TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bakutte 2 ku by'omuwala eyafiiridde ku kyeyo e Jordan

Bakutte 2 ku by'omuwala eyafiiridde ku kyeyo e Jordan

By Musasi wa Bukedde

Added 19th October 2018

POLIISI mu Kampala ekutte abantu babiri ku by’omuwala Juliet Nakiyimba, eyakukusibwa n’atwalibwa mu ggwanga lya Jordan oluvannyuma gyeyafiiridde mungeri etategeerekeka.

Waa 703x422

Omugenzi Juliet Nakiyimba

BYA STUART

Poliisi egamba nti abaakwatiddwa kuliko Timothy Wakhasa ne Muhammed Musoke.

Bano baakwatiddwa Poliisi y’e Katwe gye baabadde bagenze okwewaayo ku Lwokusatu lwa wiiki eno.

Bba w’omugenzi ayitibwa Moses Nyakana, agamba nti mukazi we bwe yali ava ewaka yamutegeeza nti yali agenda mukyalo kulaba ku bakadde be kyokka ekyamujje enviiri ku mutwe  kwekumulinda nga tadda.

Ono agamba nti, oluvannyuma yafuna amawulire nti waaliwo abantu abaali basomedde mukazi we diiru y’okugenda e Jordan okukuba ekyeyo kyokka nga tebayise mu makubo matuufu.

Nyakana nga mutuuze womu Kiganda Zooni, mu divisoni y’e Makindye  mu Kampala, agamba nti, oluvannyuma mukaziwe yamusindikira obubaka ku ssimu ng’amusaba okumusonyiwa olw’obutamutegeezaako nti yali agenda kulinnya ennyonyi akube ekyeeyo.

Ayongerako nti, waliwo omuntu eyamukubira essimu ng’antegeeza ng’embeera ya mukaziwe bweyali yeeraliikiriza.

Nga yayise akabanga, omugenzi kigambibwa nti yaweereza bba obubaka ku ssimu ng’amutegeeza nti yeegendera bweru kunoonya ssente era n’amugumya nti, yali waakudda mu biseera ebitali byewala.

“Omwezi oguwedde waliwo omuntu eyankubira essimu n’antegeeza nti mukazi wange yali atabuse omutwe nti era yali yabuuka  ku kizimbe eky’emyaliiro etaano ne yekkata wansi. Kino kyampaliriza okwekubira enduulu ku Poliisi nga njagala ekitongole kya Al Saudi, ekyamukukusa ne kimutwala kimukomyewo nga mulamu era kinnyonnyole ensonga eyamubatwaza,” Nyakaana bw’annyonnyola.

Kigambibwa nti nti aba Al Saudi Agency, basangibwa Kibuye ku luguudo oludda e Salaama, mu divisoni y’e Makindye, era nga Nakiyimba baamuyisa mu ggwanga lya Rwanda mu mwezi gwa August w'omwaka guno (2018) ne balyoka bamutwala e Jordan gye yafiiridde.

Lipoota z’abasawo ziraga nti omugenzi yafa nga 4th September 2018, ate  omulambo gwe ne gukomezebwawo mu Uganda nga 24th September 2018, kyokka ebyembi ng’ensigo ze zombi tazirina!

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kavuma1jpgweb 220x290

Omukazi yanfera omukwano

Nze Abdurrahman Musingunzi 25, mbeera Kalerwe. Twasisinkana n’omukazi mu ttendekero erimu eryobusomesa e Ibanda...

Mwana2jpgweb 220x290

Abazadde basobeddwa olw'omwana...

Abazadde basobeddwa olw'omwana waabwe okuyubuka olususu buli olukya naye nga tebamanyi kimuluma. Bagamba nti omwana...

Kadaga 220x290

Kadaga alabudde abakozesa obwana...

Sipiika wa Palamenti, Rebecca Kadaga asabye gavumenti okussaawo amateeka amakakali agakangavvula abakozesa abaana...

Ndagamuntuyomugenzi2 220x290

Afiiridde mu mulyango nga bamutwala...

Abatuuze basabye bannannyini mayumba okukomya okupangisa abantu amayumba nga tebafunye bibakwatako

Sat2 220x290

Ttiimu 40 zikakasizza okwetaba...

Ttiimu 40 zikakasizza okwetaba mu mpaka za Begumisa cup