TOP

Bukedde atadde bukadde mu kivvulu kya Sheebah

By Martin Ndijjo

Added 10th October 2018

kkampuni ya Vision Group efulumya n'olupapula lwa Bukedde etadde obukadde mu kivvulu ky'omuyimbi Sheebah Karungi.

Sha1 703x422

okuva ku kkono; Bill Butodene owa Vision Group, Dan Komunda owa Coca cola, Dorah Namaala owa Bukedde Tv n'omuyimbi Sheebah Karungi

"Nkomyewo na nkuba mpya mbalage waaka” bwatyo  Sheebah Karungi  owa ‘Team No Sleep’ ayogerwako ng’omuyimbi omukyala asinga okukuba emiziki mu ggwanga bwatandise ng’ayogera ku kivvulu kye ekitumiddwa ‘Omwooyo concert’ ekigenda okubeera ku Hotel African nga November 30, 2018.

Sheebah agamba oluvannyuma lw’emyaka ebiri, akirabye nga kye kiseera ate okukola ekivvulu ekirala asanyukire wamu n’abawagizi be ng’ajjaguza obuwanguzi bwatuuseko mu nsike y’okuyimba.

“Ne ku mulundi guno mbasuubiza ekyenjawuulo ku kivvulu kye nasemba okukola mu 2016 wadde nga kyo ekifo kisigadde kye kimu.

Ekisooka nkuze mu birowoozo ne mu myaka kubanga mu November ngenda kuba mpezza emyaka 29 ate nga n’ebbanga ery’emyaka ebiri eriyisewo nkoleddemu ennyimba ezifuuse ‘hiiti’ nnyingi.” Sheebah bwategezezza mu lukung’aana lwa bannamawuulire lwatuuzizza ku offiisi za Bukedde

okuva ku kkono ill utodene owa ision roup an omunda owa oca cola orah amaala owa ukedde v omuyimbi heebah arungi ne ddie sendiokuva ku kkono; Bill Butodene owa Vision Group, Dan Komunda owa Coca cola, Dorah Namaala owa Bukedde Tv, omuyimbi Sheebah Karungi ne Eddie Ssendi

 

Ekivvulu kino ekitegekeddwa aba KT Promotions kiwagiddwa kkampuni ya Vison Group efuulumya ne Bukedde.

Dorah Namaala avunanyizibwa ku kutumbula omukutu gwa Bukedde Tv ng’ayogera ku kivvulu kino asoose kulaga maanyi n’obusoobuzi bwa Vision Group mu kulanga n’okutumbula ebivvulu by’abayimbi ng’ekozesa emikutu gyayo egy’amawuulire.

“Vision Group ffe nnamba emu mu kintu kino y’ensonga lwaki buli muyimbi okukolaganye naffe ekivvulu kye kijjuza era afunyemu ne Sheebah nga bwe twakikola mu 2016 tugenda ku kiddamu.”

Wadde nga nga bali baweera okuddamu okukolera ekivvulu ku Hotel Africana mu kibangirizi kya ‘peoples space’, Eddie Ssendi ku lwa KT Promotions ategezezza nti aba Hotel Africana babakiriza okukolerawo olw’enkolagana enungi eriwa wakati w’aba hotel eno n’omutegesi aba KT promotions wamu n’omuyimbi ne kkampuni ezitaddemu ssente Vision Group ne Coca Cola

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nagiriinya1nu 220x290

Eyaliko yaaya wa Nagirinya bamukutte...

ABEEBYOKWERINDA bongedde amaanyi mu kunoonyereza ku batemu abaawamba oluvannyuma ne batta omuwala Maria Nagirinya....

Shecraneswebnew 220x290

She Cranes yeetegekera za Afrika...

Ttiimu y'eggwanga eya She Cranes etandise okwetegekera empaka za Afrika ezitandika omwezi ogujja e South Afrika...

Do 220x290

Poliisi erondoola aba boda 2 abaamanya...

ABAVUNAANIBWA okuwamba n’okutta Maria Nagirinya ne Ronald Kitayimbwa poliisi ebatutte ew’omusawo okubeekebejja...

Cobapwebweb 220x290

Kiraabu COBAP ewumizza ey'e Kenya...

Kiraabu ya COBAP eraze ginnaayo okuva e Kenya nti ekyali ya bigere mu bikonde, bw'ewumizza abazannyi baayo n'ebaleka...

Nara 220x290

‘Nalaga Abamerika bannaffe be batta...

Grace Bukenya amanyiddwa nga BK akuba bulatti olwa Amerika okusitukira mu Kayihura.