TOP

Ow’emyaka 85 alese ekiraamo ekikakali

By Musasi wa Bukedde

Added 16th October 2018

O’emyaka 85 alese ekiraamo ekikakali

Set1 703x422

MULYANYONZA afudde yeekoledde ssente ze. Ye mukazi eyasooka okugula emmotoka ku kyalo, abadde n’ente 300 ku faamu n’ebyobugagga ebirala. Kyokka yakola ekiraamo ekikambwe ekirimu okumuziika mu nju ye ey’ebisenge omukaaga.

Emmotoka ye n’ebintu ebirala yalagidde tewaba abikwatako. Ku ntaana yagaanayo abantu bonna okuli n’abaana be n’abazzukulu- yakkirizaayo abantu mukaaga bokka nga bonna ba kkampuni ekola ku by’okuziika gattako Munnaddiini eyakulembedde okusaba.

Margaret Mulyanyonza 85, ow’e Kambaala mu Ggombolola y’e Maanyi mu Mityana yafudde puleesa ku Lwokuna akawungeezi era yaziikiddwa eggulo mu nju ye nga bwe yalaama. Abadde mututumufu naddala mu byobulimi n’obulunzi e Mityana.

 Abadde alima nnyo emmwaanyi, amatooke, kasooli obummonde n’ebirala. Abadde yeekoledde erinnya mu kulunda ente, w’afiiridde ng’aweza ente 300 ku faamu. Mu 2015 yazimba ennyumba ya bisenge mukaaga mwabadde asula ne bazzukulu be. Enju kuliko galagi mwabadde asuza emmotoka ye ekika kya Spacio.

Obulwadde bwe bweyongedde okumugonza yayise abazzukulu n’abategeeza obutasobya ku biri mu kiraamo kubanga yakiwandiika ategeera bulungi. Yababuulidde ebikulu mu kiraamo era n’alagira muzzukulu we Vincent Ssemuddu okubitegeeza ab’ekika n’abakungubazi.

EBIRI MU KIRAAMO lNga nfudde, omulambo gwange gukwasibwe aba Funeral service amangu ddala. lNnina okutwalibwa mu kkanisa y’e Bujuyi wabeewo okusaba n’oluvannyuma okuziika.

lAba Funeral Service baweebwe omulambo okumala ennaku bbiri zokka guziikibwe. lSaagala ku nziika mu ssuuka wadde embugo. lSsaagala bantu bangi ku mulambo gwange. Oluva mu kkanisa gutwalibwe awaka mu boologanda.

Aba Funeral Service basime entaana mu nju.

lNjagala emmotoka yange esigale mu galagi yaayo. Tewaba agivuga. lOlunaku kwe ndifiira n’ennaku z’omwezi birambibwe. Njagala ku lunaku olwo wabeewo emikolo gy’okunzijukira buli mwaka.

AZIIKIDDWA NGA BWE YALAAMA Omulambo gwaggyiddwa awaka ku Lwomukaaga ne gutwalibwa kkampuni ekola ku by’okuziika. Baagukomezzaawo ku Ssande ne bagutwala mu kkanisa gye gwavudde okutwalibwa mu maka ge gye gwasuze.

Essaawa y’okuziika bwe yatuuse gwafulumiziddwa mu luggya awaabadde okusaba okumpimpi olwo abakozi mukaaga aba kkampuni enziisi ne basitula omulambo okugutwala munda mu nju.

Baakulembeddwa omuwandiisi w’obulabirizi bwa Central Buganda, Rev. Kaleebu Bamulanzeeki. Yaziikiddwa mu galagi era mu kiraamo yateekamu ebigambo “Nja kubeeranga mu galagi n’emmotoka yange.

 amulekwa Bamulekwa

 

Tewabanga agikwatako.” Kyokka okuva lwe yafudde waliwo abamagye bakira abalawuna ekitundunga tekyategeerekese oba yaleka abalagidde okukola ku byokwerinda.

Abaana b’omugenzi abaakulembeddwa Godfrey Munyawera baategeezezza nga nnyaabwe bwe yabalaga omukwano n’olwekyo balina okussa mu nkola buli kye yalese abalagidde okukola.

Mulyanyonza yazaala abaana musanvu ,babiri ne bafa. Alese bataano okuli abalenzi basatu. Ate abazzukulu 100. Ssentebe w’eggombolola y’e Maanyi, Yafeesi Ssekibuule yamwogeddeko ng’abadde omukozi era eyasooka abakazi bonna okugula emmotoka mu kitundu.

Rev. Kaleebu Bamulanzeeki eyakulembedde okusaba yakubirizza abakungubazi okulabira ku mugenzi, buli omu akolerere obukadde bwe ng’akyali mulamu. Era buli muntuyeekubemu ttooci adde eri Katonda. Omubaka omukazi owa Mityana, Judith Nabakooba ne David Kalwanga owa Busujju boogedde ku mugenzi ng’abadde omukozi ennyo. Ne bakubiriza abaana okusigala nga bakola ebirungi nga nyaabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abr1 220x290

Empaka za ASFAs bazongeddemu ebirungo...

Basereebu beesunga kuwangula ngule mu mpaka z'emisono eza Abryanz Style and Fashion Awards (ASFAs)

Siba 220x290

Leero mu mboozi z'omukenkufu, tukulaze...

EMMWAANYI kyabugagga era bajjajjaffe baazitunda ne bakolamu ebintu eby’enjawulo omwali okusomesa abaana, okugulanga...

Kusasiraserenandijjo32 220x290

Ekyabade mu kivvulu kya Kusaasira...

Ekyabade mu kivvulu kya Kusaasira ku Serena: Museveni ayanukudde Mayinja ku by'oluyimba lwa 'Ebintu bizzeemu'

Cf67bb0a32be4b27bedf0076e8e46208 220x290

Bazannye ffirimu ku ngeri abavubuka...

Ekitongole kya Reach a hand nga kiri wamu n'Omunigeria kafulu mu kuzannya ffirimu Emmanuel Ikubese basabuukuludde...

Teekamu 220x290

Eyanzigya mu ssomero yeegaanye...

NKIZUDDE kati nti eyannimbalimba n’annemesa emisomo yali ayagala kunkozesa nga tanjagala bya ddala.