TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Enkuba egoyezza ab'e Lwengo ne basaba Gav't ebayambe

Enkuba egoyezza ab'e Lwengo ne basaba Gav't ebayambe

By Musasi wa Bukedde

Added 11th October 2018

ABATUUZE abasoba mu 1000 ku byalo 3 okuli Kalagala A, Kalagala B ne Lugologolo ebisangibwa mu ggombolola ya Kyazanga Rural mu disitulikiti y'e Lwengo boolekedde okulumwa enjala ani amuwadde akatebe oluvannyuma lwa nnamutikwa w'enkuba eyafudembye okumala ennaku bbiri ng'erimu kibuyaga omuzira ne mukoka okusaanyaawo ebirime byabwe.

Funa1 703x422

BYA FLORENCE TUMUPENDE

ABATUUZE abasoba mu 1000 ku byalo 3 okuli Kalagala A, Kalagala B ne Lugologolo ebisangibwa mu ggombolola ya Kyazanga Rural mu disitulikiti y'e Lwengo boolekedde okulumwa enjala ani amuwadde akatebe oluvannyuma lwa nnamutikwa w'enkuba eyafudembye okumala ennaku bbiri ng'erimu kibuyaga omuzira ne mukoka okusaanyaawo ebirime byabwe.   

 

 batuuze nga balaga ennimiro zaabwe ezaagoyeddwa enkuba eyabaddemu kibuyaga nomuzira Abatuuze nga balaga ennimiro zaabwe ezaagoyeddwa enkuba eyabaddemu kibuyaga n'omuzira

Ebirime okuli ebijjanjaalo, Kasooli, ennyaanya, obumonde obuzungu, muwogo, ebitooke n'ebirala omuzira gwabiyuzaayuzizza bulere.     

Abamu kubatuuze abakoseddwa kuliko Hellen Mujulizi (45), Wilson Kawulugutu (82), James Buyinza (40), Julius Bagambe n'abalala be bakaaba twawa ng'entulege!

 

 

Bano bategeezezza nti yadde baze baafuna enkuba esukkiridde naye eno babadde tebagirabangako ekiviiriddeko n'abamu okukissa basamize be bagamba nti nabo basusse obungi mu kitundu basaanamu ekikwekweto okubafuuza.     

Basentebe b'ebyalo bino okuli Sulayina Kaluhanga ne Wilber Bukenya balaajanidde omubaka waabwe mu Palamenti; Abuduh Kitatta ne ssentebe wa disitulikiti y'e Lwengo, George Mutabaazi babadduukirire n'obuyambi bw'emmere wamu n'ensigo kuba abantu baabwe boolekedde okulumwa enjala.     

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omugagga abadde avunaanibwa okwekomya...

Omugagga abadde avunaanibwa okwekomya ebintu bya mukyala we ayimbuddwa

Kwata 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA YATUUSE DDA...

Tukulaze omusajja gwe baakutte mu bukambwe ne bamukubisa ebigala by’emmundu mu Kampala. Aba famire ye bagguddewo...

Hib2 220x290

EBIKWATA KU KICONCO

EBIKWATA KU KICONCO

Co2 220x290

Akakiiko kakunyizza Kiconco ku...

Akakiiko kakunyizza Kiconco ku ttaka ly’e Lusanja

Nytil 220x290

Ekkolero ly'engoye erya NYTIL lya...

EKKOLERO ly’engoye erya ‘Southern Range Nyanza Limited (NYTIL) liteereddwaamu ebyuma ebipya ebiweza ensimbi za...