TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Munnamawulire agambibwa okuttibwa atabudde Saud Arabie ne America!

Munnamawulire agambibwa okuttibwa atabudde Saud Arabie ne America!

By Musasi wa Bukedde

Added 15th October 2018

Munnamawulire agambibwa okuttibwa atabudde Saud Arabie ne America!

Muk1 703x422

Jamal Khashoggi.

EMBEERA wakati wa Saudi Arabia ne Amerika eyongedde okusajjuka, Donald Trump bw’alangiridde nti agenda kubonereza Saudi Arabia mu ngeri ey’obukambwe bw’akakasa nti be basse munnawulire.

Kiddiridde amagye ga Turkey okufulumya kye gaayise obukakafu obuluma Saudi Arabia nti ye yasse Jamal Khashoggi. Jamal abadde akolera olupapula olw’amaanyi mu Amerika oluyitibwa The Washington Post, naye nga kukolokota Saudi Arabia n’abakulembeze baayo yeekansa.

Olw’okukolokota ennyo Obwakabaka bwa Saudi Arabia n’Abalangira baayo, baali baamwegezaamu okumutta n’addukayo era abadde emirimu gye agikola asinziira mu Amerika, Turkey n’amawanga amalala.

Okumutta kigambibwa nti baamusindikidde bakomando b’eggye lya Saudi Arabia 15. Kigambibwa Bakomando bano babadde bamaze okufuna amawulire nti Jamal ali Turkey ng’alina n’entegeka eziyitirako ku kitebe kya Saudi Arabia mu Turkey ekiri mu kibuga Instabul. Yabadde akimyeyo mpapula zimukkiriza kuwasa kabiite we ayitibwa Cengiz mu bufumbo obutukuvu ne bamuteega.

Akatambi amagye ga Turkey ge kaafulumizza kalaga Jamal ng’ayingira ku kitebe kino naye okuva lwe yayingirayo ku Lwokubiri nga October 2, 2018, taddangamu kulabikako.

ABAAMUSSE YABAKUTTE KU KATAMBI Amagye ga Turkey gaategeezezza nti galina amaloboozi n’ebifaananyi ebitambula (vidiyo) nga biraga bakomando ba Saudi Arabia 15 nga batulugunya Jamal okutuusa lwe yaweddemu amaanyi ne bamukuba amasasi agatavaamu maloboozi agaamusse.

Ekyewuunyisa, obwedda Jamal bamutulugunya ng’abakwata ku katambi ng’akozesa essaawa ye ekika kya APPLE gye yabadde asibye ku mukono. Olupapula lw’amawulire ofulumira mu Turkey olwa ‘Sabah’ lwategeezezza nti obwedda ebikwatibwa essaawa ye bisindikibwa butereevu ku ssimu ze ez’ekika kya IPHONE ne I CLOUD.

Nti Jamal kino yakikoze akigenderedde ng’amanyi bayinza okumutta naye nga mumalirivu nti bwe bamutta bajja kuba bamwettidde! Bwe kiba nga kituufu Saudi Arabira ye yasse Jamal, ate nga ddala kituufu yafudde, ejja kuba yamwettidde oluvannyuma lw’amawanga gakirimaanyi okugisitukiramu ennyonnyole oba si ekyo erindirire ebiddako.

Nga Trump amaze okukambuwalira Saudi Arabia, Bungereza ne Amerika zimaze okusazaamu olukuhhaana olubadde lutegekeddwa Kabaka wa Saudi Arabia Mohamed bin Salman. Olukuhhaana luno olubadde lutuumiddwa ‘Davos in the Desert’ lubadde lwakubaawo ku nkomerero ya mwezi guno. Abakungu okuva mu Amerika, Bungereza n’abalanzi bonna baaluvuddemu okutuusa nga Saudi Arabia ennyonnyodde Jamal gy’ali n’ebyamutuuseeko.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ret2 220x290

Proline esuze bulindaala

Proline esuze bulindaala

Yes3 220x290

Uganda esubiddwa eza Afrika

Uganda esubiddwa eza Afrika

Bok1 220x290

Abeebikonde bayiiseemu kavvu wa...

Abeebikonde bayiiseemu kavvu wa bukadde 60

Mis1 220x290

Ez'amaato bazongeddemu ebirungo...

Ez'amaato bazongeddemu ebirungo

Kip2 220x290

Sheikh Dr. Rashid Semuddu Edduwa...

Sheikh Dr. Rashid Semuddu Edduwa y’okusiibulukuka Allah agyanukulirawo