TOP

Ebinyeebwa bitemere emirundi 2 okubala obulungi

By Musasi wa Bukedde

Added 15th October 2018

Ebinyeebwa bitemere emirundi 2 okubala obulungi

Kob2 703x422

Kasirye Ggwanga ng’alambula ebinyeebwa bye.

WIIKI ewedde twakulaze engeri munnamagye eyawummula Maj Gen Kasirye Ggwanga gy’alabiriramu olusuku n’ebika by’ebitooke by’asaimba ebitatya musana. Talima kirime kimu agamba kino akikola okutega wano ne wali kuba ekimu bwe kiba tekiyingiza ate ng’afuna mu kirala n’abeera ng’ayingiza ssente ekiseera kyonna.

Leero atunnyonnyola ku nnima y’enbinyeebwa ku nnimiro ye gye yakazaako erya Camp David esangibwa ku kyalo Nakisunga e Mukono mu Kyaggwe ng’eriko yiika 218. Eebinyeebwa nkuze nkimanyi nti kye kirime ekitagwa katale era kizibu okuwulira nti byagudde nga okugwa kwabyo kkiro ekoma mu 4,000/-.

Naye nakizuula bnga biriko emirimu okubirima abalimi kye bava babyepena ne bisobola okusigala waggulu nga n’ebimu bye tyulya kati biva Malawi sso nga ku ttaka lyaffe biddako ate n’abalimi bakaaba obwavu.

Omulimi alina okukimanya nti buli kirime ekyangu okulima tosobola kukifunamu nsimbi, kubanga buli omu alima ekyo okukkakkana nga kingi ku katale bbeeyi n’ekka. Mu kubirima nakizuula nti bitya nnyo omusana, kwe kusala amagezi kuba nasima amazi ne ngula ttanka eziwera ne nziwanika waggulu gye gava ne gadda mu nnimiro era nsobola okubirima ekiseera kyonna.

Nnima ekika kya nampekebbiri bino buli kinyebwa kibaamu empeke bbiri zokka. Ebinyeebwa mbirina ku yiika 20. Mu kusimba nsookamu busa kubanga nakizuula nabyo byagala ettaka nga ggimu wabula obugimu tebulina kuyitirira kubanga bisobola okuleeta amakoola amangi ne bitabala. Noolwekyo ettaka teririna

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit114 220x290

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba...

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba emmere

Fud1 220x290

Omugagga Ham awaddeyo obukadde...

Omugagga Ham awaddeyo obukadde 100 okudduukirira abali obubi olw'embeera ya Corona Virus

Denisonyango1703422 220x290

Coronavirus atta - Onyango

KAPITEENI wa Cranes, Denis Onyango, akubirizza Bannayuganda okwongera okwegendereza ssennyiga omukambwe 'COVID-19',...

Nakanwagigwebaalumyekoomumwa1 220x290

Emmere etabudde omukozi wa KCCA...

OMUKOZI wa KCCA alumyeko muliraanwa we omumwa ng’amulanga okutuma omwana okubba emmere ye, naye abatuuze bamukkakkanyeko...

Hell 220x290

Gav't etaddewo kampeyini ya ‘TONSEMBERERA’...

Gavumenti etaddewo kampeyini etuumiddwa “TONSEMBERERA” mw’eneeyita okutangira okusaasaana kwa ssennyiga wa coronavirus....