TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Amagye gakutte Imaam w’oku Kaleerwe ku by’okutta Kirumira

Amagye gakutte Imaam w’oku Kaleerwe ku by’okutta Kirumira

By Moses Lemisa

Added 14th October 2018

AMAGYE gakutte ‘Seeka’ omulala ku by’okuttibwa kw’eyali omuduumizi wa poliisi y’e Buyende, Muhammad Kirumira ne gamuggalira ku kitebe ky’ekitongole ky’amagye ekikessi e Mbuya.

Kola 703x422

Jauhara mukyala wa Ssebbowa n’abaana be. Ku ddyo ye Ssebbowa

Ismael Ssebbowa, Imaam w’omuzikiti gwa Masjid Noor ogusangibwa ku Kaleerwe mu Ssebina Zooni mu Makerere III mu munisipaali y’e Kawempe, yakwatiddwa mu kiro ekyakeesezza Olwokuna.

Abaamukutte baamukubidde essimu nga bamuyita abawe empapula ezoogera ku balwadde b’ajjanjabira mu muzikiti.

Olwatuuse ku muzikiti, baamutaddeko empingu ne bamuteeka mu mmotoka ekika kya Toyota Hiace omwabadde abajaasi abaabadde bamulinze ne bamuvuga ne bamuggyawo.

Ekikwekweto kino, ekyakoleddwa ku ssaawa 10:00 ez’ekiro kyabaddemu aba poliisi n’amagye.

Ismael Nsanja amyuka ssentebe mu Ssebina Zooni yagambye nti, bwe baakutte Ssebbowa, baamukubidde essimu ne bamutegeeza nti Ssebbowa baabadde bamukutte era bamwetaaga okubaawo ng’omukulembeze.

Yagambye nti bwe yatuuse yasanze bamutaddeko empingu nga waliwo mmotoka eyeefaananyiriza takisi erimu abaserikale n’abalala nga bali ku kabangali ya poliisi.

Abamu baabadde mu yunifoomu ate abalala nga bali mu ngoye za bulijjo.

Agamba nti yeetegerezza nnyo n’alaba nga kuliko abaserikale ba poliisi y’oku Kaleerwe.

Agattako nti mu bye baabadde babuuza Ssebbowa, mwabaddemu ebiwandiiko ebikwata ku balwadde b’ajjanjaba mu muzikiti.

Nsanja yagambye nti, bwe yabuuzizza gye baba basanga omusibe baabagambye nti, bamutwala ku poliisi y’e Bulenga we wali fayiro ye CRB 127/2018.

Fayiro eno kwe kuli omusango gw’okuttibwa kwa ASP Muhammad Kirumira n’omuwala Resty Mbabazi Naalinya gwe yali naye mu mmotoka.

Kirumira yattibwa nga September 8, 2018 e Bulenga abatemu bwe baakuba mmotoka ye amasasi agaamuttirawo n’omuwala gwe yali naye.

Fayiro y’obutemu buno yaggulwawo era buli akwatibwa nga bamugattako. Nsanja yagambye nti ekyasinze okubamalamu amaanyi, baagenze okutuuka e Bulenga nga bagoberera omuntu waabwe, tebaamusanzeeyo ne babategeeza nti yabadde atwaliddwa e Mbuya ku kitebe ky’amagye ekya CMI.

Kigambibwa nti Ssebbowa yava Ntaawo e Mukono mu 2016 n’awamba omuzikiti okuva ku eyali Imaam waagwo Erias Katongole gwe baali balumiriza nti afuna ssente mpitirivu okuva mu balwadde b’ajjanjaba mu muzikiti.

Katongole omuzikiti bwe yagubalekera, Ssebbowa ne banne ne bagenda mu maaso n’okujjanjaba abalwadde.

Ssebbowa alina abakyala babiri b’alinamu abaana. Omu abeera mu Ssebina Zooni ate omulala mu Kibe Zooni era ku Kaleerwe nga bonna baasigadde tebamanyi kyakuzzaako.

Abamu ku bantu baabadde basuubiriza nti, Katongole ye yapangidde munne eyamusuuza omuzikiti ne bamukwata kyokka Katongole bwe twamutuukiridde yagambye nti, enkaayana z’omuzikiti zaaliwo dda ne ziggwa n’abalekera omuzikiti n’akola bizinensi ze noolwekyo okukwatibwa kwa Ssebbowa talina ky’akumanyiiko.

Mustwafa Jauhara, omu ku bakazi ba Ssebbowa yagambye nti, bba yabadde ekisanja akiwadde ye wabula ku ssaawa nga 10:00 ez’ekiro, waliwo abaamukubidde essimu nga bamusaba okubatwalira ebiwandiiko by’abalwadde b’ajjanjaba. Olwatuuseeyo ne bakwata mukwate.

Yagasseeko nti bba wa maka abiri ate ye ne muggya we balina abaana abato abeetaaga okulabirira.

Yagambye nti tebalina ssente za kulabirira maka n’asaba Gavumenti bba emuyimbule asobole okubalabirira.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Lucas Owoyesigyire bwe yatuukiriddwa ku nsonga za Ssebbowa yagambye nti tebamanyi ani yamukutte kubanga bbo tebamulina kyokka n’awa aba famire amagezi okutwala omusango ku poliisi batandike okumunoonya.

Okuva Kirumira lwe yattibwa, abantu bazze bakwatibwa era waliwo ne Kateregga amagye gwe gasse e Namungoona nga gamulumiriza okubeera mu lukwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab12 220x290

Okulonda kwa Ssentebe wa NRM e...

Okulonda kwa Ssentebe wa NRM e Mityna kuzzeemu kigoye wezinge

Gwe1 220x290

Taata bamuwadde emitwalo 30 n'awaayo...

Taata bamuwadde emitwalo 30 n'awaayo omwana we ew'omusamize bamusadaake

Nsamba22pulaaniusewebuse 220x290

Mukuume obumu musobole okwekulaakulanya...

Ab'ekika ky'Engabi beetaaga obukadde 13o okuzimba ekiggwa kyabwe

Omwala2webuse 220x290

Ab'e Kansanga beeraliikirivu olw'omwala...

Abatuuze e Kansanga mu Makindye beeraliikirivu olw'omwala ogwasalamu ekkubo gwe bagamba nti gwandigwaamu abaana...

Babaka1 220x290

Sipiika tuyambe naffe baagala kututta...

ABABAKA ba Palamenti musanvu baddukidde ewa Sipiika nga balaajana nti waliwo ababalondoola abaagala okubatta nga...