TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Gavumenti ekungubagidde eyali Ssabawolereza Peter Nyombi

Gavumenti ekungubagidde eyali Ssabawolereza Peter Nyombi

By Benjamin Ssebaggala

Added 9th October 2018

GAVUMENTI ekungubagidde eyali Ssaabawolereza wa Gavumenti, Peter Nyombi, eyafudde olw’omutima okwesiba ku Ssande akawungeezi.

Nyombi1 703x422

Munnamateeka Peter Nyombi yali n’omuvubuka Trevis Ssebaduka omu gwe yayambako mu kusoma mu Amerika.

 

 Bya BENJAMIN SSEBAGGALA

GAVUMENTI ekungubagidde eyali Ssaabawolereza wa Gavumenti, Peter Nyombi, eyafudde olw’omutima okwesiba ku Ssande akawungeezi.

Obubaka obwafulumiziddwa ekitongole ky’amawulire, Gavumenti yategeezezza nti baafunye amawulire g’okufa kwa munnamateeka Nyombi eyaweerezanga Ssaabawolereza wa Gavumenti mu bwesimbu. Baakubagizza famire abooluganda n’emikwano ne bagamba nti omukululo gw’alese gujja kweyoleka olubeerera.

Henry Mayega, muganda w’omugenzi yategeezezza Bukedde nti ku Ssande baabadde n’emikolo ng’abooluganda ne bakuhhanira e Ntinda. Bwe baamaze okulya ekyemisana ne babeerawo, obudde nga bugenda buwungeera, Nyombi yatandise okufuna obuzibu mu kussa.

Baagenze okulaba ng’embeera eyongera okutabuka kwe kumutwala mangu ku SAS clinic ku Bombo Road. Abasawo baamutadde ku byuma ebimuyambako okussa kyokka obulamu bwagaanye okudda engulu bw’atyo n’afa.

Olwaleero bategese okumusabira mu lutikko e Namirembe oluvannyuma lw’okusaba okwabadde mu maka g’omugenzi e Buziga ku Mmande olweggulo. Mayega agamba nti baabadde basuubira nti okuziika kwa Lwakusatu kyokka baabadde bakyalindako entegeka eva mu Gavumenti kubanga waabaddewo enteekateeka y’okutwala omulambo mu palamenti okumukungubagira.

Yazaalibwa April 23, 1954 nga kitaawe Eriakimu Kajja yali musomesa.

Nyombi muganda wa Polof. John Musisi Senyonyi owa UCU Mukono. Yasomera Nakasongola Primary School gye yava okugenda mu King’s College Buddo. Yasoma amateeka e Makerere ne bamutikkira ddiguli mu 1976.

Yayingira ebyobufuzi ne bamulonda ng’omubaka wa palamenti akiikira Buluuli.

2011 yalondebwa okubeera Ssaabawolereza wa Gavumenti ekifo kye yavaamu 2015 n’asikirwa Fred Ruhindi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kibowa13webuse 220x290

Abakyala mwekolemu ebibiina mufune...

Abakyala b'e Mukono bakubiriziddwa okwekolamu ebibiina bafune ku ssente za Gavumenti ezitaliiko magoba n'okuwagira...

Acaya1webuse 220x290

Omuyizi akoze mmotoka ne yeewuunyisa...

Omuyizi Francis Ocaya akoze mmotoka ne yeewuunyisa Ababaka ba Palamenti ne bamusuubiza omulimu

Abamukubamusigansimbiabataddemuensimbiokuzimbazikabuyonjongabawayaamunabamukubaanawebuse 220x290

Temusimbira nkulaakulana kkuuli...

Abagirimaani bazimbidde essomero ly'e Ntenjeru kaabuyonjo ey'omulembe

Omulyangogwambabaziogwateeredwaakoebyokoolawebuse 220x290

Ebigambibwa okuba ebyokoola bisasamazza...

Omusaayi ogumansiddwa ku luggi lw'omutuuze nga kuliko ebbaluwa etiisatiisa okufa okumusemberedde bisattizza ab'e...

Abolukiikolwamukonodevelopmentforummdfngabatandiseokukolaemirimugyabwe 220x290

Olukiiko oluyamba Mmeeya okukulaakulanya...

Olukiiko olw'okuyambako Mmeeya w'e Mukono okukulaakulanya ekibuga lusomeseddwa ku nkola y'emirimu gyalwo