TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Museveni abatemula abantu abageraageranyizza ku nsekere: 'Abalwanyi tebeekweka, kati ke bakutte engo ku mukira bagenda kulaba ekinaavaamu'

Museveni abatemula abantu abageraageranyizza ku nsekere: 'Abalwanyi tebeekweka, kati ke bakutte engo ku mukira bagenda kulaba ekinaavaamu'

By Musasi wa Bukedde

Added 10th October 2018

PULEZIDENTI Museveni agambye nti abatemula abantu mu ggwanga ‘’balinga ensekere’’ n’abasoomooza oba baagala kulwanyisa gavumenti balangirire olutalo mu butongole babalage enkola.

Kyotera 703x422

Pulezidenti Museveni ng’ayanirizibwa ku kisaawe e Kasasa mu Kyotera. Mu busuutu eya kiragala ye mubaka omukazi owa Kyotera, Robinah Ssentongo owa DP, addiriddwa RDC wa Kyotera , Pamela Watuwa ne Ssentebe wa Kyotera, Patrick Kisekulo (ku kkono).

Bya Muwanga Kakooza ne John Bosco Mulyowa

“Amaanyi g’abatemu b’omu tawuni gali mu kwekweka. Balinga ensiri oba ensekere. Oba baagala lutalo balangirire mu butongole nti tutandise olutalo. Abalwanyi tebeekweka. Ezo nsekere. Kati ke bakutte engo ku mukira bagenda kulaba ekinaavaamu,’’ Museveni bwe yagambye n’alabula nti.:.. “agenda mu nsiko kati aba ayoya ntaana…’’

Yakyukidde abaabadde bamutegedde amatu n’ababuuza lwaki buli kiseera bakankana nnyo olw’ensekere ezo. Abantu abeesiga Katonda nga nze tebakankana olw’ensekere .

’’ Bino yabyogeredde ku kisaawe ky’e Kasasa mu disitulikiti y’e Kyotera awaabadde emikolo gy’okukuza olunaku lw’ameefuga ag’omulundi 56 egyakulembeddwa Pulezidenti Museveni kennyini.

Yagambye nti abatemula abantu tebavaayo kwogera kye baagala n’abasoomooza baveeyo bakyogere. N’agamba nti baagala lutalo nabo balangirire nga ye ne banne bwe baakola mu gy’ekinaana bwe baagamba nguli Obote nti batandise olutalo.

Wabula yalabudde nti agezaako okutandika olutalo kati tasobola kumalako ajja kuwangulwa ng’abalala abakigezezzaako bwe babakoze.

Ng’akozesa enjogera y’Orunyankole, Museveni yagambye nti abantu bwe bawulira ekiduduma nga kibava mu mugongo tebasaanidde kumala gaduma kudduka wabula balina kusooka kwetegereza oba kya bulabe.

N’agamba nti abantu abadduka nga tebasoose kwetereza olumu bayinza okudduka ‘’sseggwanga’’ nga bagiyita ‘empologoma’.

Yategeezezza nti abatemu baagala kukanga bantu naye bajja kulwanyisibwa nga gavumenti bwe yakola abayeekera.

Museveni yagambye nti ebyenfuna by’eggwanga birinnye omwaka guno okusinga we byali bisuubirwa nga bikulira ku misinde gya bitundu 6.1 buli kikumi.

N’agamba nti kisuubirwa nti bigenda kulinnya okutuuka ku bitundu 7 buli 100 mu bbanga eritali lya wala ebintu ebibitambuza ng’amasannyalaze n’enguudo bikoleddwaako.

Omubaka w’e Kyotera omukazi Robinah Ssentongo (DP) eyabadde ne minisita w’ensonga za SACCO , Haruna Kasolo yasabye gavumenti okuyamba abantu abagobeddwa mu nvuba embi nga baggyibwako amaato n’obutimba bayambibwe okudda ku mirimu mu ngeri entuufu.

Yagambye nti gavumenti esaanye okubawa amaato n’obutimba ebituufu baddeyo bavube mu ngeri entuufu bafune ekyokulya.

Mu kusooka, Pulezidenti Museveni yassizza abantu enseko bwe yagambye nti omubaka Ssentongo ‘ayambala ebigoye ebitategeerekeka’ (olw’okuba ayambala kiragala - langi ya DP ) mu kifo kya ‘kyenvu (eya NRM).

Kyokka eby’okuyamba abantu abagobwa mu nvuba embi Pulezidenti yagambye ajja kubiddira olulala.

Wabula Pulezidenti yasuubizza abantu b’e Nyangoma ekidyeri era baavuddeyo basanyufu.

Minisita w’ensonga za Pulezidenti Esther Mbayo yagambye nti waliwo ebisuubizo Pulezidenti bye yawa abantu b’e Kyotera ebitanatuukirira.

N’agamba nti bino mulimu; okukuza eddwaaliro lya Kakuuto Health Centre IV lifuuke eddwaaliro ekkulu erya disitulikiti, okuzimbira abantu abaakosebwa musisi mu kitundu ky’e Kyembe ne Kasasa amayumba, okubateerawo ebidyeri ebigatta emyalo egitali gimu, okukuza eddwaaliro ly’e Kasensero Health Centre II lidde ku Health Centre III, n’okukola ku nguudo embi.

Ebirala ebibasomooza kuliko; amasomero ageetaaga ebibiina ebirungi ne kaabuyonjo. Omubaka wa Uganda mu Palamenti y’amawanga ag’obuvanjuba bwa Afrika, Mathias Kasamba, yasabye pulezidenti abalimi bayambibwe nga baweebwa ebyuma ebyongera omutindo ku birime byabwe era bafune ebifo eby’awamu mwe batundira ebirime byabwe bawone okufootolwa abasuubuzi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono

Bad1 220x290

King Michael akaayidde Balaam

King Michael akaayidde Balaam