TOP

Imam abasibiridde entanda

By Deo Ganyana

Added 16th October 2018

Imam abasibiridde entanda

Kop1 703x422

Abamu ku bawala abagenda okukola mu Saud Arabia

IMAM W’omuzigiti gwa Bilal e Nalukolongo mu  munisipaali ye Lubaga Sheik Uthuman Lubega  akubirizza abaana abawala okunyikira okwekolera ennyo kubanga  kati ensi wetuuse ne bwaba musajja ng'anoonya mukyala wa kuwasa ayagala oyo alina keyeekoleddewo

Bibo Imam Lubega abyogeredde ku mukolo kw’abadde ng’asiibula abawala abasoba mu 50 abatwaliddwa kampuni ya Jabez Consultants Limited mu ggwanga lya Saudi Arabia okukola emirimu egyenjawulo  ng’emu ku makubo agayitibwa okumalawo ebbula ly’emirimu mu ggwanga naddala mu Bavubuka .

Lubega yakuutidde abawala okubeera ab’empisa ate ebeetowaze kubanga  abantu bebagenda okubeeramu okumala emyaka ebiri balinda embeera zaabwe ndala  bogerageranya ne babadde babeeramu mu Uganda nga kyetaagisa okubeera abagumiikiriza  okubola okubategeera era n’abasuubiza okusigala nga babalondoola wamu n’ekitongole okulaba embeera 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bim1 220x290

kkooti ewadde ekiragiro ku mpaka...

kkooti ewadde ekiragiro ku mpaka z'obubina

Lop1 220x290

Eyawambye omwana ku ssomero n'asaba...

Eyawambye omwana ku ssomero n'asaba ssente poliisi emukutte

Kis1 220x290

Omulimu gw'okuzimba ekisaawe kya...

Omulimu gw'okuzimba ekisaawe kya Nakivubo gutambula bulungi

Sarangabaagaembuzinekikondekyekunokwebayitaokugikubaekikondeweb 220x290

Ntunda mitwe gya mbuzi okuweerera...

Emitwe gy'embuzi gye nsasulwa mu kuzibaaga mwe mpeeredde abaana n'okwongerako emirimu emirala.

United1 220x290

Kiikino ekizembe kw’olabira Dubai...

DUBAI eyongedde okussaawo likodi! Ku kizimbe ekisinga obuwanvu mu nsi yonna, egasseeko ekizimbe ekyakulanga “Fuleemu”...