TOP

Kanye West ne Kim Kardashian baawaanye Uganda

By Martin Ndijjo

Added 15th October 2018

Omumerika Kanye West ne mukyala we Kim Kardashian bacamudde pulezident Museveni. baawaanye Uganda nti ggulu lya ku nsi lw'obutonde.

Kani4 703x422

okuva ku kkono; Kanye West

Omuyimbi Omumerika, Kanye West ne mukyala we Kim Kardashian leero bakyalidde Pulezidenti Museveni mu maka g’Obwapulezidenti e Ntebe.

Mu nsisinkano gye babaddemu, Pulezidenti Museveni  asanyuse okubalaba era abebazizza okukyala mu Uganda.

ng'ayita ku mukutu gwe ogwa 'twitter' pulezidenti ategeezezza nti mu birala bye boogeddeko y'engeri  basereebu bano ab’amannya mu nsi gye bayiza okuyamba okutunda n’okutumbula eby’obulambuzi bya Uganda.

Oluvannyuma Kanye West atonedde pulezidenti Museveni engatto ez’ebbeeyi kika kya ‘sneakers’ ne pulezidenti abawadde ekitabo kye ekya  Mustard seed.

 anye est ngakwasa pulezidenti useveni engatto gye yamutonedde Kanye West ng'akwasa pulezidenti Museveni engatto gye yamutonedde

 

Kanye ne mukyala we batuuka Lwakutano mu Uganda era bano balinnyirawo butereevu ennyonyi kika kya nnamunkanga eyabatutte e Chobe Safari Lodge ekimu ku bifo eby’omulembe era eby’ebbeeyi ekisangibwa ku kkumiro ly’ebisolo erya ‘Murchison Falls National Park’ gye basula.

Wadde nga mu kujja, Kanye West yalaze nti azze kukwatta vidiyo y’olumu  ku nnyimba ze, ensonda zitegezezza nti ono ne mukyala we bagenda kumala kuno wiiki nnamba nga bawuumuddeko.

 kanye est ayambadde enkofira ngali mu kulambula kanye West ayambadde enkofira ng'ali mu kulambula

 

Ng’ogyeko okukwatta vidiyo, bano bakeera kwotta kasana  n’okusika ku empewo ey’omulembe okuva ku mugga kira (River Nile) oguyita mu kitundu kino.

Obutonde bw’ensi obuli mu kitundu kino bucamudde, Kim Kardashian era ng’ayita ku mukutu gwe ogwa  ‘SnapChat’ awaanye Uganda gy’ayise eggulu ly’oku nsi olw'embeera y'obudde n'obutonde bw’ensi anti e Chobe buli watunnula alaba kiragala na mazzi g’omugga kira.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

She1 220x290

Abaafunye akabenje mu Ambulance...

Abaafunye akabenje mu Ambulance baziikiddwa

Rak1 220x290

Ssentebe w'ekyalo Laddu emukubye...

Ssentebe w'ekyalo Laddu emukubye n'afiirawo e Rakai

Gat2 220x290

Asangiddwa ng'agenda okukwata abaana...

Asangiddwa ng'agenda okukwata abaana akkiriza omusango n'asaba ekisonyiwo

Mut1 220x290

Ssaabasajja aggaddewo ekisaakaate...

Ssaabasajja aggaddewo ekisaakaate kya Maama Nnabagereka

Mala1 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA AFULUMYE...

Mulimu abayizi 5 abasinze mu buli ssomero mu disitulikiti ez’enjawulo. Tukugattiddeko n’ebifaananyi byabwe nga...