TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Twagala bwenkanya mu ngabana y'ebifo - Basiraamu

Twagala bwenkanya mu ngabana y'ebifo - Basiraamu

By Musasi wa Bukedde

Added 20th October 2018

OMWOGEZI wa Uganda Muslim Supreme Council Haji Nsereko Mutumba asabye Pulezidenti Museveni okulowooza ku Basiraamu bw'aba alonda abakozi ba gavumenti, kubanga nabo Bannayuganda abeetaaga obwenkanya mu ngabana y’ebifo.

Gabana 703x422

Hajji Nsereko Mutumba ng'annyonnyola.

BYABino Mutumba yabyogeredde mu lukiiko lwabannamawulire lweyatuuzizza ku kitebe kya Uganda Muslim Supreme Council e Kampalamukadde, ku lw’okutaano nga October/19th/2018.

“Abasiraamu naffe twetaaga okulowoozebwako nga ebifo by’abakozi ba gavumenti birondebwa kubanga naffe gavumenti tugiwa obululu ate era tukyaliwo ne mu kulonda okuddako. Kino tetuli mu kwegayirira wabula tujjukiza pulezidenti nti twetaaga bwenkanya nga bannauganda,” Mutumba bwe yagambye.

Yategeezezza nti obutali bwenkanya bweyolekera mu bitongole bya gavumenti eby’enjawulo okugeza mu kitongole ekiramuzi kye yagambye nti ku bantu 177 abakikolamu kuliko abasiraamu battaano bokka.

Kino yategeezezza nti ssi kya bwenkanya kubanga abasiraamu bangi abasomye ng’ekiseera kituuse nabo baweebwe omukisa okuweereza eggwanga lyabwe.

Yayongeddeko nti n’abakulira abakozi ba gavumenti mu disitulikiti ez’enjawulo ku 128 kuliko abasiraamu mukaaga bokka, nga kuno kwogatta n’abakulira emirimu mu munisipaali nga ku 46 kuliko abasiraamu battaano bokka. Ate mu KCCA ba dayirekita n’abamyuka baabwe tekuli musiraamu n’omu.

Mutumba yagambye nti mu minisitule y’empisa n’obuntubulamu ekulirwa Faaza Simon Lokodo ebifo byonna ebyamaanyi birimu bakrisitaayo.

Yagambye nti bwe baakola okwemulugunya ku nsonga eno, baasabibwa okuwaayo erinnya ly’omusiraamu alina obusobozi era ne baliwaayo naye okuva olwo tebaddamu kuwuliza bifaayo.

Mutumba yayongeddeko nti mu 2016, Pulezidenti yabasuubiza okuddaabiriza omuzikiti gwa Kampalamukadde n’asindika n’abakugu okuva mu magye abaagukebera ne balaba aweetagisa okuddaabiriza.

Wabula n’okutuusa leero tekikolebwanga, n’agamba nti omuzikiti guno nagwo kya bulambuzi kubanga bafuna Abazungu bangi buli lunaku abajja okugulambula, naye nga mu kiseera kino gwetaaga kuddaabirizibwa.

Wabula Mutumba yeebazizza Pulezidenti olw’okuyimirira ku magulu ge n’alwanirira Polofeesa Wasswa Balunywa ku bukulu bwa Makerere University Business School obwali bumugiddwaako beyayise ba mafiya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit2 220x290

Omugagga akubye omutemu n’amusuuza...

Omugagga akubye omutemu n’amusuuza emmundu

Sev2 220x290

Museveni atabukidde Katikkiro Mayiga...

Museveni atabukidde Katikkiro Mayiga ku by'emmwaanyi

Det2 220x290

Teddy afulumizza ekiwandiiko ku...

Teddy afulumizza ekiwandiiko ku bya bba Bugingo

Kop2 220x290

Owa bodaboda gwe baakuba ennyondo...

Owa bodaboda gwe baakuba ennyondo alojja

Lap2 220x290

Eyatuga owa bodaboda asonze ku...

Eyatuga owa bodaboda asonze ku munene gw’akolera