TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Alunda enkoko ez’ennyama n’amagi weekwate ekirungo kya ‘INTRACO

Alunda enkoko ez’ennyama n’amagi weekwate ekirungo kya ‘INTRACO

By Musasi wa Bukedde

Added 15th October 2018

Alunda enkoko ez’ennyama n’amagi weekwate ekirungo kya ‘INTRACO

Kat2 703x422

EMMERE nkulu nnyo mu bulunzi bw’enkoko, Omulunzi ky’alina okussaako ennyo omyoyo okukakasa nti emmere gy’agulira enkoko ze ya mutindo ogugenda okumuwa ekisinga mu nkoko ze.

Peter Ssenkungu dayirekita wa kkampuni ya Nutrinova etuusa kuno ebirungo by’emmere y’enkoko ebikolebwa abakugu mu by’emmere y’ensolo n’ebinyonyi aba Novus International okuva mu Amerika ne Intraco Ltd okuva mu Belgium agamba nti ggwe omulunzi ayagala okukola amagoba olina kwekwata birungo byabwe ofune amagoba.

Agamba nti ng’abakugu mu kisaawe ky’okulunda enkoko, abalunzi abagoberedde amagezi g’ekikugu agabaweebwa abakugu okuva mu kkampuni yaabwe basobodde okukulaakulana n’okukyusa amalundiro gaabwe kyokka era bangi abagwa ssinga tebagoberera magezi ga kikugu naddala mu ndiisa.

Ebirungo mu mmere y’enkoko birina okukyuka okusinziira ku bukulu bw’enkoko okusobola okuziwa bye zeetaaga mu kiseera ekyo okukula n’okukuwa obulungi ng’omulunzi ofune amagoba.

Okugeza emmere y’enkoko z’ennyama ento esookerwako (Starter) erina okubaamu ekirungo kya Protein nga kingi ku bitundu 24 ku 100 kuba zikyetaaga okuzimba omubiri n’okukula mu bwangu ate nga ey’enkoko ezikuze okuzitwala mu maaso n’ezituuse okutunda (grower ne finisher) ekirungo kino kikendeezebwa okutuuka ku bitundu 20 ku 100 kuba zibeera zeetaaga kitono kyokka ez’amagi erina ekirungo kino kitera kubeera ebitundu 16 ku 100 okutwaliza awamu.

Bino byonna bikwetaagisa omukugu mu bisaawe kino okukulambika okwewala okukola ensobi ezigenda okukuviirako okufiirizibwa ssente z’ogenda okussa mu mmere n’ebirala ng’enkoko tezikuwadde kye wabala kuzifunamu nga wano kkampuni eno weenyingiriramu okukutuusaako ekirungo eky’omutindo n’okukuwa amagezi ku ndiisa y’enkoko zo ekuwa amagoba

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kavuma1jpgweb 220x290

Omukazi yanfera omukwano

Nze Abdurrahman Musingunzi 25, mbeera Kalerwe. Twasisinkana n’omukazi mu ttendekero erimu eryobusomesa e Ibanda...

Mwana2jpgweb 220x290

Abazadde basobeddwa olw'omwana...

Abazadde basobeddwa olw'omwana waabwe okuyubuka olususu buli olukya naye nga tebamanyi kimuluma. Bagamba nti omwana...

Kadaga 220x290

Kadaga alabudde abakozesa obwana...

Sipiika wa Palamenti, Rebecca Kadaga asabye gavumenti okussaawo amateeka amakakali agakangavvula abakozesa abaana...

Ndagamuntuyomugenzi2 220x290

Afiiridde mu mulyango nga bamutwala...

Abatuuze basabye bannannyini mayumba okukomya okupangisa abantu amayumba nga tebafunye bibakwatako

Sat2 220x290

Ttiimu 40 zikakasizza okwetaba...

Ttiimu 40 zikakasizza okwetaba mu mpaka za Begumisa cup