TOP

Abakozi ba kkooti balabuddwa ku siriimu

By Musasi wa Bukedde

Added 8th October 2018

OMUWANDIISI ow’enkalakkalira mu kkooti, Kagole Kivumbi akuutidde abakozi ba kkooti okwewala ebikolwa ebibaleetera akawuka akalwaza siriimu n’okumusaasaanya.

Masha 703x422

Abamu ku bakozi ba kkooti nga bamalirizza okwejjukanya. Abatudde ku ddyo mu ssuuti ye mulamuzi Samuel Munobe.

Obubaka yabutisse omuwandiisi wa kkooti, Fred Muhindo Ngenyi mu musomo gw’okwejjukanya ku bulabe bwa siriimu ogwabadde e Luweero ku Nimrod Hotel wansi w’omulamwa, “Okumalawo abafa akawuka mu 2030”.

Gwetabiddwaamu abakozi ba kkooti y’e Luweero Nakaseke, Wobulenzi ne Nakasongola.

Enid Wamani akulira Aids Commission yagambye nti nga bayita mu kuyigiriza abantu okwewala siriimu, okubakubiriza okwekebeza, okuyigiriza ba maama obutamusiiga baana bato n’okuyamba abalwadde mu byensimbi, bakola ekisoboka okumala akawuka kano amaanyi.

Yategeezezza nti Bannayuganda 1,300,000 be balina akawuka kano, ate 54 be bafa siriimu buli lukya.

Yawadde essuubi nti we gunaatuukira omwaka 2030 abantu bajja kuba tebakyafa bulwadde buno kuba kye kiruubirirwa ky’ebitongole byonna ebibulwanyisa.

Omukolo gwetabiddwaako abeerangirira bwe balina akawuka omwabadde Dr. Stephen Watiti n’omuyimbi Moses Nsubuga amanyiddwa nga Super Charger.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Paska 220x290

Mukoka asse omukadde

Ekikangabwa kibuutikidde abatuuze ku kyalo Kaliisizo South mu Kalisizo Town Council mu disitulikiti y'e Kyotera,...

Fari1 220x290

Laba amaziga g’essanyu.

Munnakatemba era omuzannyi wa firimu Faridah Ndausi bamukoledde akabaga k'amazaalibwa nga takasuubira, akaabye...

Mbarara City ekutte Nkata ku nkoona...

Brian Ssenyondo akomezeddwawo okutwala Mbarara City mu maaso oluvannyuma lw'okukwata Nkata ku nkoona.

Buloba1 220x290

Blick afunzizza engule y'ezaakafubutuko...

Blick kati abuzaayo empaka za mirundi 2 (Kapeeka ne Boxing day)okulangirirwa nga kyampiyoni w'ezaakafubutuko....

Img3804webuse 220x290

Ekivvulu kya Toto kiri mu ggiya...

Ekivvulu ky'abaana ekya ToTo ekitegekebwa Vision Group kyengedde nga kati olwa December 8 lwe lulindirirwa lwokka...