Msgs Wynand Katende, alaze okutya nti abavuvabuka abatendekeddwa okukuuma ebyalo (LDU) bayinza okuva ku bigendererwa by’okukuuma abantu ate ne babatigomya olw’engeri embi gye baakuzibwamu.
Bino Msgr Katende abyogeredde ku ssomero lya St. Joseph of Nazareth e Kavule mu mmisa gye yakulembeddemu ng’abasabira abayizi abagenda okukola ebigezo bya S.4 ne S.6 n’alabula abazadde okukuza abaana baabwe mu mpisa.
Abavubuka abataakuzibwa mu ddiini be bafuukidde Pulezidenti ekyambika nga beekalakaasa n’okwonoona ebintu by’abantu.
Abazadde bwe mutaakole buvunaanyizibwa bwammwe mu kukuza abaana n’okubatwala mu masomero g’empisa eggwanga lyaffe ligenda mu katyabaga, bwatyo Msgr. Katende bwe yategeezezza.
Yayongeddeko nti abantu beeraliikirivu kuba LDU abatendekebwa okukuuma ebyalo kubanga tebalina bwesigwa mu bavubuka b’ennaku zino, engeri gye beeyisamu nga kino kivudde ku bazadde abatabakuza bulungi.