TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abakyala mubateeke ku mwanjo mu kutumbula omutindo gw’emmwaanyi

Abakyala mubateeke ku mwanjo mu kutumbula omutindo gw’emmwaanyi

By Musasi wa Bukedde

Added 15th October 2018

Abakyala mubateeke ku mwanjo mu kutumbula omutindo gw’emmwaanyi

Reb2 703x422

UGANDA yeegasse ku nsi yonna okukuza olunaku lw’emmwaanyi ng’etunuulidde okuweza obusawo bw’emmwaanyi obukadde 25 mu 2025. Minisita w’obulimi, obulunzi n’obuvubi, Vincent Ssempijja yagambye nti, amaze okutuukirira minisitule y’ebyensimbi okulaba ng’omusolo ogwateekeddwa ku mmwaanyi ogwa 1 ku 100 gusalirwa amagezi kubanga gunyigiriza abalimi n’abasuubuzi b’emmwaanyi.

Yagambye nti, wadde gavumenti yayagala abalimi n’abasuubuzi b’emmwaanyi nabo babeeko kye bateeka mu nsawo y’eggwanga kwe kuteekawo omusolo guno, naye era bagamba gubanyigiriza nga kibakaluubiriza okugusasula.

Bukedde 23 Mmande October 15, 2018 Bino Ssempijja yabyogeredde ku mukolo gw’okukuza olunaku lw’emmwaanyi mu Uganda ogwabadde MUZARDI e Mukono wiiki ewedde.

Yagambye nti, okusobola okutuukiriza ekirooto ky’okwongera ku bungi bw’emmwaanyi ezitundibwa ebweru wa Uganda, tewalina kubeerawo kikaluubiriza balimi ba mmwaanyi kubanga be batunuuliddwa eggwanga okusobola okutuukiriza ekirooto kyalyo. Ssempijja yayongeddeko nti, ebbago ly’etteeka erigendereddwaamu okuluhhamya ekirime ky’emmwaanyi okugeza okukuuma omutindo kisobole okuwa emmwaanyi za Uganda enkizo ku katale k’ensi yonna.

Dr. Victoria Ssekitoleko eyali minisita w’ebyobulimi yagambye nti, omulamwa ogwatambuliddeko olunaku ogugamba nti “Okusiima omulimu abakyala gwe bakola okutumbula emmwaanyi” gwabadde mutuufu kuba abakyala beeyongedde obungi mu mulimu guno ate n’emisiri egimu abasajja gye bayita egyabwe be bagirabirira.

Yagambye nti, essuubi ly’akatale k’emmwaanyi lyeyongera buli olukya era nga kati bongedde okuzikolamu ebintu eby’enjawulo omuli kaawa, wayini n’ebirala ekiwa amaanyi nti akatale kagazi.

Ye Teopista Nakkungu omukwanaganya w’ekibiina kyaInternational Womens Coffee Alliance yagambye nti, okulima emmwaanyi kwongedde okusitula abakyala ate mwattu tezitawaanya nga n’omunafu asobola okuzirima ekiyambye okutumbula embeera zaabwe.

Era mu kwongera ku bungi bw’emmwaanyi mu ggwanga abakyalina balina okuteekebwa ku mwanjo kuba be bayamba ne ku baami okutuukiriza emirimu gyabwe. Uganda esobola okuyitimuka mu by’ensimbi ssinga obulimi bw’emmwaanyi bwongerwamu amaanyi n’abalimisa ne batuuka ku balimi wansi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Njagala ananjagala nga bwendi

Njagala ali wakati w’emyaka 50 - 55, alina omulimu, omwetegefu okundabirira, okunfunira eky’okukola n’okugenda...

Abanoonya22 220x290

Njagala musajja ananfaako

Nneetaaga mwami Musiraamu, atya Allah ng’ali wakati w’emyaka 38 - 40 ng’asobola okufaayo ku bulamu bwange n’abaana...

Hhh 220x290

Baze takyalina maanyi

BAZE ennaku zino alina ekizibu, talina bulungi maanyi ga kisajja naye ng’ekizibu nkimanyi talina mulimu.

Ssimu 220x290

Engeri gy’owuliziganya n’omwagalwa...

Wabula wadde embeera eno weeri, ate abaagalana balina okusigala nga bawuliziganya ne baganzi baabwe okulaga nti...

Mat14 220x290

Eyali Minisita omubeezi ow'ebyobulimi...

Eyali Minisita omubeezi ow'ebyobulimi Vicent Nyanzi adduukiridde ebitongole bya Gavument