TOP

EBIKWATA KU KICONCO

By Musasi wa Bukedde

Added 19th October 2018

EBIKWATA KU KICONCO

Hib2 703x422

KICONCO bwe yamaliriza okusoma, yakolako mu kkampuni ya Roofings ku luguudo lw’e Ntebe. Oluvannyuma yatandikawo kkampuni eyiye mu 2007 eya Lexman Limited n’atandika okwekozesa yekka.

Ebiwandiiko bye baateeka mu kitongole kya gavumenti ekigaba ttenda ekya Public Procurement and Disposal of Public Assets Authority (PPDA) ne Registrar of Providers kkampuni eno ya bwannannyini. Kkampuni baagiwandiisa September 20, 2007 nga ofiisi zaayo ziri ku Nkrumah Road mu Kampala era baagiwandiisa ng’eyobwannannyini.

Bannannyiniyo kuliko: Medard Kiconco, Eva Kiconco, Nixon Mugasha ne Nixon Mugasha. Baalaga nti bakola emirimu gy’okuzimba enguudo n’entindo, okukanika, ebyamasannyalaze n’amazzi.

Egimu ku mirimu egiraga nti gye bakoze kuliko; okukola oluguudo lwa Rukyeri, Shop Kaniga, Mucumite, Kanunka baalutandika 2014. Akulira UNRA Allen Kagina bwe yagendayo okulutongoza mu 2016, omubaka w’ekitundu Francis Mwijukye yawakanya okulutongoza ng’agamba nti, omulimu ogwakolebwa tegutuukana na mutindo.

Lipoota y’omubalirizi w’ebitabo bya gavumenti eya June 2014 eraga nti gavumenti yawa kkampuni ya Lexman emirimu okuzimba ebizimbe ku masomero ag’enjawulo okuli: Mbarara High School, Ibanda SSS ne Bweranyangi SSS.

We yasengudde abantu, agamba ayagala kugaziya ekkolero ly’amabaati wabula abatuuze bagamba nti yali atandise okuzimba ekkolero wabula n’abivaako nga terinnaggwa era tewali kikolebwawo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Gat2 220x290

Abagambibwa okutigomya Matugga...

Abagambibwa okutigomya Matugga Poliisi ebakutte

Gata 220x290

Atutte malaaya ku poliisi lwa kumumma...

GWE baakubye ennyondo ne bamunyagako pikipiki yeeraliikiriza abooluganda lwe oluvannyuma lw’abantu abatamanyiddwa...

Tamale11 220x290

Mabirizi atutte Tamale Mirundi...

MALE Mabiriizi atutte Tamale Mirundi mu Kkooti Enkulu olw’okumulebula bwe yagamba nti minisita Kuteesa yamukozesa...

Kwasa 220x290

Enguudo ezibadde ziyimbya Bannakampala...

ENGUUDO ssatu ezimaze emyaka nga zikaabya bannakamapala KCCA ezikwasizza kkampuni ezizikola era omulimu gutandise....

Alalo1 220x290

Bategese okusabira eyafiira mu...

Poliisi ekwataganye ne famire y'omuserikale eyafiira mu nnyonnyi nebategeka okumusabira ku kkanisa ya All Saints...