TOP

Paasita Bujingo afunye obukadde 300 e Namboole

By Deo Ganyana

Added 8th October 2018

OLUKUNG’AANA lwa Bujingo olwabadde e Namboole lwavuddemu ensimbi eziri mu bukadde 300.

Bugingo26 703x422

Paasita Bujingo ng'abuulira bwe yabadde e Namboole mu Independence Night mu kiro ky'Olwokutaano lwa wiiki ewedde

Paasita Bujingo eggulo yalaze embalirira ya ssente ze yakuhhanyizza mu lukuhhaana olw’abaddewo ku Lwoutaano e Namboole.

Ng’ayanjula embalirira mu kusaba okwabaddewo eggulo mu Kkanisa ye eya House of Prayer Ministries International e Makerere Kikoni, Aloysius Bujingo yayongedde okulangira basumba banne b’agamba nti basolooza ssente mu bagoberezi mu nkuhhaana ez’enjawulo ne bazikozesa awatali kulaga nnyingiza wadde ensaasaanya.

Bwe yamaze okwanjula ensimbi ezaasoloozeddwa, n’ayanjulira abagoberezi pulaani y’Ekkanisa gy’agamba nti yaakutuuza abantu 35,000 nga bagibaliridde okumalawo obukadde bwa ddoola 20 (mu za Uganda Obuwumbi obusukka 70).

Yagambye nti ebbaasa ez’okuzimba ekkanisa ezaagabiddwa e Namboole zaavuddemu 108,893,100/- ate mu birabo ne bakuhhaanyaamu 111,209,200/- Waliwo n’endala ezaaweereddwaayo mu ddoola, paawundi n’ensimbi z’ebweru endala ze yabadde tannagatta wabula nga zonna awamu ezaakuhhaanyiziddwa e Namboole zikunukkiriza obukadde 300.

Yalumbye abamu ku basumba banne be yayogeddeko nti babadde basiiba beetayirira abakungu mu KCCA nga baagala ereme kukakasa pulaani ya Kkanisa naye yabamezze.

Yagambye nti abamu ekibadde kibakozesa kino ffitina n’obuswavu bwe bagenda okufuna kubanga abamu bamaze emyaka mingi nga basolooza ssente mu bagoberezi kyokka ng’ekkanisa zaabwe tozaawula na biyumba bya mbizzi!

Yalangiridde olutalo ku musumba munne Jackson Ssenyonga owa Christian Life Church e Bwaise gw’agamba nti asusse okumwogerera amafuukuule.

“Nze nneerandizza nzekka, ndi ‘struggler’ era ndi ‘hustler’. Ekkanisa eno nze nnagitandika siringa Ssenyonga gwe baakwasa obukwasa ekkanisa ewedde okuzimba. Bw’aba ayagala lutalo, kati ndulangiridde tuttunke,” Bujingo bwe yagambye.

Yagambye nti waliwo abasumba ababadde balwanyisa olukuhhaana lw’e Namboole kubanga babadde bategekayo enkung'aana naye nga tebajjuza bantu nga bwe kyabadde ku luno.

Yayogedde ne ku musajja eyamulumbye e Namboole ng’abuulira n’amuyoola n’amukuba ku ttaka n’agamba nti tayinza kubuusa maaso ebiteeberezebwa nti yatumiddwa abamu ku basumba abamulwanyisa bamutuuseeko obulabe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ev1 220x290

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa...

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa

Mayinjangaayimba 220x290

Mayinja yeeganye eby'okuwagira...

Yayogedde ku nkolagana ye n’aba NRM n’agamba nti ali ku mulamwa gwa kubaperereza kwegatta ku kisinde kya People...

Wanga 220x290

Muwala wa kkansala owa S5 bamutuze...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kisowera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono mu kiro ekikeesezza olwa...

Malawo 220x290

Ab’ewa Kisekka batabukidde Gavt....

ABASUUBUZI b’ekiwayi kya ssentebe Robert Kasolo ewa Kisekka bawadde gavumenti obukwakkulizo ku kabineeti kye yayisa...

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...