TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abantu kwe basinziira okuteeka eby’obugagga byabwe mu mannya g’abalala n’ebizibu ebikirimu

Abantu kwe basinziira okuteeka eby’obugagga byabwe mu mannya g’abalala n’ebizibu ebikirimu

By Musasi wa Bukedde

Added 13th October 2018

YAFUUKA nkola abantu okugula ettaka, ekibanja oba ebizimbe ne babiteeka mu mannya g’abantu abalala okugeza abaana, bakyala baabwe oba owooluganda yenna ng’era kino bakikola olw’ensonga ez’enjawulo.

Kowo 703x422

Kiruma okukola ebintu nga bino n’obiteeka mu mannya g’omwana n’abikutundako.

Bya MARTIN NDIJJO NE JOANITA NANGOZI
 
Wadde abasinga bakikola beeyagalidde oba nga bakkiriziganyizza n’oyo mu mannya mwakitadde, bangi bafunye obuzibu ng’ekiseera ky’okweddiza eby’obugagga bino oba okubitunda kituuse olw’abo (mu mannya mwe baabiteeka) okugaana n’abamu okubitunda nga tebasoose kubeebuuzako.

ENSONGA LWAKI BYE BAGULA BABITEEKA MU MANNYA G’ABALALA

Munnamateeka Tiishekwa Ambrose Rukundo owa Tiishekwa A. Rukundo & Company Advocates agamba nti ng’oggyeeko abo abakikola ng’ekirabo ne bagabira abalala, ennaku zino bakikola lwa nsonga ssatu:

Etteeka ku by’obugagga Lino okusinga likwata ku bakozi ba gavumenti ne bannabyabufuzi. Kiri mu ssemateeka bano buli mwaka okwanja ebyobugagga bwabwe. Olw’okuba bangi bawuwuttanya ssente z’omuwi w’omusolo, okwewala amateeka okubakwata eby’obugagga ebimu babiteeka mu mannya g’abantu abalala okubuzaabuza. okuga bana eby’obugagga Kino okusinga kikwata ku bafumbo.

Olw’okuba etteeka liragira abafumbo bwe baawukana okugabana ebyobugagga, abasajja oba abakyala abamu basalawo ebintu byabwe omuli ettaka n’ebizimbe bye bafunye naddala nga munne tamanyi okubiteeka mu mannya g’abantu abalala mu mbeera ey’okubikweka. Kino kitegeeza nti ssinga bafuna obutakkaanya ne baawukana, ebyobugagga ebiri mu mbeera eno tebabigabana.

Okwewala omusolo Wadde kiri mu mateeka okusasula omusolo era oyo ateekeddwa okugusasula bw’atakikola avunaanibwa. Abantu abamu abalina ettaka eririko liizi oba ekizimbe ekipangisibwa okwewala okusasula omusolo oguva ku ssente ze bamusasula buli mwezi oba buli mwaka, abiteeka mu mannya g’omuntu omulala okwewala aba URA okulondoola ennyingiza ye.

Ensonga endala kuliko:

Omuntu akuliridde mu myaka asalawo okufuna omu ku baana be oba bonna n’abateeka mu by’'byobugagga bye. Ebiseera ebisinga omuntu oyo aba amwesiga ng’ayagala akuume bulungi eby’obugagga bye kyokka ate oluusi n’amwefuulira.

Abantu abamu bwe bamanya nti bafunye obulwadde obusobola okubatta mu bwangu bakikola okusobola okuziyiza enkaayana ku ttaka lyabwe ssinga babeera bafudde.

Abalala bakikola okutegekera abaana baabwe ebiseera byabwe eby’omu maaso babeere bulungi.

Waliwo abakikola ng’ekirabo eri omuntu amusanyusizza, amuyambye oba amubeereddewo okumwebaza oba okumisiima.

LW’OKYUSA ENDAGAANO GYE WATEEKA MU MANNYA G’OMUNTU OMULALA OKUDDA MU GAGO N’EMITENDERA EGIGOBERERWA

Munnamateeka Tiishekwa agamba kino kisobola okukwanguyira oba okuzibuwala okusinziira ku mbeera n’omuntu gw’okolagana naye mu nsonga eno ng’ate n’emyaka gy’omuntu oyo kikulu.

Okugeza emitendera gy’oyitamu ku mwana omuto si gyegimu n’egy’omuntu omukulu.

Rukundo yategeezezza nti okuteeka endagaano oba ekyapa mu mannya g’omuntu omulala, mu mateeka kimuwa obwannannyini ku kintu ekyo ekitegeeza nti asobola okukitwala sinnakindi okukitunda bw’aba ayagadde okuggyako ng’olina obukwakkulizo bwe wamuteerawo.

Ssinga amenya amateeka oba obukwakkulizo oli waddembe okumuwawaabira. Kyokka bwe wabeerawo embeera y’obutakwatagana okugeza ng’omwana gwe wawa ebintu byo akuze n’afuuka ekitagasa oba nga mubadde mukolagana n’omuntu ne mwawukana, mu mbeera eno bw’oba oyagala okumuggyako ebintu byo kikwetaagisa kugenda mu kkooti okubasalirawo.

Mu mbeera eno owandiikira kkooti ng’oginnyonnyola ensonga lwaki wateeka ettaka lino oba ekizimbe mu mannya g’omuntu omulala n’ensonga lwaki olyetaaga okukuddira.

Ssinga ensonga ezo kkooti ezirabamu eggumba, erina obuyinza okulagira omuntu oyo okukuddiza ekintu kyo.

Mu mbeera ey’omwana omuto ali wansi w’emyaka 18, okukyusa ekyapa olina kugenda mu kkooti ekola ku nsonga z’abaana n’amaka.

Rukundo agamba nti bw’oba oteeka ekintu mu mannya g’omwana omuto, olina okukiraga nti mwana muto n’emyaka gye n’olaga na ddi lw’aliweza emyaka 10 okusobola okweteegerera.

Mu mbeera ey’okweddiza ekintu kyo nga kiri mu mannya g’omwana omuto ali wansi w’emyaka 10, okusinziira ku ssemateeka, osaba kkooti (Guardianship order) ekiwandiiko ekikukkiriza okukola ku lw’omwana oyo.

Wano nawo olina okunnyonnyola kkooti lwaki kino wakiteeka mu mannya g’omwana oyo na lwaki oyagala okukyusa.

Rukundo yagasseeko nti ssinga kizuulwa nti ebigendererwa by’okukozesa amannya mu muntu omulala mwalimu embeera y’okumenya amateeka nga okwewala okuwa omusolo, obubbi n’ebirala kkooti esobola okugaana okukuddiza ebintu byo.

Ayongerako nti ssinga omuntu oyo gwe wawa obwannannyini ku ttaka agaana okuddamu okukyusa endagaano oba ekyapa, tewali tteeka lyonna limuvuunana ne bwe mugenda mu kkooti. Era alina obuyinza obwenkomeredde okukolerako ky’ayagala.

  • Ono agamba nti omuntu asussa emyaka 18 n’okudda waggulu kizibu nnyo okumuggyako obwannannyini okuggyako ng’oyogedde naye mu buntu n’addamu n’akkiriza okukyusa amannya ne likuddira.
  • Ate okusinziira ku munnamateeka Peter Nsibambi Kimanje, bw’oba wakyusa obwannannyini n’obuteeka mu mannya gy’omuntu omulala ne bw’aba mwana wo oba muganda wo, obeera wamuweera ddala era ettaka oba ennyumba gye wateeka mu mannya ge yekka y’aba alirinako obuyinza kubanga ggwe wabweggyako.
  • Kyokka Nsibambi agamba nti bw’oba oyagala okusigaza obwannannyini ku kintu ky’ogabye, olina naawe okuteekako erinnya lyo nga tewali asobola kutunda oba okukola ekintu kyonna nga temukkirizigannyizza. Era ssinga omu ayagala okutunda oba okukola ekintu kyonna ekikontana n’endagaano, amateeka tegamukkiriza.

Emitendera gy’oyitamu okukyusa amannya g’ebintu

  • Weegatta mu by’okunoonyereza ku ttaka lyo ne mukola endagaano okukyusa obwannannyini bw’ettaka.
  • Osaba ekiwandiiko ky’olina okujjuzaamu. Kino kikuweebwa minisitule y’eby’ettaka n’ojjuzaamu ebikwata ku ndagaano eyasooka okukolebwa n’empya gy’oyagala okukola.
  • Bw’omaliriza okusasula ssente oweebwa lisiiti gy’owa omuwadiisi w’eby’ettaka okusobola okukkiriza okunoonyereza nga endagaano tennakyusibwa.
  • Ekiwandiiko ky’okukyusa endagaano kikolebwa omuwandiisi w’eby’ettaka n’oweebwa ekiwandiiko kw’oba olina okujjuza ebikwata ku ttaka lyogenda okukyusa .
  • Omuwandiisi w’ebyettaka akuwa ekiwandiiko n’ojjuzaamu ebikwata ku ttaka okuli: ennaku z’omwezi, amannya ga nnannyini ttaka, amannya g’omuntu gw’oyagala okuteekako, obugazi bw’ettaka n’ennamba yo. Ssaabawandiisi w’ebyettaka akuwa n’empapula za banka z’oba olina okukozesa okusasulira endagaano empya gy’oba oyagala okukyusa ng’oyita mu banka.
  • Osasula ssente mu ofiisi y’eby’ettaka ez’okukola okunoonyereza ku ttaka ly’oba oyagala okukyusa obwannannyini.
  • Bwe kiggwa munnamateeka akuyambako okuwandiika endagaano nga bwerina okubeera. Olina okusasula omusolo gwa gavumenti ogw’ettaka lyo mu banka etegeeza URA nti omaze okusasula n’ebirala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Deb2 220x290

Aba UPDF bateereddwa ku ssomero...

Aba UPDF bateereddwa ku ssomero eryayidde e Rakai

Leb2 220x290

Emmotoka mwe ntambulira etuuse...

Emmotoka mwe ntambulira etuuse okunsuza ku kkuno-Bp. Ssebaggala

Pop1 220x290

Aba Poliisi ababadde bavunaanibwa...

Aba Poliisi ababadde bavunaanibwa okutta Kirumira bateereddwa

Pi3 220x290

Apass ajereze Kenzo ne Fik Fameica....

Apass ne Eddy Kenzo bawakana ani asinga okwesala emisono wabaluseewo olutalo lw'ebigambo

Sev2 220x290

Pulezidenti asisinkanye abagagga...

Pulezidenti asisinkanye abagagga abalwanira ebizimbe mu Kampala