TOP

Kabaka yasoose mu dduyiro e Kyaggwe

By Musasi wa Bukedde

Added 9th October 2018

KABAKA nga tannagenda ku mikolo gya Bulungibwansi e Ntenjeru, yasoose kukola dduyiro okwetooloola ekibuga.

Bene1 703x422

Bya MUSASI WAFFE
KABAKA nga tannagenda ku mikolo gya Bulungibwansi e Ntenjeru, yasoose kukola
dduyiro okwetooloola ekibuga.
 
Abantu be ab’omu ggombolola ya Ssaabaddu - Ntenjeru mu Kyaggwe abaamulabye
ng’afulumye Olubiri lwe ku ssaawa 12:30 n’atandika okukola dduyiro ng’ali n’abakuumi be baasanyuse okumulaba era bangi obwedda batemya ku bannaabwe nabo basobole okumulaba.
 
Kabaka Mutebi yayise mu bifo eby’enzigotta n’oluvannyuma n’adda ku
kkoolaasi era bwatyo n’atambula okudda mu Lubiri lwe ku ssaawa 1:30 ez’oku makya okwetegekera emikolo.
 
Oluvannyuma Beene yasimbye omuti ogw’ekijjukizo ku mbuga eno, okulamusa ku basajja. Bino olwawedde ne bamukwasa amakula agaavudde mu masaza ag’enjawulo.
 
Olwavudde wano yayolekedde ekisaawe awaabadde emikolo egy’oku ntikko.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Img0317webuse 220x290

Obuwempe bw’oku mmeeza mwe nzudde...

Okuluka obuwempe bw'oku mmeeza mwe nazuula omukisa gw'okukola ssente

Aktalewebuse 220x290

Ab'e Kamuli bakaaba lwa mbeera...

Embeera y'akatale ne ppaaka y'e Kamuli bitulemesezza okukola ssente

Isaakwebuse333 220x290

Ensonga lwaki tolina kufumbira...

Ekivaako abantu okufiira mu nnyumba mwe bafumbira

Aging1 220x290

Ebyange ne Grace Khan bya ddala...

ABABADDE balowooza nti Kojja Kitonsa n’omuyimbi Grace Khan bali ku bubadi muwulire bino.

Anyagatangadaabirizaemupikizabakasitomabewebuse 220x290

Okukanika kumponyezza okukemebwa...

Okukola obwamakanika kinnyambye okwebeezaawo n'okuwona okukemebwa abasajja olwa ssente