
Mukhama ng’ayogera eri abaamawulire ng’abalaga ekkalaamu ya bamuzibe. Ku kkono ye Bp. Hannington Mutebi.
Mu lukuhhaana lwa bannamawulire olwabadde ku kitebe ky’ekitongole kino Bible House e Wandegeya mu Kampala, Medison Mugerwa omwogezi waakyo yategeezezza nti ekimu ku bigendererwa byabwe kwe kulaba nti ekigambo kya Katonda kituuka ku buli muntu.
Simon Peter Mukhama, Ssaabawandisi w’ekitongole kino yeebazizza Gavumenti olw’okuwagira emirimu gy’ekitongole kino ne baggya emisolo ku Bayibuli.
Omulabirizi omubeezi owa Kampala, Hannington Mutebi yeebazizza ababayambyeko okulaba nti emirimu gya ‘Uganda Bible Society’ gigenda mu maaso. Emikolo gy’okujaguza emyaka 50 gyabaddewo ku Lwamukaag