TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Akakiiko kakunyizza Kiconco ku ttaka ly’e Lusanja

Akakiiko kakunyizza Kiconco ku ttaka ly’e Lusanja

By Musasi wa Bukedde

Added 19th October 2018

Akakiiko kakunyizza Kiconco ku ttaka ly’e Lusanja

Co2 703x422

Omugagga Kiconco

AKAKIIKO akanoonyereza ku mivuyo gy’ettaka kazudde ebikwata ku musajja Kiconco eyasengudde abaabadde ku ttaka ly’e Lusanja eryasitudde Pulezidenti Museveni okugumya be baamenyedde amayumba.

Abatuula ku kakiiko baamubuuzizza akana n’akataano nga baagala okuzuula amaanyi agasengula abantu gy’agajja era ne bamubuuza ne by’enkolagana eyogerwako wakati we ne Gen. Salim Saleh. Medard Kiconco ayogerwako ng’omugagga, kyokka kigambibwa nti alina b’akwatagana nabo naddala mu bitongole by’ebyokwerinda nti era be baamuyambyeko ne mu kusengula abantu.

Pulezidenti Museveni olwayimirizza okwongera okumenya n’okusengula abantu e Lusanja (ku nsalo ya Kampala ne Wakiso) gye baamenye amayumba 350 wiiki ewedde, akakiiko akanoonyereza ku mivuyo gy’ettaka ne kayita Kiconco n’akola siteetimenti ng’annyonnyola ku bukambwe obwakozeseddwa ng’asengula abantu n’engeri gye yafunamu ettaka eryo.

Omuwandiisi w’akakiiko Dr. Douglas Singiza yategeezezza Bukedde nti Kiconco yasoose ne yeeyanjula mu kakiiko ku Lwokusatu akawungeezi ne bamuggyako siteetimenti. Okweyanjula kyaddiridde akakiiko okumulagira okulabikako ku Lwokubiri wabula n’atagendayo.

Ku Lwokusatu, Omulamuzi Catherine Bamugemereire akulira akakiiko olwatudde mu ntebe ye n’alagira amyuka munnamateeka w’akakiiko John Bosco Suuza annyonnyole oba Kiconco yabadde ajja.Suuza yasabye akadde asooke yeebuuze ku batambuza empapula ezimuyita.

Olwakomyewo oluvannyuma lw’amalya g’ekyemisana n’ategeeza nti, Kiconco yabadde mu kkubo ng’ajja mu kakiiko era olw’eggulo yakituukirizza wabula olw’okuba yatuuse essaawa ziri mu12:00 ez’akawungeezi n’atamaliriza ne bamulagira addeyo ku Lwokuna bongere okumubuuza ebibuuzo ebikwata ku ttaka lino.

Pulezidenti Museveni ng’ali ne baminisita n’Omulamuzi Bamugemereire bwe yakyadde mu kifo ky’e Lusanja awali abantu be baamenyedde amayumba. Bamugemereire yamutegeezezza nti abantu beekubira enduulu mu kakiiko n’awa ekiragiro ekiyimiriza Kiconco okubasengula kyokka kyamukanze ng’alaba abantu balaajana babasengula n’okubamenyera amayumba mu bukambwe n’agattako nti okusengula kwakoleddwa tebagoberedde mateeka.

Abantu abamu era baatuuse n’okutegeeza Pulezidenti nti erinnya lya Salim Saleh libadde livaayo nnyo era bateebereza nti y’ali emabega w’okubasengula era Museveni yagezezzaako okukubira Saleh essimu abimubuuze, kyokka nga Saleh takwata.

Oluvannyuma Saleh nti yabyegaanye n’agamba nti tamanyi ngeri linnya lye gye lyayingizibwa mu bya ttaka eryo.

BAMUBUUZIZZA KU BANENE NE SALIM SALEH

Ng’ali mu kakiiko, baamubuuzizza ebya Gen. Salim Saleh (Caleb Akandwanaho) n’akakwate k’amulinako wabula n’abyegaana ng’agamba nti ye muntu waabulijjo omusuubuzi anoonya ssente.

Baamubuuzizza ne ku banene abalala aboogerwako abamuwaga okukozesa eryaanyi erisukkiridde mu kusengula abantu abanaku, n’agamba nti talina munene yenna amuyambako mu bizinensi ze. Baamubuuzizza ne ku kkampuni ye eya Lexman Limited n’ategeeza nti ye yagyetandikirawo era talina bamuyambako mu kugiddukanya.

Bannamateeka ba Kiconco abaakulembeddwa George Muhangi owa Kafeero & Company Advocates, mu lukuhhaana lwa bannamawulire lwe baatuuzizza ku Lwokusatu baategeezezza nti omuntu waabwe talina kakwate na maka ga Bwapulezidenti ng’abantu abamu bwe bakimussaako.

YAKOZESA OBUWUMBI 11 Muhangi yategeezezza nti ettaka ly’e Lusanja eririko enkaayana, Kiconco yayita mu mitendera emituufu okulifuna. Baayongeddeko nti abatuuze bye baagambye Pulezidenti Museveni nti mutoowe Salim Saleh y’abasengula si bituufu kuba ettaka lyabwe.

Kiconco yinvesita alina ssente era ye nannyini kkampuni ya LexmanLimited. Baagambye nti Kiconco yeewola obukadde bwa ddoola busatu mu za Uganda obuwumbi obusukka mu11 nti era aba Equity Bank be baazimuwola okukulaakulanya ettaka eryo ng’assaawo ekkolero.

Muhangi yannyonnyodde nti: “Ettaka lino liri ku yiika 10, twaligula mu 2014 okuva ku Paul Bitarabeho. Buli yiika twagigula obukadde 250. Twasangako abasenze 16 bokka. Era Bitarabeho yali yabatwala mu kkooti ng’abavunaana okwesenza ku ttaka lye mu bukyamu. Amannya g’abasenze bano Kkooti Enkulu egalina kuba gazze gakoonebwako ng’omusango guno guwozebwa”, bwe yagambye.

Yayongeddeko nti bwe baasalawo okugula ettaka eryo, baagenda mu Kkooti Enkulu mu Kampala ne bagitegeeza nti beetegefu okutegeeragana n’abasenze 16 abaaliko. Nti kkooti kino yakikkiriza ne bategeeraganira wabweru wa kkooti buli omu n’asasulwa era n’obukakafu obulaga nti baasasulwa babulina.

Yagambye nti buli muntu baamusasula okusinziira ku bugazi bw’ekibanja n’ennyumba ye. Mu be bajjukira ku basenze be baasasula kuliko; Paasita Samuel Mayanja nga baamuwa obukadde 75, era bakkiriziganya ku nkola nti buli gwe basasula basooka kumuwaako kitundu n’asooka amenyawo olwo ne bamumalayo.

Naye Paasita baasalawo okumuwa zonna kuba yabalaga nti mumalirivu okubaviira. Bannyonnyodde nti, Paasita ono baamusaba abeeko ky’abasingira n’abawa ekyapa ky’ettaka eddala era n’okutuusa kati bakirina naye bwe yagira ne yeekyusa n’agaanira ku ttaka ly’e Lusanja ne banne babiri.

Nti bwe waayitawo akabanga Paasita ne banne ne baddamu okutunda ebifo byabwe nga basalamu poloti ne baguza abantu abalala. Muhangi yayongeddeko nti abantu bonna abaamenyeddwa amayumba gaabwe gabadde gakazimbibwa wakati w’omwaka oguwedde na guno. Wabula abatuuze kino baakiwakanyizza nga bagamba nti baamenye n’amayumba agamazeewo emyaka egisukka mu 20.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omwanangaluaekikajjyo11webuse 220x290

Endabirira y'amannyo g'omwana eneegakuuma...

Okuziyiza amannyo g'omwana okulwala mu bukulu otandika mu buto okugayonja n'okugajjanjaba.

Katereggangalagaapozatundawebuse 220x290

Okutunda apo nkuguzeemu embuzi...

Nasooka kusiika capati e Iganga ne nzija e Kampala okutunda apo mwe nfuna 200,000/- omwezi era nguzeemu embuzi...

Sserunkuuma2webuse 220x290

Ebbumba eryenyinyalwa abasinga...

Bulikye mmumba nkijjuukirirako maama eyambeererawo mu bulamu kyokka n'atabaawo kugabana ku ntuuyo ze.

Kap2 220x290

Agambibwa okusobya ku w’emyaka...

Agambibwa okusobya ku w’emyaka 78 bamulagidde yeewozeeko

Muv1 220x290

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa...

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa Kennedy Kyakuwa