TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Leero mu mboozi z’omukenkufu tukulaze ennima ya ‘Black pepper’ ekuwa ssente

Leero mu mboozi z’omukenkufu tukulaze ennima ya ‘Black pepper’ ekuwa ssente

By Musasi wa Bukedde

Added 11th October 2018

WIIKI ewedde aba Pro Bioresearch twawangudde engule okuva mu kitongole kya Uganda Manufacturers Association (UMA) ng’abasinze okwolesa ebintu ebiyamba Bannayuganda mu bulamu obwabulijjo.

Bayo1 703x422

Barbara Mulwana (ku kkono), minisita Kasaija ng’akwasa Nyanzi engule.

Obuwanguzi buno tebugenda eri ffe ffekka, wabula nammwe abasomi baffe era mbeebaza olw’obuwagizi.

Wiiki ewedde nakulaze emigaso gy’ebyobulamu egiri mu kirime kya ‘Black pepper’ oba muyite kaamulali omuddugavu.

Leero kankulage engeri gy’oyinza okumulima n’omukolamu ssente kubanga kirime kya ttunzi.

Ettaka w’ogenda okumusimba lirina okuba nga ggimu nga bw’olaba eribeera mu bibira.

Ssinga oba tosobodde kulifuna, osobola okwetgekera ettaka eggimu.

Ddira ettaka eriddugavu, tabulamu ekizimbulukusa nga bino bye bateeka mu mandaazi, ettaka ly’ebbumba, ogattemu ebisiriiza by’amagumba g’enkoko, obukuta bw’embaawo bw’obigatta n’obitabula ligenda kufaananira ddala ery’ekibira. Olisooka mu binnya ng’osimba.

Osobola okumusimba mu kibira, ayamba omuti okuwangaala kasita agulandirako kibuyaga nga tasobola kugusuula ate nga tegulumbibwa nkuyege naddala mu abo abalima kalittunsi.

Osobola okumusimba ne mu payini, emisizi emituba oba okumuteeka ku bikonde nga bw’olaba obutunda n’alandira okwo n’ofunamu ssente.

Ekinnya mw’osimba, kya ffuuti emu kungulu n’okukka wansi, era bw’oba omusimba omutunsi ogutunuza enjuba gy’eva kubanga yeetaaga ekitangaala eky’amaanyi okulanda amangu.

Bw’oba osimba, okuva ku muti gw’omuteereddewo kw’agenda okulandira musimire ekinnya nga kyesudde ffuuti bbiri okuva ku muti ogwo.

Teyeetaaga bigimusa, era enkuba bw’eba tetonnya mufukiririre ate bw’atandika okulanda mutereewo akati kw’asooka okulandira n’oluvannyuma akwate ku muti.

Ssinga alanda n’olaba nga tojja kumutuuka ng’onoga, kwata olulimi lwe olutunuze wansi nga bw’olaba bwe bakola ku Vanilla.

Bw’oba omulima teweetaaga kukoola kubanga kirime kya mu nsiko, ku mwaka gumu abeera akuze era yiika mwe wasimba ebikolo 1000 mu lunoga olusooka osobola okufuna kkiro 3000 nga buli kikolo kivuddeko kkiro ssatu ate buli emu egula emitwalo 50,000/- ng’akatale nkalina.

Tujja kwongera okusomesa ku ‘Black pepper’ mu musomo gwa ‘The great sundowner’ nga November 01, 2018 ku woteeri ya Equatorial mu Kampala.

Tujja kusomesa n’ebintu ebirala okuli okulima flax, okukola ennyama okuva mu ffene, emirimu gy’oyinza okukolera awaka n’ofuna ssente, okugatta omutindo ku masanda ga payini n’ebirala.

Asangibwa ku Equatorial Mall dduuka nnamba 152 mu Kampala. Mufune ku 0702061652 / 0779519652.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono

Bad1 220x290

King Michael akaayidde Balaam

King Michael akaayidde Balaam

Dot1 220x290

Ebyokutambula bino byetaagamu kasooda...

Ebyokutambula bino byetaagamu kasooda