TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Nneekolera ebigimusa okuva mu muddo ogunneetoolodde

Nneekolera ebigimusa okuva mu muddo ogunneetoolodde

By Musasi wa Bukedde

Added 15th October 2018

Nneekolera ebigimusa okuva mu muddo ogunneetoolodde

Deb2 703x422

NNINA emmwaanyi yiika emu n’ekitundu, buli sizoni nali nkungulamu ensawo 5 eza kibooko, wabula okuva lwenafuna omusomo okuva mu kitongokle kya Caritas nga kikolaganira wamu ne ACSA, kati nfuna ensawo 15 eza kibooko buli mwaka.

Kino kyayongera ku nnyingiza yange kubanga bwe nzitwala ne nsunsulamu kase nfunamu ekiwera era ne fiizi z’abaana tekikyali kizibu kyange. Bwatyo Deborah Kayima Namakula omutuuze ku kyalo Kimbugu ekisangibwa mu kabuga k’e Mpigi bw’atandika okukunyumiza engeri gye yayiga okwekolera ebigimusa ne kikyusa amakungula g’afuna mu mmwaanyi n’ebirime eby’enjawulo by’alima.

OKUKOLA EDDAGALA Namakula agamba nti, weetaaga evvu, lino olipima okusinziira ku nnimiro gy’ogenda okufuuyira, okuhhaanya ebika by’emiddo egy’enjawulo okuli ssere, kawunyira, kafumbe, ebbombo kaamulali, cuucu, kibugga, kamyu n’eirala emikambwe. Muno ogattamu amazzi n’omusulo gw’ensolo oba ogw’abantu (guno gulina okuba nga guwoze). Emiddo sooka ogikunye gizaale omubisi, koona kaamulali bw’agonda omuteeke mu mazzi n’oyiwemu evvu ly’olaba nti lya kigero otabule mu mubisi ogwavudde mu middo. Bw’omaliriza okutabula obulungi osobola okukozesa eddagala eryo okufuuyira oba okwongeramu ku musulo n’ofuuyira.

Bw’oyongeramu omusulo oteekwa okuddamu okulitabula ne linoga bulungi. OKUFUUYIRA Eddagala lino mu buli liita 20 ez’amazzi oteekamu liita ttaano ez’edagala n’ofuyira. Osobola okufuuyira nga weeyambisa ebbomba oba osobola okukwata akeeyeyo ku muntu alina ebirime mu luggya.

Likolanga ekigimusa ate ng’ekiseera kye kimu ddagala eritta obuwuka obulumba ebirime. Oluvannyuma lw’essaawa nga munaana ng’omaze okufuuyira ssinga weetegereza obuwuka obuba bwabaddewo bwonna buba bufu. Ssinga buba busaanyi nga bwe bubadde bulya ebirime byo nabwo tebuddamu kubirya.

EKIGIMUSA Okwanguyirwa okukikola olina okuba n’ebisolo ebiyinza okukuwa obusa okugeza embizzi oba ente. Kuba buno ate bw’obukuhhaanya ne buwola bulungi busobola okukolerawo ekigimusa ky’oteekerawo ku kirime oba okusimbisa ate ne kikola. Engeri endala oyinza okusooka okubuterekeko ennaku nga 14.

Nga ziweze otabulemu omuddo guli waggulu guvundiremu okumala ennaku 21 onoogenda okubibikkula nga bikoze ekigimusa ekirungi. Ebirungi ebiri mu ddagala Caritas lye yanjigiriza, kyangu okulikola ate osobola okulikola nga totaddeemu wadde ennusu. Wabula nasimba n’ekibira eky’emiti ekya Termineria ekiyamba okukola ekibira ne Caliandra nga guno nguliisa ente n’embuzi.

Banjigiriza n’okulimira awafunda, wadde nga mbeera mukyalo, naye ennimiro zange zitandikira ku luggya nga nnimirawo ebintu eby’enjawulo naddala enva endiirwa. Nnimira mu bisawo ate nga nakola n’amasiga agakekkereza enku n’okusima ekidiba ekirembeka amazzi agafukirira ebirime ate nga sitaddeemu seminti.

Mu kwogera okwekulaakulanya mu byobulimi, ate ndi musomesa w’abalimi abalala nabo ne bayiga ennima ey’omulembe nga twegattira mu kibiina kya Kimbugu Kitebe ky’amagezi mwe tuyita okulima n’okutereka ensimbi ze twewola okwongera okwekulaakulanya.

Ebirungi ebiri mu ddagala Caritas lye yanjigiriza, kyangu okulikola ate osobola okulikola nga totaddeemu wadde ennusu. Advocacy Coalition for Sustainable Agriculture, P.O.BOX 14125 Kampala, Email: acsa.ug@gmail.com, Info@acsaug.org, www.acsaug.org Alina ekibuuzo , genda mu ssimu yo teekamu.

OMULIMI, lekawo akabanga sindika ku 6565. oba kuba 0772463220, 0703315757.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abr1 220x290

Empaka za ASFAs bazongeddemu ebirungo...

Basereebu beesunga kuwangula ngule mu mpaka z'emisono eza Abryanz Style and Fashion Awards (ASFAs)

Siba 220x290

Leero mu mboozi z'omukenkufu, tukulaze...

EMMWAANYI kyabugagga era bajjajjaffe baazitunda ne bakolamu ebintu eby’enjawulo omwali okusomesa abaana, okugulanga...

Kusasiraserenandijjo32 220x290

Ekyabade mu kivvulu kya Kusaasira...

Ekyabade mu kivvulu kya Kusaasira ku Serena: Museveni ayanukudde Mayinja ku by'oluyimba lwa 'Ebintu bizzeemu'

Cf67bb0a32be4b27bedf0076e8e46208 220x290

Bazannye ffirimu ku ngeri abavubuka...

Ekitongole kya Reach a hand nga kiri wamu n'Omunigeria kafulu mu kuzannya ffirimu Emmanuel Ikubese basabuukuludde...

Teekamu 220x290

Eyanzigya mu ssomero yeegaanye...

NKIZUDDE kati nti eyannimbalimba n’annemesa emisomo yali ayagala kunkozesa nga tanjagala bya ddala.