TOP

Tubalinze mu Mbuutu y’Embuutikizi tubakalakate emiziki

By Martin Ndijjo

Added 17th October 2018

Abayimbi abagenda okuyimba mu kivvulu kya Bukedde FaMa Embuutu y’Embuutikizi kalakata bakoowodde abaddigize okujja mu bungi babakube emiziki.

Mbu 703x422

Abamu ku bayimbi abagenda okuyimba mu Mbuutu y'Embuutikizi

“Ffe tubalinze mu Mbuutu y’Embuutikizi  tubakalakate emiziki.” bwebatyo abayimbi omu kw’omu obwedda bwe bawaga n’okukowoola abawagizi babwe okweyiwa mu kivvulu kya Bukedde FaMa  Embuutu y’Embuutikizi kalakata ku Ssande ejja nga October 28, 2018 mu kisaawe e Wankulukuku

Abayimbi ab’enjawuulo okubadde; Spice Diana, Carol Nantongo, B2C, Triplets Ghetto Kids, n’abalala abakulu n’abato basinzidde mu lukung’aana lwa bannamawulire olutudde ku kitebe kya Vision Group efulumya ne Bukedde enkya ya leero,

bategezza nga bbo bwe bamaze okwetegeka n’okuwawula amaloboozi kati balinze lunaku lwa Mbuutu basanyukire wamu n’abawagizi babwe n’abawuliriza ba Bukedde Fa Ma ng’ejjaguza okuweza emyaka 10 ng’ebuutikidde leediyo enddala mu ggwanga

mu bayimbi abalala abagenda okubeerayo kuliko; Jose Chameleone, Cindy, bandi ya Da Nu Eagles nga bakulemeddwamu Geoffrey Lutaaya, Irene Namatovu , Gravity Omutujju n’abalala abasoba mu 30

Herbert Yawe Kabanda akulira Bukedde Fa Ma 100.5 ne 106. 8 e Masaka ne 96.6 e Mbarara ng’ayogera ku binnonnoggo ebisiddwa mu kivvulu kino agambye, buli ayingira ajja kuvaayo n’ebirabo mu ngalo omuli ne ssente enkalu ate waliyo n’omukisa okulinnya mu nnyonyi okulambula  Kampala eri abbo abanasooka okuyingira obutasuuka ssaawa 7:00 ez’emisana.

Ate Bills Bills Mboijana 'Butoddene' omu ku bakituuzi ba Vision Group agasseko nga eby’okwerinda bwe bigenda okuba eby’amaanyi okutangira abamenyi b’amateeka ate ekyuma kya Silk Events eky’omulembe kye kipangisiddwa okukuba emiziki.

Kkampuni  ezitaddemu ssente okuli; aba Prestige Margarine, Jomay Properties, Uganda Breweries abasogola Bell, Peps Cola, Movit  Producrs Ltd wamu ne MTN

Fayinolo y’ekigwo

Mu kivvulu kino era mutegekeddwamu ne fayinolo y’ekigwo ggumbya.

Abamegganyi  abaayiseemu okuva mu bitundu eby’enjawulo ku lunaku luno we bagenda okwegera eryanyi okufunako omuwanguzi w'omwaka guno era  Yasin Kaddu owa Jomayi ategezezza nti omuwanguzi bagenda kumuwa ekyapa ky'ettaka 100x 50 bamugattireko  akakadde kamu aka ssente ne ggaali maanyi ga kifuba ssaako ebirabo ebirala okuva mu ba Prestige Margarine.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pp 220x290

Abayimbi Bannayuganda battunse...

Abajamaica;Christopher Martin ne D-Major bakubye Bannayuganda emiziki egibaccamudde

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...

Bazigu1 220x290

Abazigu balumbye amaka e Munyonyo...

ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka...