TOP

Bamuwambye ava ku mulimu

By Musasi wa Bukedde

Added 11th October 2018

ABANTU abatannategeerekeka balumbye ekifo omuwala w’akolera ne bamuwamba kati ennaku10 talabikako.

Soma1 703x422

Patience Keeza Kahirita 20 (mu katono), kigambibwa nti yabuzibwawo nga September 27, 2018.

Yasangibwa kumpi n’ekizimbe kya Sudhir ekya Kampala Boulevard ku ssaawa nga 10:00 ez’olweggulo, bwe yali ava ku ofiisi za mukamaawe eza Kwakoo Onyx Coin.

Kigambibwa nti ono yatwaliddwa abasajja abeeyise abebyokwerinda nga bagamba nti baabadde bamutwala ku poliisi ya CPS mu Kampala.

Abooluganda lwa Keeza n’emikwano bagamba nti okuva omuntu waabwe lwe yabuzibwaawo batambudde poliisi zonna naye nga babagamba nti tebannamulabako.

Waliwo okutya nti omuwala ono yandiba nga yattiddwa kubanga n’ennamba z’essimu ze zonna ezimanyiddwa abantu be bazikubako teziyitamu.

Amyuka omwogezi w’ekitongole kya poliisi mu ggwanga, SP Patrick Onyango, yategeezezza Bukedde nti, abantu bangi bamukubira nga bamubuuza ku mayitire g’omuwala ono naye tebalina kye bamanyi.

Keeza muwala wa George Kahirita, omutuuze mu disitulikiti y’e Rukungiri.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oketchinstructinghisstudentswebuse 220x290

Oketch obwavu abugobye na kukola...

Mu kukola fulasika z'embaawo mwe nfuna ssente

Wanikaamaguluwebuse11 220x290

Bw'oyamba omuntu azirise nga tonnamutuusa...

By'olina okukola okuyamba omuntu azirise nga tonnamutuusa wa musawo okumutaasa obuzibu obuyinza okumutuukako

Lan1 220x290

Mbogo ne Kibuli beddizza ez'amasomero...

Mbogo ne Kibuli beddizza ez'amasomero mu Badminton

Gr2 220x290

Abagambibwa okutta owa Mobile Money...

Abagambibwa okutta owa Mobile Money babazizza e Zzana

Hat1 220x290

Ebivuddeko ettemu okweyongera

Ebivuddeko ettemu okweyongera