TOP

Kyabazinga atenderezza Mwiri

By Musasi wa Bukedde

Added 9th October 2018

Kyabazinga yategeezeza nti Obwakyabazinga bwa Busoga bugabira abayizi bbasale naddala abo abagezi nga tebalina ssente zibongerayo kusoma ne basobola okusomera mu masomero ag’enjawulo agali mu Busoga.

Isebantu 703x422

Katuukiro wa Busoga Dr. Joseph Muvawala (ku kkono) ng’akwasa Kyabazinga wa Busoga William Gabula Nadiope IV (wakati) ekirabo ky’ekifaananyi kye ekyamuweereddwa aba MOBA bwe yabadde ku mukolo gwabwe ku ssomero lya Mwiri ku Lwomukaaga.

Bya DONALD KIRYA
KYABAZINGA wa Busoga, William Gabula Nadiope IV akunze Abasoga naddala abaasomerako ku Busoga College Mwiri okunyiikira okusomesa abaana baabwe basobole okufuuka abakulembeze ab’obuvunaanyizibwa mu Busoga ne mu ggwanga lyonna.
 
Bino Kyabazinga yabyogeredde ku mukolo ogw’abaasomerako ku Busoga College Mwiri ogwatuumiddwa Mwiri Home Coming ogwategekeddwa ekibiina kyabwe kye beegattiramu ekya Mwiri Old Boys Association (MOBA).
 
Kyabazinga yawadde abeetabye ku mukolo ekyokulabirako nti bangi abasomedde mu ssomero lino ne bafuuka ab’obuvunaanyizibwa n’abakulembeze mu ggwanga,
ng’eyaliko Pulezidenti omugenzi Milton Obote, abamyuka ba Pulezidenti w’eggwanga babiri, ba Sipiika b’olukiiko lw’eggwanga, Kyabazinga kennyini, Bassaabalamuzi babiri n’abalamuzi ba kkooti ensukkulumu abawera.
 
Kyabazinga yategeezeza nti Obwakyabazinga bwa Busoga bugabira abayizi bbasale naddala abo abagezi nga tebalina ssente zibongerayo kusoma ne basobola okusomera mu masomero ag’enjawulo agali mu Busoga.
 
Yakunze abantu be okwongera amaanyi mu kulima emmere n’okusimba emiti
okusobola okukuuma obutonde.
 
Katuukiro wa Busoga, Dr. Joseph Muvawala yasabye Kyabazinga akkirizze olukiiko
olufuga essomero lya Busoga College Mwiri luweeyo ekibira kya Mwiri Forest mu
mikono gy’abaasomerako e Mwiri bongere okukirimamu emiti egiwera.
 
N’agamba nti abantu abaazimba amayumba ageetoolodde olusozi essomero kwe lisangibwa balaajana nti enkuba bwetonnya, mukoka aggweera mu nju zaabwe.
Ssentebe w’ekibiina ky’abaasomerako e Mwiri Patrick Ibembe, yategeezezza
nti abaasomerako e Mwiri bangi bafuddeyo okuddaabiriza ebisulo bye baasulangamu.
 
Yakoowoodde n’abalala gye bali okuvaayo bayambe mu kutuukiriza Pulogulaamu z’ekibiina kyabwe ez’okukulaakulanya essomero lyabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssematimba1 220x290

Peter Ssematimba atudde ebigezo...

Omubaka wa Busiro South Paasita Peter Sematimba atandise okukola ebigezo bye ebya S6 ku ssomero lya Minister JC...

Zab1 220x290

Muzaata alabudde abasajja abakandaaliriza...

Muzaata alabudde abasajja abakandaaliriza abakazi; Tujja kubabaggyako tubawe abeesobola

Nam1 220x290

Laba engeri Rema gye yafaananye...

Laba engeri Rema gye yafaananye nga Malaika ng'ayanjula Hamza

Nabagereka11 220x290

Okwanjula kw'omuyimbi Rema Namakula...

Okwanjula kw'omuyimbi Rema Namakula mu bifaananyi

Chile1 220x290

CHILE EGOBYE ABAZANNYI

EKIBIINA ekifuga omupiira mu Chile kigobye abazannyi 20 mu nkambi lwa kuwagira bannansi abeekalakaasa nga baagala...