TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kadaga alabudde ababaka okwetegekera 2021: 'Abamu ku mmwe abalonzi bayinza obutabakomyawo'

Kadaga alabudde ababaka okwetegekera 2021: 'Abamu ku mmwe abalonzi bayinza obutabakomyawo'

By Muwanga Kakooza

Added 14th October 2018

SIPIIKA Rebecca Kadaga akunze ababaka ba palamenti okutereka ku nsimbi ze bafuna n’okuzissa mu bintu ebizaaza baleme kufuuka kisekererwa abalonzi bwe baba tebabakomezzaawo mu Palamenti mu 2021.

Kadaga 703x422

Sipiika Kadaga

‘’Omwaka 2021 gujja kutuuka kyokka mulina okugwetegekera. Mutereke ku ssente ze mufuna muleme kuswala. Mu kisse mu mitima gyammwe nti muyinza obutadda mu 2021,’’ Kadaga bwe yagambye.

Bino yabyogeeredde mu lukiko lwa buli mwaka olwa  SACCO ya palamenti  n’agamba nti ababaka balina okukola ekisoboka okulaba nga bakozesa bulungi ssente ze bafuna.

Yagambye nti abamu ku bo abakuze mu myaka balina okusomooza kwa bamusaayi muto abali mu myaka 20 abaggagga okubasinga.

Waliwo abavubuka abali mu myaka 25 abalina bizinensi eziri mu bukadde nga 300 n’agamba nti ssi bangi ku babaka abalina ssente ezo ng’ate abamu emyaka gibagenzeeko.

Akulira kkampuni ya Vision Group  Robert Kabushenga yagambye nti kirungi omuntu okweterekera n’abaako ne ssente z’akozesa ne bw’aba avudde mu ofiisi gy’abadde akolamu.

‘’Tekyetaaga muntu kuddamu kwavuwala  bw’aba avudde ku mulimu gw’ofiisi. Nze nasalao kutandika kulima’’  bwe yagambye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabakafitri1 220x290

Kabaka ayagalizza Abasiraamu Idd...

KABAKA Ronald Muwenda II alagidde Bannayuganda okukuuma emirembe n’okusonyiwagana mu kiseera kino ng’Abasiraamu...

Mknded4 220x290

Famire eziyiridde mu nnyumba nga...

Abasiraamu mu kibuga ky’e Mukono baaguddemu encukwe ku Iddi munnaabwe eyabadde akedde ku maliiri okufumba emmere...

Mknmm3 220x290

Ddereeva okuva e Mutukula asangiddwa...

Ddereeva okuva e Mutukula asangiddwa Mukono ng’alina Corona virus-atwaliddwa mu kalantiini n’abalala babiri be...

Ssaavasennyonga 220x290

Paasita Ssennyonga awaddeyo emmere...

Paasita Ssennyonga awaddeyo emmere ya bukadde 300 okudduukirira abali ku muggalo

Lockdown309 220x290

Eyali awola ssente azzeeyo mu nnimiro...

ENSWA bw'ekyusa amaaso naawe ng'envubo okyusa ne Charles Tamale envubo agikyusirizza mu nkumbi okubaako ettofaali...