TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Amerika egaanyi okutendeka aba poliisi n'amagye ga Uganda lwa kutulugunya bantu

Amerika egaanyi okutendeka aba poliisi n'amagye ga Uganda lwa kutulugunya bantu

By Musasi wa Bukedde

Added 19th October 2018

Kyategeezeddwa nti abakwatibwako abaaganiddwa okwetaba mu kutendekebwa balina akakwate n’obuvuyo obwali mu Arua mu August 2018. Kyokka abamu ku bo baagambye nti baali bakolera ku biragiro bya bakama baabwe n’olwekyo Amerika teyabadde na bwenkanya okubassaako ekibonerezo ekyo.

Dko9fvvxsaeoloev1 703x422

AMERIKA etadde ku lukalala amannya g’abakulira ebyokwerinda mu ggwanga abawerako n’ebagaana okugendayo n’okwetaba mu kutendekebwa kwonna mu nsi eyo olw’okwenyigira mu by’okutulugunya abantu mu bwegungo obwakulembera n’okugoberera eby’okulonda kw’omubaka w’ekibuga Arua Kasiano Wadri mu August 2018.

Ensonda zaategeezezza nti omukungu avunaanyizibwa ku by’amateeka ku kitebe kya Amerika e Nairobi,  Betsy Bartko yawandiikidde ab’ebyokwerinda abatali bamu abakwatibwako ng’abagamba nga bwe batagenda kukirizibwa kugenda mu US, kwetaba mu kutendekebwa kwonna  mu ttendekero lya National Academy erisangibwa mu kibuga Quantico e Vurginia.Abebyokwerinda mukaaga mu poliisi n’amagye be bakwaibwako.

Abakulembeze ab’emitendera egitali gimu okuli aba gavumenti eya wakati, ab’amasaza, ab'abafuzi b’ensikirano, gavumenti z’ebitundu n’abalala batendekerwa ku ttendekero lino erya FBI National Academy kyokka nga bayitibwa buyitibwe.

Nga On October 4, 2018,  Bartko  yawandikidde ab’ebyokwerinda mu Uganda abakwatibwako nti eby’okugenda mu Amerika okutendekebwa babyenenye. Era n’agamba nti akwatibwako alina kye yeebuuza amutuukirire amunnyonnyole.

Kyategeezeddwa nti abakwatibwako abaaganiddwa okwetaba mu kutendekebwa balina akakwate n’obuvuyo obwali mu Arua mu August 2018. Kyokka abamu ku bo baagambye nti baali bakolera ku biragiro bya bakama baabwe n’olwekyo Amerika teyabadde na bwenkanya okubassaako ekibonerezo ekyo.

Abamu baagambye nti tebeetaba mu kukuba abantu mu Arua  kyokka ate nti abamu ku baabirimu tebaafiriddwaako, omwogezi w’ekitebe kya Amerika, Phil Dimon yagambye nti Amerika tetendeka babyakwerinda beetaba mu kutyoboola ddembe lya buntu.

 “Abeetaba mu kutulugunya abantu bajja kukiraba’’ bwe yagambye. Bobi Wine ne banne 33 baakwatibwa ne basimbibwa mu kkooti nga balumirizibwa okwenyigira mu kukola effujjo mu Arua okwali n’okukuba emmotoka ya Pulezidenti Museveni amayinja.

Abalala abaakwatibwa kuliko; omubaka w’ekibuga Mityana; Francis Zaake, owa Jinja East, Paul Mwiru ne Kassiano Wadri (Arua) n’abalala.

Ddereeva wa Bobi Wine , Yasin Kawuma, yakubwa amasasi  n’afa  era gavumenti yawaayo amabugo ga bukade 20 eri famire ye. Ababaka ne bannaabwe bali mu kkooti Gulu gye bawerennembera n’emisango gino.

Mu 2014, Amerika yagaana omugenzi Felix Kaweesi okugenda okwetaba mu kutendekebwa mu ggwanga eryo  oluvannyuma lwa Uganda okuyisa etteeka erigaana ebisiyaga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Netherlands1 220x290

Budaaki ewadde Uganda obuwumbi...

EGGWANGA lya Budaaki likubye Uganda enkata ya buwumbi bwa ssente bubiri, ziyambe mu kutumbuka eby’obulambuzi mu...

Mus12 220x290

Aba NRM bawonye okupangisa

Aba NRM bawonye okupangisa

Masasi1 220x290

Bakutte omujaasi ku kutta aba Mobile...

BULIJJO abantu bamulaba n’ekidomola ky’amazzi ekya kyenvu, nga balowooza nti aguliramu mmere ya bisolo.

Top31 220x290

Aba NRM bawonye okupangisa

Aba NRM bawonye okupangisa

Det1 220x290

Bakkaanyizza ku by’okutwala abantu...

Bakkaanyizza ku by’okutwala abantu ku kyeyo