TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ebya Federo ne regional tier bikomyewo mu palamenti

Ebya Federo ne regional tier bikomyewo mu palamenti

By Muwanga Kakooza

Added 16th October 2018

Ebya Federo ne regional tier bikomyewo mu palamenti

Rep1 703x422

ABABAKA bakubaganye empawa ku kya gavumenti okussa mu nkola  enkola ya ‘regional tier’ ng’abamu bagamba nti  nnungi era esobola okuwa abantu obuyinza okwekolera ku nsonga zaabwe ng’ate abalala bakiwakanya nga bagamba nti ‘federo’ y’esinga.
 
Wabula abamu baagambye nti enkola ya desentulolayizesoni eriwo bw’eba erongooseddwa abantu bagifunamu okusinga ‘federo’ oba  ‘regional tier’ n’olwekyo amateeka agafuga gavumenti z’ebitundu mu nkola eriwo (desentulolayizesoni) ge gasaanye okulongosebwamu.
 
Bino byabadde mu kakiiko ka palamenti aka gavumenti z’ebitundu akaatandise okwekenenya ekiteeso ekyaletebwa omubaka Steven Mukitare (Buliisa) ng’ayagala gavumenti esse mu nkola ‘regional tier’ kuba yassibwa mu Konsityusoni.
 
 Enkola ya ‘Regional tier’ Mmengo yali egikirizza kyokka ne waggyawo enkalu ku nsonga y’abantu okukuba akalulu  mu kulonda Katikkiro wa Buganda kye bagamba nti kikontana n’obuwangwa. Okuva olwo ebintu ne bizikira wadde enkola eno mu Konsityusoni y’eggwanga mweri.
 
Wabula Mukitare yagambye nti Katikkiro anaalondebwa mu nteekateeka eno wa bakopi era  n’agamba nti Kabaka ajja kuba n’obuyinza okwerondera owuwe ow’ebyobuwangwa atakubwako kalulu.
 
Ssentebe w’ababaka ba Buganda mu palamenti Muyanja Ssenyonga (Mukono South) yagambye nti ebya ‘regional tier’ byakwetoloola. N’agamba nti ky’ekiseera eggwanga liddemu okukubaganya ebirowoozo ku federo.
 
Mukitare ye yagambye nti ‘regional tier’ egenda kuyamba ebitundu okwekolera ku nsonga zabyo mu kifo ky’okulinda gavumenti eya wakati olumu etamanya mangu byetaago by’abantu ba bitundu.
 
 Wabula abawagira enkola ya desentulolayizesoni baagambye nti okulongoosa amateeka agafuga gavumenti z’ebitundu kijja kuyamba okusinga okudda mu ‘regional tier’. Ne bagamba nti disitulikiti zaakutulwamu dda tewali nsonga lwaki baddamu okuzigatta.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mala1 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA AFULUMYE...

Mulimu abayizi 5 abasinze mu buli ssomero mu disitulikiti ez’enjawulo. Tukugattiddeko n’ebifaananyi byabwe nga...

Morning 220x290

Obulamu bw’okweyombekera kkoyi...

OBULAMU obw’omu bumenya! Bayibuli ekirambika nti ekitonde ekisajja kineegattanga n’ekitonde ekikazi ne bakola obufumbo...

Ssenga1 220x290

Bakwana batya?

Ekizibu kye nnina kya nsonyi ate nga ndi muvubuka wa myaka 21. Ntya n’okugamba ku muwala yenna. Ssenga nsaba kunnyamba...

Yaga 220x290

‘Muntaase puleesa egenda kunzita...

MUSAJJA mukulu Ssaalongo Vincent Kigudde 78, awanjagidde akakiiko akabuuliriza ku mivuyo gy’ettaka kamuyambe ku...

Nyanzi 220x290

Dr. Stella Nyanzi alemedde e Luzira...

Dr. Stella Nyanzi ajeemedde ebiragiro bya kkooti bw’agaanye okulinnya bbaasi y’abasibe emuleeta ku kkooti nga bwe...