TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abooluganda 5 bafiiridde mu kabenje ddekabusa e Wobulenzi: Kuliko n'omuyimbi wa Golden Band

Abooluganda 5 bafiiridde mu kabenje ddekabusa e Wobulenzi: Kuliko n'omuyimbi wa Golden Band

By Stuart Yiga

Added 8th October 2018

ABATUUZE b’e Wobulenzi mu disitulikiti y’e Luweero na buli kati bakyali mu kinyobero oluvannyuma lw’akabenje ddekabusa akaaguddewo ku Ssande ne kafiiramu abantu bafamire emu bataano n’omulala omu.

Kabenje1 703x422

Abooluganda abaafiiridde mu kabenje

Bya STUART YIGA

Ayogerera Poliisi mu ttundutundu lya Savanah, ASP Paul Kangave, agamba nti akabenje kano kaabaddemu mmotoka bbiri okwabadde loole ey’ekika kya FUSO nnamba UAR 162G ne Vitz nnamba UAS 163T.

Kangave era ategeezezza nti, abaafudde kuliko Isaac Mbogo, 32, Florence Nankumbi,28, Richard Lule,30,  ne Patience Najjuma, 28.

Kigambibwa nti akabenje kano kaavudde ku ddereeva wa Vitz eyabadde aweenyuka obuweewo okuva e Luweero ng’ayolekera Kampala.

“Yagezezzaako okuyisa lukululana mu katawuni e Wobulenzi  kyokka ng’ate waliwo n’emmotoka endala eyabadde eyisa kati mu kugezaako okusiba, mmotoka yayingiridde loole oluvannyuma ne yeefuula emirundi egiwera abantu bana ne bafiirawo ate abalala babiri ne bafiira mu ddwaliro lya Luweero Health Centre IV gye baabadde batwaliddwa okufuna obujjanjabi!”, omu ku beerabiddeko akabenje kano nga kagwawo bwe yategeezezza Bukedde.

Poliisi okuva e Wobulenzi emirambo gy’abagenzi yagigyeewo n’egitwala mu ddwaliro e Luweero, oluvannyuma negikwasibwa ab’engganda zaabwe okugiziika.

Kigambibwa nti abamu kubagenzi babadde bayimbi era nga balina oluganda ku muyimbi Meserch Semakula wamu ne Haruna Mubiru.

BAAKUZIIKIBWA MU NTAANA EMU

Abooluganda abataano (Najjuma owa Golden ye bamutwala Buwaate) babasimidde entaana emu mwe bagenda okubaziika.

Wabula bagenda kugyawulamu obusenge era eggulo baabadde batandise ku ntaana eno okugisima.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Jodan111 220x290

Dortmund enywezezza Sancho

Dortmund eyongedde Sancho endagaano n'emuweerako n'omusaala omusava.

Rashford111 220x290

Atendeka ManU agobye Pogba mu kukuba...

Solskjaer agamba nti Rashford y'alina okusooka okwesimba mu peneti za ManU ng'omuzannyi omulala tannagyesimbamu....

Buchanan asimbiddwa mu Kkooti y'amagye...

Omusubuuzi wa zaabu Samuel Buchanan asimbiddwa mu kkooti y’amagye n'avunaanibwa okusangibwa n’emmundu n'amassi...

Kanso1web 220x290

Olutalo e Nakawa; Bakansala ne...

AKALEEGA bikya akali wakati wa meeya wa Nakawa, Ronald Balimwezo ne bakansala kasinze kwetooloolera ku nsonga za...

Buchanan asimbiddwa mu kkooti y'amagye...

Omusubuuzi wa zaabu Samuel Buchanan asimbiddwa mu kkooti y’amagye n'avunaanibwa okusangibwa n’emmundu n'amassi...