TOP

Trump akubye enfo z’aba Al Shabaab e Somalia

By Musasi wa Bukedde

Added 18th October 2018

Trump akubye enfo z’aba Al Shabaab e Somalia

Sib1 703x422

AMERIKA esindise ennyonyi zimutasubwa ne zisesebbula enfo z’abatujju ba Al Shabaab mu Somalia okukkakkana nga 60 battiddwa. Ennyonyi zino ezikozesa tekinologiya owa waggulu ennyo nga zeevuga zokka (drones) zaasimbudde mu nfo yaazo mu Buwalabu ne zoolekera Somalia ne zisesebbula abatujju nga bakomando ba Amerika bazirondoolera ku kompyuta.

Zaakubye tageti ne zimala ne ziddayo. Luno lwe lulumba lw’okukozesa ennyonyi olukyasinze obunene Amerika lwe yali ekoze ku Al Shabaab mu myaka ebiri egiyise, okusinziira ku kiwandiiko ekyafulumiziddwa eggye lya Amerika. “Luno lwe lulumba lw’ennyonyi olusinga obunene lwe twakoze ku Al Shabaab okuva mu November 21, 2017 lwe twasindika ennyonyi ne zisesebbula abatujju bano tumale tubattemu 100 n’okwonoona enfo zaabwe,’’ ekiwandiiko ekyafulumiziddwa ekitongole ky’eggye lya Amerika ekivunaanyizibwa ku Afrika bwe kyategeezezza.

Olulumba luno lwabaddewo ku Lwokutaano e Somalia nga lwasinzidde mu kitundu ekimanyiddwa nga Harardhere ku lubalama lw’eriyanja lya Buyindi (Indian Ocean) amagye ga Amerika we gatendekera eggye lya Gavumenti ya Somalia n’okukwatagana n’eggye ly’omukago gwa Afrika erya AMISOM erikuuma eggwanga eryo.

Eggye lya AMISOM lirimu n’abajaasi ba UPDF Gavumenti ya Uganda be yasindikayo okuyamba mu kukuuma emirembe e Somalia. Aba Al Shabaab beewaana nti be baatega bbomu e Lugogo ne Kabalagala mu Kampala mu 2010 ezatta Bannayuganda abasoba mu 80 abaali balaba omupiira gw’ekikopo ky’ensi yonna mu mpaka ezaali e South afrika .

Ennumba z’okweyambisa ennyonyi n’ebikompola okukuba al Shabaab zeeyongedde mu Somalia mu bbanga lya myezi ng’ebiri egiyise era nga kino kiddiridde pulezidenti wa Amerika, Donald Trump okukkiriza bakomando b’amagye ga Amerika agali mu Somalia okuwuttula abajambula ba Al Shabaab n’amaanyi gonna agasoboka.

“Ennumba z’ennyonyi zinafuya amaanyi ga Al Shabaab ne balemwa okutegeka obulumbaganyi bwonna mu kitundu kino. Ennumba zino zitaataaganya abakulembeze b’abatujju n’okubalemesa okwetaaya mu Somalia”, eggye lya Amerika bwe lyategeezezza.

Abatujju bakozesa ekitundu ky’obukiikaddyo bwa Somalia okutegeka obulumbaganyi omuli okutta,okubba n’okukangakanga abantu baabulijjo okubaggyako ssente basobole okukola ebikolwa byabwe by’obutujju.

Bino we bijjidde ng’abatujju balumiramwoyo baakamala okwesiba bbomu ne batta abantu 16 mu wooteeri e Baidoa mu Somalia. Era olulumba luno lwazze omwaka guweze bukya bbomu z’abatujju ezaali mu mmotoka zitta abantu 500 mu kibuga Mogadishu.

Bano be bantu abaakasinga okuba abangi abattibwa Al Shabaab omulundi ogumu. Omwezi oguwedde eggye lya Amerika lyagamba nti lyo ne banywanyi baalyo abalwanyisa obutujju baali balumbiddwa abajambula ba Al Shabaab e Somalia ekyabawaliriza okuzzaayo omuliro bamale batteabantu 18 mu bukiikaddyo bwa Somalia. Mu June komando wa Amerika yattibwa mu bulumbaganyi mu bukiikaddyo bwa Somalia era abajaasi b’eggwanga eryo bana baalumizibwa owa Somalia n’attibwa .

Abajaasi ba Amerika nga 500 bakolagana n’eggye lya AMISOM eririmu ne UPDF, okulwanyisa obutujju buno. Abatujju baagobwa mu kibuga ekikulu eky’e Somalia mu 2011 ne babuna emiwabo ng’eno gye basinziira okukola obulumbaganyi ku bantu baabulijjo n’abalala be balowooza nti balabe baabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono