TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Famire ya Kateregga eyattiddwa ku bya Kirumira eddukidde mu kkooti

Famire ya Kateregga eyattiddwa ku bya Kirumira eddukidde mu kkooti

By Musasi wa Bukedde

Added 14th October 2018

Abdu Kateregga eyattiddwa abajaasi ba CMI e Namung’oona balinnye mu kyoto. Batutte mu kkooti obujulizi obulaga nti Kateregga yattibwa anyumya ne mukazi we ku kibanda ky’amanda.

Kate1 703x422

Yali tadduka ng’amagye bwe gagamba. Baagala kkooti eragire omulambo guziikulwe guddemu okukebwerwa.

Basaba wassibwewo akakiiko okubuuliriza ku ngeri Kateregga gye yattibwamu n’okuzuula oba nga ddala ye yatta Muhammad Kirumira kubanga famire erowooza nti Kateregga yattibwa bwereere teyalina musango.

Bino biddiridde abantu abalala okuvaayo okuwakanya okutta Kateregga kubanga ssinga yali akwatiddwa nga mulamu yandibadde aliko by’ayogera ku kutemula Kirumira.

Kateregga yattibwa September 29, 2018, amagye bwe gaamusanga e Namung’oona. Kigambibwa nti yali adduka kwe kumukuba amasasi.

Amagye gagamba nti Kateregga ye yatta Kirumira. Kyokka okuva lwe yattibwa ebizuuse biraga nti ayinza okuba nga yattibwa bwereere nga teyatta Kirumira.

Muganda wa Kateregga ayitibwa Farouq Kaweesa y’akulembedde famire okugenda mu kkooti nga bagamba nti tebaamatira ngeri muntu waabwe gye yattibwamu.

Ensonga bazitutte mu Kkooti Enkulu. Kaweesi alumiriza nti okuttibwa kw’omuntu waabwe kwakolebwa mu bukyamu.

Bawawaabidde Minisita w’ensonga z’omunda Gen. Jeje Odongo ne Ssaabawolereza wa Gavumenti.

Baagala kkooti eragire Gen. Odongo okussaawo okubuuliriza ku ngeri Kateregga gye yattibwamu mu bukambwe.

 

Balumiriza nti Kateregga we baamukubira amasasi yali ayogera ne mukazi we, Mariam Kasujja ku kibanda w’atundira amanda.

Mu kugezaako okulaga nti amagye gaakola kituufu, ne Muky.

Mariam Kasujja baamukwata ne baleka bamulekwa mwenda nga tewali abalabirira.

Kaweesi era yasabye kkooti eragire amagye okuleeta Mariam Kasujja mu kkooti kubanga okuva lwe yakwatibwa tebaddangamu kumulaba.

BAKUTTE ABALALA BASATU

Bambega abanoonyereza ku kutta Kirumira bazzeeyo e Namungoona ne bakwata abasajja basatu.

Kigambibwa nti abaakwatiddwa babadde basaalira mu muzikiti gw’e Namung’oona. Kyategeezeddwa nti nnamwandu wa Kateregga, Mariam Kasujja aliko bye yabuulidde bambega kwe baasinzidde okukwata abasajja bano.

Kigambibwa nti Kasujja yabuuziddwa ku ssimu ze yeekubira n’abasajja bano.

Abasajja be bamu baliko essimu ze beekubira ne Kateregga ne Abubaker Kalungi eyakwatibwa e Ndejje-Namasuba ku lw’e Ntebe n’avunaanibwa okutta Kirumira.

Kateregga ne Kalungi kigambibwa nti baaliko abayeekera ba ADF kyokka ne babivaamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kap1 220x290

Abadde yefuula omusawo n'abba abalwadde...

Abadde yefuula omusawo n'abba abalwadde mu ddwaliro Poliisi emukutte

Jingo1 220x290

Embaga za ba ssereebu; Eya Rebecca...

BW’OBALABALAMU embaga za basereebu, eya Joel Isabirye ne Rebecca Jjingo yekyasinze okumenya likodi.

Mentees4webuse 220x290

Abawala abazaala nga tebanneetuuka...

Abazaala nga tebanneetuuka e Kamuli basomeseddwa emirimu eginaabayamba okulabirira abaana ababazaalamu be babalekera...

Blick002 220x290

Blick ayagala kuwangula mpaka z'e...

Blick agamba nti ssinga awangula empaka z'e Hoima, kyakutangaaza emikisa gye egy'okusitukira mu ngule y'eggwanga...

Rdcwemukonokuddyofredbamwinengakwasageorgentulumeekirabokyesaawaekyamuweereddwaokumwebazaolwemirimugyewebuse 220x290

Ab'e Mukono baanirizza CAO ne RDC...

Ekitebe kya disitulikiti y’e Mukono kyanirizza CAO omuggya ssentebe wa LC V n'amulabula obuteesembereza ba ng’ambo...