TOP

‘Gavt. tegenda kuggya magye ku nnyanja’

By Musasi wa Bukedde

Added 9th October 2018

MINISITA w’ebyobulimi n’obulunzi, Vincent Ssempijja akakasizza nga Gavumenti bw’etagenda kuggya magye ku nnyanja okuggyako ng’abakozesa envuba embi balekeddaawo.

Fishnets 703x422

Baminisita Ssempijja (ku kkono) ne Onek nga balambula ebimu ku bikolebwa.

Bya Musasi Waffe
MINISITA w’ebyobulimi n’obulunzi, Vincent Ssempijja akakasizza nga Gavumenti bw’etagenda kuggya magye ku nnyanja okuggyako ng’abakozesa envuba embi balekeddaawo.
 
Bino yabyogeredde ku mukolo gw’ettendekero ly’ebyobuvubi e Ntebe nga lijaguza emyaka 50. Yategeezezza nti abakwatibwa mu nvuba embi balina okukangavvulwa
ate n’abaserikale abatulugunya abavubi balina okwatibwako n’amaanyi era nga kati abaserikale basatu baavunaaniddwa.
 
Ssempijja era agamba nti Gavumenti yaakuteekawo ekyuma ekimanyiddwa nga ‘RADER’ ekisobola okuyamba mu kulondoola obubenje ku nnyanja n’okubuziyiza.
 
Omukolo guno gwetabiddwako Minisita w’ebigwa bitalaze, Hiraly Onek eyakiikiridde Pulezidenti Museveni.
 
Onek yategeezezza nti abantu naddala abayizi balina okukomya okulowooleza mu mirimu gya ofiisi wabula bettanire emirimu gy’omu mutwe nga basobola okugyetandikirawo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kip2 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze...

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okufuna mu kulima Levander

Pap2 220x290

Aba P7 babalaze ebinaabayamba okuwangula...

Aba P7 babalaze ebinaabayamba okuwangula

Top2 220x290

Abafera abantu okubatwala ku kyeyo...

Abafera abantu okubatwala ku kyeyo bakwate

Tip2 220x290

Omukozi w’awaka abuzeewo ne bbebi...

Omukozi w’awaka abuzeewo ne bbebi wa muliraanwa

Lab2 220x290

‘Ppaaka Enkadde efuuse kiraalo...

‘Ppaaka Enkadde efuuse kiraalo kya nte