TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Gavumenti egenda kusengula abantu 6000 okuva e Bududa

Gavumenti egenda kusengula abantu 6000 okuva e Bududa

By Muwanga Kakooza

Added 16th October 2018

Gavumenti egenda kusengula abantu 6000 okuva e Bududa

Kat1 703x422

Musa Ecweru minisita w'ebigwa tebiraze

GAVUMENTI egenda kusengula abantu 6,000 okuva mu disitulikiti y’e Buduuda   mu Bugisu ng’ebatangira okubuutikirwa ettaka.
 
Olukiiko lwa baminisita olwatudde ku Mmande lwalagidde minisitule  y’ensimbi okuggya mu ggwanika obuwumbi 32 okukola ku nsonga z’okusengula abantu bano.
 
Kino kidiridde abantu abasoba mu 40 okufa oluvannyuma lw’ettaka okubabuutikira ng’entabwe eva ku kawakatirwa k’omugga Manafa okujjula ne gwanjaala olw’enkuba efukumuka mu kitundu kino.
 
Akola ng’omuwandiisi wa minisitule y’ebigwa tebiraze  Joel Wanjira ategeezezza bannamawulire  ku palamenti  nti ensimbi ze zibadde zikyabasibye kyokka gavumenti emaze okuzita era bagenda kutandika ku mulimu guno.
 
Abantu bagenda kutwalibwa ku ttaka lya gavumenti e Bulambuli mu Bugisu. Wanjira yagambye nti ku mulundi guno bagenda kukozesa ku kifuba okuggyayo abaana baagala okugaanira basobole okutaasa obulamu bwabwe.
 
Mu 2010 waliwo abantu ababuutikirwa ettaka era gavumenti n’egezaako okuggyayo abaasigalayo ebatwale e Kiryandongo ku ttaka lye yali ebagulidde. Kyokka waliwo abaawalira ne bagaanira e Busigu nga beekwasa ensonga z’ebyobuwangwa ng’obutaleka biggya bya bajjajjaabwe  n’ebifo mwe baazaalirwa era mwe bakulidde.
 
Omubaka wa Buduuda omukyala Justine Kayinza  yagambye nti abantu  mu kiseera kino beeteefuteefu okusenguka era balindiridde gavumenti kubatwala.
 
Yagambye nti batandise okubala abantu okusobola okumanya abaafudde  n’abatanamanyikako mayitire basobole n’okutegera abakyaliwo.
 
Pulezidenti Museveni yagenze mu kitundu kino n’alambula abaakosebwa ekibambulira kino  n’awa buli famile eyafiirwa omuntu obukadde butaano ate abaalumizibwa n’abawa obukadde bubiri.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Gat2 220x290

Abagambibwa okutigomya Matugga...

Abagambibwa okutigomya Matugga Poliisi ebakutte

Gata 220x290

Atutte malaaya ku poliisi lwa kumumma...

GWE baakubye ennyondo ne bamunyagako pikipiki yeeraliikiriza abooluganda lwe oluvannyuma lw’abantu abatamanyiddwa...

Tamale11 220x290

Mabirizi atutte Tamale Mirundi...

MALE Mabiriizi atutte Tamale Mirundi mu Kkooti Enkulu olw’okumulebula bwe yagamba nti minisita Kuteesa yamukozesa...

Kwasa 220x290

Enguudo ezibadde ziyimbya Bannakampala...

ENGUUDO ssatu ezimaze emyaka nga zikaabya bannakamapala KCCA ezikwasizza kkampuni ezizikola era omulimu gutandise....

Alalo1 220x290

Bategese okusabira eyafiira mu...

Poliisi ekwataganye ne famire y'omuserikale eyafiira mu nnyonnyi nebategeka okumusabira ku kkanisa ya All Saints...