TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kiikino ekika kya Kamulali ekikuwa ssente ku myezi esatu

Kiikino ekika kya Kamulali ekikuwa ssente ku myezi esatu

By Musasi wa Bukedde

Added 15th October 2018

Kiikino ekika kya Kamulali ekikuwa ssente ku myezi esatu

Kam1 703x422

Katamba ng'alaga Kaamulali,

KKAMPUNI ya Vision Group efulumya ne Bukedde, ekwataganye ne bbanka ya dfcu, ekitebe kya Budaaki mu Uganda, kkampuni y’ennyonyi eya KLM ne Koudjis Nutrition BV, okunoonya omulimi n’omulunzi asinga mu Uganda omwaka gwa 2018 wansi w’omulamwa ogugamba nti ‘Obulimi obukolanga bizinensi?’ Abanaavuganya mu mpaka zino mujja kutuweereza amannya gammwe tubatuukirire tubawandiikeko buli Mmande.

leero AMON MUKASA akuleetedde Shiekh Abdul Akim Katamba ‘‘Ttiya gaasi” nga Imaam w’omuzikiti gwa Masigid Nuur e Nasejjobe nga mutuuze ku kyalo Kabembe mu ggombolola y’e Kasawo mu Mukono ng’akulaga ennima ya kaamulali wa ‘Chil’ ey’omulembe.

OKUTANDIKA KAMULAALI kye kimu ku birime omuntu mw’asobola okufuna ssente ssinga omulimi awaayo obudde n’anoonyereza ekika ekituufu eky’ettunzi nga tekirumbibwa bulwadde.

Mu kusooka nnali mulimi wa mmwaanyi era zannyamba mu kuweereranga abaana, wabula akawuka bwe kajja ne kazirya kumpi kuzimalawo ate nga nalina abaana abasoba mu 20 b’empereera ensi n’ensobera. Nalina mukwano gwange nga Omuyindi bwe twali twogera n’ampa amagezi okutandika okulima kaamulali.

Nasalawo okutandika okulima kamulaali era natandika n’ekika kya Hot pepper, ono bookisi nga tugitunda 4000/- olumu nga kasingawo okusinziira ku bbeeyi. Wabula ekizibu kye nasanga mu kaamulali ono nga bamwesosola mu ku mugula ate enkuba bw’eyitirira ng’ayatika.

Bwe natambulako mu balimi ab’enjawulo ne bye nalabanga gye tumutunda kwe kusalawo okukyusa ekika ne ntandika okulima ‘chili’ ekika kya bad eye wadde nga waliwo ebika ebirala okuli chili short eye, cayene n’ebirala naye nze nasalawo okulima bad eye y’asinga okuba ow’ettunzi, ate ku myezi esatu obeera otandise okunoga.

 alanzi ngafukirira kamulali Kalamba ng'afukirira kamulali

 Bad Eye abeera n’obukoola bufunda nga buwanvu, kyokka kaamulali yennyini aba mutono nga muwanvuyirivu nga bw’olaba olugalo. ENNIMA Okumulima osooka kuyiwa nassale beedi nga muno amalamu omwezi gumu n’osimbuliza.

Mu kalimiro mw’omuyiwa funa ettaka eriddugavu olitereeze bulungi n’oluvannyuma oliggyemu obufunfugu oteekemu ebigimusa, oyinza okuteekamu nakavundira oba obusa sinakindi kalimbwe avudde mu bukuta bw’enkoko n’otabula bulungi n’ettaka n’oluvannyuma n’oyiwa ensigo.

Bw’omala okuyiwamu ensigo zzaako ettaka nga ttonotono okuzanguyiza okumera, bwe zimala okumera wayita omwezi gumu n’ekitundu n’otandika okusimbuliza. Naye nga zikyali mu beedi olina okuzifukirira buli lunaku.

Bw’oba osimba mu nnimiro, leka amabanga ga ffuuti ssatu ku ssatu okuva ku kikolo ekimu okutuuka ku kirala, kino kimuyamba okukula nga yeetaaya n’abala nnyo. Kirungi kaamulali okumusimba ng’olina w’ogenda okufuna amazzi okumufukirira kubanga amalawo ekiseera kiwanvu sizoni y’omusana n’emusanga, kino kitegeeza okusobola okumufunamu olina okumufukirira.

Olina okumufuuyirako eddagala ery’obuwuka kubanga waliwo ekiwuka ekimulya, mufuuyire buli luvannyuma lwa nnaku 14. Olina okumukuuma nga temuli muddo, wabula muteekeko ekigimusa ky’oba osobodde okufuna oyinza okugula ebizungu bw’oba n’obusobozi oba okukozesa ebya nakavundira.

Ku myezi esatu n’ekitundu ojja kutandika okumukungula era nga anaatera okukungulwa tofuuyira ddagala kubaanga ku katale k’ebweru gye tusinga okumutwala tebalyagala. Ssinga obeera omulabiridde bwotyo, asobola okuwangaala emyaka ebiri n’okusingawo.

OKUKUNGULA Katamba agamba nti, bw’otandika okunoga onoga emirundi ebiri mu wiiki, naye kino kisinziira ku katale k’olina n’obugazi bw’ennimiro. Bw’obeera okungula olina okunoga akuze wadde nga tannaba kuba nga ayengedde, kyokka alina okuba ng’alaga nti anaatera okukyusa langi.

Buli wiiki nkungula emirundi ebiri ku Mmande n’olwokuna okusinziira ku katale akabaawo. Mu kiseera kino mu wiiki nnoga kkiro 350, nga buli emu ngitunda 5,000/-. Wiiki nfuna 1,750,000/- nga sinaggyako misoso okuli entambula emutwala e Kampala, abakozi n’ebirala era hhenda okubiggyako nga nsigazza 1,000,000/- buli wiiki nga kino nsobola okukikola okumala emyezi ena.

AKATALE Akatale ka Kaamulaali weekali, naye ng’okusinga gwe tulima wano tumutunda bweru wa ggwanga. Naye ng’okusinga agenda e United Arab Emirates ne Bungereza olumu n’ensi endala okusinziira ku kkampuni emutwala. Kino kitegeeza nti kikulu nnyo okubaza emyezi gy’akatale akalungi ebweru naddala nga bali mu butiti kubanga akatale kaawano katono era toyinza kukesigamako, e Nakasero bamugula naye batwala mutono ddala. Naye kikulu ate obutamala gafuuyira ddagala litta akatale, kaamulali bw’omutwala bakuwa ennamba era bw’atuuka ebweru basobola okwemulugunya ku kaamulali nga bakozesa eyo ennamba ne bamanya ani yatutteyo atali ku mutindo. Ekirungi ekirala ekiri ku kaamulali ono, ssinga bbeeyi y’omubisi eba mbi nnyo osobola okumukaza n’otunda omukalu ekitali ku hot pepper.

ABAKOZI Kye nasooka okukola kwekuba nga nsomesa abaana bange, era mu luwummula be bakola mu nnimiro anti mwe muva fiizi ne basoma, kino kitegeeza ne bwemba siriiwo omulimu gutambula. Wabula nnina abakozi abatali bankalakkalira era nsinga kubakozesa mu biseera by’okukungula kuba mba neetaaga abantu bangi okunoga amangu, okuggyako ne mu biseera by’okulima.

EKITUNDU KINFUNYEEMU Sikoma ku kugaba mirimu kyokka, nsomesa abantu ebyobulimi ne ku muzikiti nayo nsomesezaayo era waliwo kati abatandise okulima kaamulali olw’okubaagazisa era bwe bamukunygula nze amutwala e Kampala ne mmutunda ne mbaleetera ssente.

OKUKUUMA EBITABO Kino kikulu, kubanga kye kisalawo oba okola oba tokola. Abalimi abamu balemwa okukuuma ebitabo ekivaamu butamanya oba bizinensi ekola n’omuwendo gw’amagoba g’aba afunye.

Twala eky’okulabirako kya kaamulali akungulwa kati, natandika okusimbuliza nga March 20, 2018 ne ntandika okunoga June 08, 2018 nga nasooka kunoga kkiro 15 buli emu ne ngitunda 5000/- ne nfuna75000/- ate olunoga olw’okubiri lwaliwo June 22, 2018 ne nnoga kkiro 22 ne nfuna 110,000/-. Bwentyo mbeera mpandiika okutuusa omusiri lwe guggwaako nga ne sssente ezifuluma ne ze nteekamu zonnanziwandiika.

OKUSOMOZEBWA Akatale ka kamulaali kakyukakyuka naddala ku katale k’ensi yonna olw’amawanga agamu okumulima bbeeyi n’egwa n’etuuka ku 1500/- ate nga tetulina busobozi ku kasalawo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bajjo13 220x290

Bajjo asindikiddwa Luzira.

pulomota Bajjo bamusindise mu kkomera e Luzira okutuusa wiiki ejja.

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Sab2 220x290

Yinginiya basanze afiiridde ku...

Yinginiya basanze afiiridde ku ‘sayiti’

Tip2 220x290

bakitammweEyalumbye owa difensi...

bakitammweEyalumbye owa difensi akwatiddwaBasonze