TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ensonga ezaawalirizza Jennifer Musisi okulekulira

Ensonga ezaawalirizza Jennifer Musisi okulekulira

By Musasi wa Bukedde

Added 16th October 2018

Ensonga ezaawalirizza Jennifer Musisi okulekulira

Lap2 703x422

JENIFFER Musisi alekulidde ekifo kya dayirekita wa Kampala (Executive Director, KCCA). Abadde akyabuzaayo omwaka mulamba n’ekitundu okumalako ekisanja ekyokusatu. Kontulakita y’omulimu gwe ebadde eggwaako April 15, 2020.

Pulezidenti Museveni yamulonda mu kifo ekyo nga April 15, 2011. Akoledde emyaka musanvu n’ekitundu.

Eggulo yakedde mu ofi isi. Essaawa zaabadde nga 6.00 ez’emisana n’ategeeza abakozi be abamuli ku lusegere nga bw’agenda okulekulira. Ku ssaawa nga 10 ez’olweggulo yawaddeyo ebbaluwa y’okulekulira okuva nga December 15, 2018. Ebbaluwa eri Pulezidenti yagiyisizza mu Minisita wa Kampala Beti Kamya.

Okulekulira kwa Musisi kujjidde mu kiseera ng’ayita mu kusoomooza kunene era abamanyi eby’omunda bagamba nti yali agaanyi okuzza obuggya endagaano ye kyokka Pulezidenti n’amusaba ayongere okuweereza bwatyo n’azza obuggya endagaano mu April 2017.

ENSONGA EZIMULEKULIZZA Bajeti ya KCCA yasalibwa Gavumenti ng’eyita mu Minisitule y’Ebyensimbi ne kikaluubiriza nnyo Musisi emirimu naddala okuyimirira kwa pulojekiti ezimu okuli okukola enguudo.

Okusasula emisaala gy’abakozi n’ensako ya bakansala bibadde bikalubye. Okugattika ebyobufuzi mu nkola y’emirimu. Musisi asanze obuzibu bw’ekibuga okubaamu abooludda oluvuganya ab’amaanyi abakulemberwa Loodi meeya Erias Lukwago. Bano babadde bawakanya oba okukuba ebituli kumpi mu buli nteekateeka ya ttiimu ya Musisi.

Embeera yayongedde okukaluba n’aba NRM bennyini okuli Pulezidenti Museveni bwe baavaayo ne bategeeza nti Musisi ye yabawanguza mu kalulu ka 2016 kubanga bwe yali agogola ekibuga yagoba abantu bangi okuli abatembeeyi ku nguudo.

Musisi kumpi abadde asigadde mu bbanga kubanga emirundi mingi ne Minisita wa Kampala, Beti Kamya eyandibadde amuwagira ate naye abadde awakanya ebimu ku bikolebwa KCCA.

Obutasolooza misolo: Ng’oggyeeko KCCA okulagirwa okulekera aba URA okusolooza ssente z’emisolo mu kibuga, Musisi yafuna obuzibu olw’ekiragiro kya Pulezidenti ekigaana okusolooza emisolo egimu ku bavuga takisi n’abakolera mu butale. Takisi zaali zivaamu ssente nnyingi, era obutazisolooza kyazza nnyo KCCA emabega mu by’emisolo.

Abakozi okuleka emirimu; Musisi yakitadde mu bbaluwa eri Pulezidenti nti abakozi bangi abalungi bava mu KCCA olw’emisaala egiri wansi ate nga n’abamu babakozesa ng’abakozi ab’ekiseera kubanga tewali nsimbi zibawa mirimu gya nkalakkalira.

Kino yakyogeddeko nti kiterebula naddala ku bakozi abatendekeddwa obulungi. Kyokka mu bbaluwa ey’emiko 21 erekulira, yamenye ebintu bingi ebituukiddwaako. N’agamba nti; okusolooza emisolo kulinnye okuva ku buwumbi 30 mu mwaka gw’ebyensimbi 2011/12 okutuuka ku buwumbi 89 n’obukadde 400 mu 2016/17.

Kyokka wadde avudde mu KCCA, alese omukululo gw’okuba omu ku bakazi abamaanyi. Abadde mulwanyi wa ntalo nga yasooka lwa kugoba Gen David Tinyefuza mu nnyumba ya KCCA e Kololo. Eyali Meeya Nasser Sebaggala naye baamugoba mu nju ya KCCA n’efuulibwa ekifo ekikwanaganya okuwa abavubuka emirimu. Awagidde nnyo ttiimu y’omupiira ya KCCA.

Awagidde nnyo ensonga za Buganda era ye yawoma omutwe mu kukola oluguudo oluva ku lubiri e Mmengo okutuuka ku Bulange. Oluguudo olugenda ku lubiri lwa Ssaabasajja e Banda nalwo yalukola. Atadde amaanyi ku kuyoola kasasiro n’okuddaabiriza amasomero.

Atadde amataala ku nguudo. Kyokka era wabaddewo baakutte awaluma okuli Muky. Sarah Kizito gwe yali asengula ku Centenary Park, okumenya ebizimbe by’abagagga ebitali ku pulaani n’okumenyawo obutale nga Park Yard.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sema 220x290

Mesach ekivvulu kimuwuuba

OMUYIMBI Mesach Ssemakula amanyiddwa nga Golden Papa kati gwe baawadde n’ekitiibwa kya ‘‘Sir’’ bw’oba omunoonya...

Funa 220x290

Square Milez ne Deborah Kandi temwekola...

ABAYIMBI Deborah Nakandi eyeeyita Deborah Kandi ne Kisaakye Micheal Joseph amanyiddwa nga Square Milez ebintu bye...

Baba 220x290

Swengere ne Maama Kalibbala bali...

HUSSEIN Ibanda amanyiddwa nga Swengere ne munnakatemba munne Maama Kalibbala bali luno.

Lap2 220x290

Owoomuluka awerennemba na gwa ttaka...

Owoomuluka awerennemba na gwa ttaka

Siralexferguson1132188 220x290

Aba ManU bampisaamu amaaso - Sir...

EYALI omutendesi wa ManU, Sir Alex Ferguson ayogedde ku mbeera eyali ttiimu ye gy'erimu n'agamba nti ekwasa ennaku....