TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ofiisa Bakaleke yeekukumye wa mugagga: Kkooti yayisizza ekiragiro akwatibwe

Ofiisa Bakaleke yeekukumye wa mugagga: Kkooti yayisizza ekiragiro akwatibwe

By Musasi wa Bukedde

Added 11th October 2018

OMUSERIKALE wa poliisi Siraje Bakaleke ensi eyongedde okumufundirira oluvannyuma lwa kkooti okuyisa ekiragiro bamukwate.

Bakaleke1703422 703x422

Siraje Bakaleke

Ewuwe adduseeyo aliko ew’omugagga atunda ettaka n’okuligula gye yeekukumye.

Omusango ogumutudde mu kifuba, kigambibwa nti yeekobaana ne banne ne banyaga ssente okuva ku bannansi ba Korea, kati kkooti ewozesa abakenuzi e Kololo emwetaaga abitebye, talabikako.

Ensonda zaategeezezza nti Bakaleke aliko amaka g’omugagga ku lw’e Bombo mu bitundu by’e Katalemwa ng’oyingira e Matugga gye yafunye obubudamo.

Ensi okutuuka okumuddugalirira ne yeekweka, kiddiridde abaakubye Kirumira amasasi nga September 8, 2018, Bakaleke n’ategeeza nti naye waliwo abamwewerera okumutta nga bamulondoola n’okumuweereza obubaka obumutiisatiisa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Emery1 220x290

Emery atadde abazannyi 7 ku katale...

Emery, ayagala kuggumiza ttiimu ye sizoni ejja era agamba nti abamu ku bazannyi b’alina, tebajja kumukolera k'abatunde...

Kib1 220x290

Abakungubazi bakubaganye empawa...

Abakungubazi bakubaganye empawa ku nfa y'omugagga Kiriggwajjo!

Nanyinittakamarynagaddyabamuwujjaazirisewebuse 220x290

Abatuuze mu maka 1000 e Mukono...

Amaka agasoba mu 1,000 e Mukono paasika teyabawoomedde oluvannyuma lw’okulabulwa okusengulwa nga tebabaliyiridde...

Wanongaminisitadrmuyingoagabiraabamukubakadde50ebintubyapasikaomuliomuceeresabuunibulangitisukaaliwebuse 220x290

Ab’e Kikyusa mwegatte mugobe obwavu...

Minisita Muyingo akubirizza ab'e Kikyusa mu Luweero okukozesa obumu beegobeko obwavu mu maka

Wano 220x290

Abakyala abagagga temunyooma babbammwe...

Omubaka omukazi owa disitulikiti y’e Ssembabule, Hanifa Kawooya akubirizza abakyala abagagga bakomye okunyooma...