TOP
  • Home
  • Amawulire
  • FDC etongozza ekibiina ky’abavubuka abeeyise ba 'Red Top Brigade'

FDC etongozza ekibiina ky’abavubuka abeeyise ba 'Red Top Brigade'

By Lawrence Kitatta

Added 10th October 2018

BANNAKIBIINA kya FDC emikolo gy’ameefuga baagikuzizza na kusaba ku kitebe kyabwe e Najjanankumbi.

Tongo 703x422

Omubaka Ibrahim Nganda (ku ddyo) n'abamu ku bammemba b'ekibiina ky'abavubuka ekyatongozeddwa.

Ku mukolo guno baatongozza ekibiina ky’abavubuka abeeyise ba 'Red Top Brigade' ekirwanirira eddembe n’okwenunula kwa Bannayuganda nga kikulirwa Charles Kafeero Mutaasa.

Wadde baabadde bakoze enteekateeka ya maanyi era nga bakunze abantu okubeegattako okuva mu bitundu by’eggwanga eby'enjawulo, abantu bazze batono ddala okuggyako abakulembeze b'ekibiina abaabaddewo mu bujjuvu. Bano baakulembeddwaamu pulezidenti w’ekibiina Patrick Oboi Amuriat.

Baagambye nti bw'otunuulira ebigenda mu maaso mu ggwanga biraga nti bannayuganda bakyali mu buwambe era balina okwerwanako beenunule.

Ibrahim Nganda Semujju yagambye nti ekibiina kitongozza okujaguza ameefuga aga buli mwaka era ng’omwaka ogujja baakugakuliza ku kisaawe e Kololo.

Akulira oludda oluvuganya mu palamenti, Betty Aol Ocan asabye bannakibiina okukwatagana n’abavubuka mu lutalo lwe baliko olw'okweddiza obuyinza kuba amaanyi gali mu bo era bantu b’amugaso abatasaanye kulekebwa mabega.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kkooti1 220x290

Poliisi eremeddwa okutwala fayiro...

POLIISI eremeddwa okutwala fayiro eriko omusango gw’okutemula eyali omwogezi wa poliisi, Andrew Felix Kaweesi mu...

Luwum 220x290

Abattakisi beegugunze olw’okuggala...

ABAGOBA ba takisi mu ppaaka enkadde abakozesa omulyango oguli ku Luwum Street bavudde mu mbeera ne bateeka akaziko...

Namanve 220x290

Ab’e Namanve balaajanidde ab’ekitongole...

ABATUUZE b’e Namanve (Kireku leerwe) abali ku ttaka ly’ekitebe ky’eggaali y’omukka, balaajana oluvannyuma lw’ekitongole...

Remassebunnya 220x290

Eyeekiika mu bba wa Rema aggyeeyo...

OMUSAJJA eyavaayo ne yeesimba mu bba wa Rema, abamu kye baataputa ng’ayagala okugootaanya emikolo gy’okwanjula,...

Brian 220x290

Mukula atutte Bryan White mu kkooti...

BRYAN White, ebibye bibi. Kkampuni ya Capt. Mike Mukula emututte mu kkooti lwa kumuguza mmotoka ku doola 120,000...