TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omugagga abadde avunaanibwa okwekomya ebintu bya mukyala we ayimbuddwa

Omugagga abadde avunaanibwa okwekomya ebintu bya mukyala we ayimbuddwa

By Musasi wa Bukedde

Added 19th October 2018

Omugagga abadde avunaanibwa okwekomya ebintu bya mukyala we ayimbuddwa

OMUGAGGA w’e Naggulu, Wahaabu Kibuuka Ssemakula eyasingibwa omusango gw’okwekomya ebyobugagga by’abaana ba mukyala we eyafa ayimbuddwa okuva mu kkomera e Luzira gy’amazze emyezi ebiri.

Omulamuzi Paul Gadenya Wolimbwa owa kkooti eteeka mu nkola ebiragiro bya kkooti, ye yayimbudde Ssemakula oluvannyuma lw’okukkiriza okusasula obukadde 30 ku bukadde 60, abaana ze baakozesa mu kkooti okuwaaba omusango.

Ssemakula oluyimbuddwa atuukidde mu makaage e Naggulu n’asanga ngennyumba ziri ku ttaka nga n’ebintu byaggyibwaamu. Yavumiridde poliisi olw’okwonoona ebintu bye n’agamba nti abaagiragira baali mu nsobi.

Abamu ku booluganda lwa Ssemakula okwabadde ne mutabani we Ibrahim Ssemwogerere baayagadde okukuba abaserikale abateekebwawo okukuuma ekifo kino okuva Ssemakula lwe yakwatibwa.

Ekikolwa kino kyawaliriza abaserikale okuva ku poliisi ya Jinja Road okugenda ne bakakkanya embeera. Ssemakula yategeezezza nti ettaka lino lirye era ekyapa Paul Tumusiime, omu ku bamuvunaana kye yatwala mu kkooti ekyamuviirako okusingibwa omusango kyali kijingirire. Poliisi yakutte Ssemwogerere ne banne olw’okusaalimbira ku ttaka eritali lyabwe. Kyokka Ssemakula agamba nti kkooti yamukkiriza.

Tumusiime ng’ali ne baganda be okuli Irene Kamugisha, Godfrey Twinomujuni ne Herbert Beitwa b’atwala Ssemakula mu kkooti nga bamuvunaana okubatwalako ebyobugagga bya nyaabwe Sarah Mukakawanyana eyafa mu 2011.

Bagamba nti, Ssemakula yakozesa olukujjukujju n’akyusa ebiwandiiko by’ettaaka lya nnyabwe e Naggulu ne Najjeera n’abizza mu mannya ge nga bo abaana abalese mabbali. Omulamuzi Percy Night yasingisa Ssemakula omusango n’amulagira okusasula obukadde 60 n’ebizimbe ebiri ku ttaka lino babiveemu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lib2 220x290

Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka...

Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka kutwala ssabawolereza wa Gavumenti mu kkooti

Web 220x290

Nnaalongo akubye omwana wa muggya...

OMUKAZI atuze omwana wa muggya we n’amutta poliisi n’emutaasa ku batuuze nga baagala kumugajambula.

Kit2 220x290

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa...

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa e Luzira

Hip2 220x290

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa...

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa e Kayunga

Gat2 220x290

Abagambibwa okutigomya Matugga...

Abagambibwa okutigomya Matugga Poliisi ebakutte