TOP

Nnejjusa ekyanziggya mu kusoma ntandike okuyimba

By Martin Ndijjo

Added 19th October 2018

Omuyimbi Busy Criminal yejjusa ekyamuggya mu kusoma ntandike okuyimba, agamba nfubye okukuba emiziki naye tebinnaba kutambula bulungi.

Nsa 703x422

Julius Nsaba

“Nnejjusa ekyanziggya mu kusoma ntandike okuyimba, nfubye okukuba emiziki naye tebinnaba kutambula bulungi.”

Bwatyo omuyimbi Busy Criminal ng’amannya ge amatuufu,  Julius Nsaba akola n’ogw’okukanika amassimu ewa Zzana bwatandise nga ttottola akawonvu n’akagga  ku bulamu bwe obw’okuyimba.

Agamba talina kya kukola okujjako okugumiikiriza, okulemerako n’okukola ennyo okulaba nga atuuka ku kirooto kye eky’okuba omuyimbi ow’erinnya mu ggwanga era atalaage amawanga ag’ennjawuulo ng’akuba abaayo emiziki okubasanyusa n’okubasomesa

“Mu 2015 nga ndi mu siniya ey’okutano (S.5) nasalawo ku kusoma  ngatteko okukuba emiziki okulaba nti ntumbula ekitone kyange wabula kino Kojja eyaali ampeerera tekyamusanyusa nalekera awo okumpa fiizi ng’agmba nti nnyonoonese.

Tekyasooka kunnuma nga ndowooza njafuna fiizi mu miziki kyokka kirabika kiganye kubanga nfubye okuyimba naye bikyaganye okukwatayo ate n’omukisa gwa kojja okuddamu okumpa fiizi tegukyaliwo.

Wabula sitidde nsuubira Mukama essaawa yonna agya kuttema ekkubo awatali kkubo ntuuke ku kirooto kyange.”

Nsaba agamba musooka yaali ayimba ne White J ne bawuukana kati ayimba yekka.

W’osomera bino alina oluyimba olupya, yazzemu  ‘Mr. Dj’ olwa  Chaka chaka era agamba lwe lugenda okumusituula. Alugasse ku nnyimba enddala okuli ‘Call poliisi ne Mpeweeta’.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Gav't eyimirizza okugabira abantu...

Gav't eyimirizza okugabira abantu emmere egambibwa okutabula Bannayuganda emitwe

Reb2 220x290

Abatuuze bazudde ebitundu by'omwana...

Abatuuze bazudde ebitundu by'omwana eyasaddaakibwa

Gamba 220x290

Paapa alonze omusumba w'e Soroti...

PAAPA Francis alonze Rev. Joseph Oliach Eciru okubeera Omusumba w’e Soroti omuggya. Polof. Ono abadde aweerereza...

Img20171208wa0060335186 220x290

Abasawo beemulugunyizza ku kulwawo...

ABASAWO abeegattira mu kibiina kya ‘‘Uganda Medical Association (UMA)’’, beemulugunyizza ku kya gavumenti okulwawo...

Webbetikyamyanewtdy 220x290

Abatembeeyi babakkirizza okukolera...

Abatembeeyi minisita baayogerako be batambula nga balejjesa ebintu so ssi abayiwa ebyamaguzi ku mbalaza ne ku mabbali...