula nsajjule.

’’Palamenti ebaddemu ebintu ebibobbya emitwe kyokka olumu mu kifo ky’okuyamba mu kibitereeza tusajjudde bisajjule,’’ bwe yagambye. N’akunga ababaka okukolerera emirembe nga bayisa amateeka agatereeza eggwanga sso ssi kulitabangula.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabakafitri1 220x290

Kabaka ayagalizza Abasiraamu Idd...

KABAKA Ronald Muwenda II alagidde Bannayuganda okukuuma emirembe n’okusonyiwagana mu kiseera kino ng’Abasiraamu...

Mknded4 220x290

Famire eziyiridde mu nnyumba nga...

Abasiraamu mu kibuga ky’e Mukono baaguddemu encukwe ku Iddi munnaabwe eyabadde akedde ku maliiri okufumba emmere...

Mknmm3 220x290

Ddereeva okuva e Mutukula asangiddwa...

Ddereeva okuva e Mutukula asangiddwa Mukono ng’alina Corona virus-atwaliddwa mu kalantiini n’abalala babiri be...

Ssaavasennyonga 220x290

Paasita Ssennyonga awaddeyo emmere...

Paasita Ssennyonga awaddeyo emmere ya bukadde 300 okudduukirira abali ku muggalo

Lockdown309 220x290

Eyali awola ssente azzeeyo mu nnimiro...

ENSWA bw'ekyusa amaaso naawe ng'envubo okyusa ne Charles Tamale envubo agikyusirizza mu nkumbi okubaako ettofaali...