TOP

Bakutte omusuubuzi ku bya Kirumira

By Musasi wa Bukedde

Added 11th October 2018

ABASERIKALE abanoonyereza ku musango gw’okutta Kirumira bakutte omusajja omulala gwe bateebereza nti naye alina ky’amanyi ku butemu buno.

Waga 703x422

Edduuka eriggale mukyala wa Kateregga Mariam mw’abadde akolera.

Elvis Jjuuko omutuuze w’e Salaama era ng’akola gwa busuubuzi yakwatiddwa poliisi wamu n’abajaasi okuva mu CMI abaamusanze ku mwalo gw’e Mulungu gye yabadde agenze okubaako emirimu gy’obusuubuzi gy’akwanaganya.

Abaserikale baasoose kulondoola n’okumanya mmotoka Jjuuko mwe yabadde atambulira era bwe baagirabye ng’asimbula okuva e Mulungu ne bamukiika kabangali ya poliisi n’ayimirira.

Baamusikambudde mu mmotoka ye ne bamuteeka mu mmotoka y’abaserikale endala eya buyonjo ne bamutwala ng’akuumibwa abaserikale abaabadde munda mu mmotoka nga bawerekerwa kabangali ya poliisi.

Wiiki ewedde abooluganda lwa Jjunju basiibye batalaaga ebitebe bya poliisi eby’enjawulo nga basuubira okumusangayo nga ku poliisi y’e Katwe, ku CPS n’awalala baatuuseeyo wabula ne babategeeza nti tebamanyi gy’ali.

Abooluganda lwa Jjunju baasoose kukiteeka ku poliisi y’e Katwe nti y’emanyi amayitire g’omuntu waabwe.

Bwe baalemeddwa okumusanga mu kaduukulu ka poliisi konna, baasazeewo okugenda ku kitebe kya bambega b’amagye ekya CMI e Mbuya era abaserikale be baasanzeeyo ne babategeeza nti omuntu waabwe bwe yakwatibwa era nga gy’akuumirwa.

Kigambibwa nti ebimu ku byakwasizza Jjunju kumuteebereza nti alina akakwate n’abamu ku bantu abazze bakwatibwa ku by’okutta Kirumira ng’abaserikale baagala annyonyole enkolagana ye nabo.

Baatandikiddewo okumubuuza akana n’akataano ku by’amanyi ku kutemula ASP Mohammed Kirumira n’omuwala Resty Mbabazi Naalinya, abaakubwa amasasi ku ssaawa nga 2:00 ez’ekiro kya September 8, 2018 bwe baali mu mmotoka ya Kirumira eyali esimbye e Bulenga ebbali w’ekkubo okuliraana edduuka lya Naalinya.

Oluvannyuma lw’okukwata Jjuuko, abasibe kati baweze 10 ku bya Kirumira nga ku bano, omu Abubaker Kalungi ye yatwalibwa mu kkooti e Wakiso n’asomerwa emisango ebiri egy’obutemu.

Abalala abaakwatibwa kuliko: Owa Flying Squad Deus Byaruhanga, C/ASP Ismael Ssennono eyali aduumira ebikwekweto ku poliisi ya Old Kampala, Ahmed Kamada Sebuufu, ow’e Mutundwe mu Kampala, Amir Musisi Ssentongo omutuuze w’e Nabbingo ku luguudo lw’e Masaka, Ahmada Ssebina 40, ow’e Namungoona, ssaako Mariam Kasujja Nnamwandu wa Abdul Kateregga.

Kateregga yattiddwa amagye bwe gaabadde gagenze okumukwata e Namungoona wiiki bbiri eziyise wabula okuttibwa kwe kukyalimu ebibuuzo era ababaka ba Palamenti baanenyezza amagye okutta omuntu gwe bateebereza nti alina bingi by’amanyi ku nsonga enkulu ng’eno.

Babuuzizza amagye engeri gye baatuuse okutta omuntu gwe baasoose okukuba ebifaananyi nga kiraga nti baabadde baamukutte dda.

Amagye gaategeezezza nti Kateregga yabadde adduka kwe kumukuba amasasi.

MUKA KATEREGGA YALINA OMUTWALO GWA DDOOLA – MAGYE

Mariam Kasujja yakwatibwa abajaasi ba CMI amangu ddala nga bba yaakakubwa amasasi, amagye gagamba nti gamufunyeeko obujulizi obwewuunyisa.

Amagye gagamba nti wadde omukazi ono abadde akolera mu kaduuka akalaga nti talina ssente, wabula ku akawunti ye nti baasanzeeko ssente omutwalo gwa ddoola (mu za Uganda obukadde nga 38) nti era zino zaateekebwa ku akawunti nga Kirumira tannattibwa.

Ensonda mu magye zaategeezezza Bukedde nti kati ebimu ku bye babuuza Mariam Kasujja y’engeri gye yafunamu ssente zino, ani yazimuweereza era zaali za kigendererwa ki.

Abanoonyereza baamutadde ku nninga annyonnyole oba ssente zino tezaali za kuyambako mu kutegeka lukwe lwa kutta Kirumira.

Nti ezimu ku ssente ezo zaali zijjiddwaayo mu wiiki mwe battira Kirumira, kye bagamba nti kyandiba n’akakwate ku butemu.

Wabula byonna Mariam Kasujja abyegaana era aba famire ya Kateregga bagamba nti bijingiriddwa ku Nnamwandu okumussaako omusango omunene ennyo, oluvannyuma lw’okumuttira bba, kibatiise okugoberera ensonga z’abajaasi abasse Kateregga mu ngeri etaabadde ya bwenkanya.

Amagye gagamba nti we battira Kirumira, emirongooti gy’essimu giraga nti Kateregga yali Bulenga ng’awuliziganya ne mukazi we era nga waliwo n’omuntu owookusatu gwe bawuliziganya naye nti era ono amagye gwe gasinze okwezingako nga gaagala Mariam amwogere kubanga tannakwatibwa.

Amagye era gabuuzizza Mariam Kasujja enkolagana ya bba ne Abubaker Kalungi nga kigambibwa nti bano balina enkolagana ey’enjawulo era nga baaliko abayeekera aba ADF nga bwe baava mu nsiko enkolagana yaabwe yasigalawo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kaba 220x290

Roden Y Kabakko ne Vinka bayingidde...

Wakati mu lutalo lw’ebigambo olugenda mu maaso, Cindy yatuuse n’okugamba nti; ‘’Nneewuunya abayimbi abeeyita nti...

The 220x290

Cindy Ssanyu ne Sheebah bayomba:...

OLUTALO wakati Sheebah Karungi ne Cindy Ssanyu nga buli omu yeewaana nga bw’asinga munne okukuba emiziki n’obuganzi...

Wano 220x290

Museveni atongozza ebbibiro lya...

EKITONGOLE ekigereka ebisale by’amasannyalaze mu ggwanga ekya Uganda Electricity Regulatory Authority kigambye...

Kadaga703422 220x290

Ebikwata ku Rebecca Alitwala Kadaga...

Yazaalibwa May 24, 1956 ng’alina emyaka 63

Godo 220x290

Museveni alambudde Kadaga mu ddwaaliro...

SIPIIKA wa Palamenti Rebecca Alitwala Kadaga mwongere okumusabira. Mulwadde muyi. Abamujjanjaba mu ddwaaliro e...