TOP

Munnamateeka Mabiriizi ajulidde mu gwa Kabaka

By Meddie Musisi

Added 11th October 2018

MUNNAMATEEKA Hassan Male Mabiriizi ajulidde mu kkooti ensukkulumu (Supreme Court) mu musango gwa Kabaka, oluvannyuma lwa kkooti ejulirwamu okusazaamu ekyali kisaliddwaawo Kkooti Enkulu, Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II okumuwa (Mabiriizi) ebiwandiiko bya bbanka ebikwata ku nnyingiza n’ensaasaanya ku ttaka lye.

Kufa 703x422

Mabiriizi (ku ddyo) ng’ayogera n’owa tukuktuku eyamuleese ku kkooti n’ebitabo bye .

Kino kiddiridde kkooti ejulirwamu wiiki ewedde okusazaamu eky’Omulamuzi Patricia Basaza owa kkooti enkulu bwe yalagira Kabaka awe Mabiriizi ebiwandiiko bya bbanka ebikwata ku nnyingiza n’ensaasaanya ya Kabaka ku ttaka lye.

Ku Lwokusatu ku makya, Mabiriizi lwe yatutte okujulira kwe okwa fayiro 44 ze yatwalidde ku kapikipiki ke baakazaako erya ttukutuku ku kkooti ensukkulumu n’akuwaayo.

Mu kwogerako n’abaamawulire, Mabiriizi yagambye nti teyamatira na nsalawo ya kkooti ejulirwamu okugaana ekyasalibwawo Omulamuzi Basaza, Kabaka amuwe ebiwandiiko bya bbanka byonna ebikwata ku basenze abali ku ttaka lye.

“Obuntu abalamuzi ba kkooti ejulirwamu bwe beesigamako okusazaamu ekiragiro ky’Omulamuzi Basaza temwali ggumba era saamatira nabyo kyenvudde ndeeta okujulira kwange mu kkooti eno ensukkulumu nfune obwenkanya mu musango gwange,” Mabiriizi bwe yategeezezza.

Yagambye nti yeewuunya abakungu ba Buganda abagenda bagamba abantu nti baamuwangudde n’agamba nti beerimba kubanga omusango omukulu gwe yawawaabira Kabaka n’ekitongole kya Buganda Land Board gye guli nnyo mu Kkooti Enkulu.

Mabiriizi yatwala Kabaka n’ekitongole kya Buganda Land Board mu kkooti ng’awakanya eky’okuwandiika abasenze abali ku ttaka ly’Obwakabaka.

Ensala y’abalamuzi eyasazizzaamu eby’omulamuzi Basaza yasomeddwa Omulamuzi Agnes Nkonge era balooya ba Kabaka abaakulembeddwa Christopher Bwanika Bbaale baategeeza nti Kabaka amezze Mabiriizi omulundi ogusoose.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Keb2 220x290

Vicent Ssegawa akyadde ewa ssenga...

Vicent Ssegawa akyadde ewa ssenga wa mukyala we gwe yaggya ku banoonya

Tip1 220x290

Jennifer Musisi akoledde abasambi...

Jennifer Musisi akoledde abasambi ba KCC n'abawagizi akabaga

Wab2 220x290

Tukuyigiddeko bingi ng'oweereza...

Tukuyigiddeko bingi ng'oweereza mu kkanisa

Dep2 220x290

Jjajja otukoze bulungi okutulekera...

Jjajja otukoze bulungi okutulekera omusingi gw'eddiini mu bulamu

Rp1 220x290

Eddiini gye watusigamu etuyambye...

Eddiini gye watusigamu etuyambye okuba obumu