TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ensi egudde eddalu: Abebyokwerinda abalina okukwasisa amateeka badda batya mu kutulugunya abantu?

Ensi egudde eddalu: Abebyokwerinda abalina okukwasisa amateeka badda batya mu kutulugunya abantu?

By Musasi wa Bukedde

Added 21st October 2018

KAWOOYA yalaajanye nti, “Nkoze ki?” naye nga teri amwanukula okuggyako okumukuba ebigala by’emmundu!

Gunweldingboysjpg4 703x422

Abaserikale nga batulugunya Kawooya bwe baabadde bamukwata

Omusajja omu yatuuse n’okumupima mu kabutobuto n’alyoka amuggunda ekigala ky’emmundu nga bw’amuduumira nti, “Tukwagala mu mmotoka…..” Ebyo yabiwerekezza agagambo agazitowa ng’eppipa y’akaloddo!

Abaabaddewo ensisi yabakutte era abamu ne bawulirwa nga babuuza nti; “Omusajja gwe mwagala okuttira wano azzizza musango ki?” Olwo abaabaddewo baabadde bamaze okutegeera nti abalina emmundu ba byakwerinda wabula nga kye beewuunya kiri kimu, y’engeri gye batulugunya omuntu ng’ensi yonna eraba emisana ttuku, mu kibuga wakati.

Ebikolwa eby’effujjo, abeebyokwerinda obwedda tebalowooza na kulowooza nti we batulugunyiza omuntu bali mu maaso ga ssinzizo.

Baabadde mu maaso ga Klezia ya Yezu Kabaka nga batunuuliganye n’ekibumbe kya Biikira Maria ow’ekisa!

Abantu baabulijjo baatuuse n’okujja okugezaako okukoma ku bebyokwerinda nga balaba kye bakola kisusse ku kutulugunya, kufuuse kutwalira mateeka mu ngalo.

Kawooya ng’ayingira emmotoka baamuwereekerezza agakonde n’ebigala by’emmundu era abaabaddewo baasigadde mu ssaala nga bagamba nti:

Abasajja we bamukubidde bwe batyo nga bali mu lujjudde lw’abantu, kye bagenda okumukola nga bamutuusizza mu kaduukulu, Katonda anazza bibye!

Naye nga lwaki abebyokwerinda batandika okutulugunya abantu obwenkanidde awo ate ng’amateeka weegali era nga be balina n’okugakwasisa.

Okuggyako ensi okugwa eddalu, ekyanjula abebyokwerinda eri oyo gwe bagenda okukwata kikyuka kitya ne kiva ku densite y’ekitongole gye bava, ne kidda ku mmundu?

Abantu baalowooza nti mu kuggala Nalufenya, n’okutulugunya baali bakuggaliddeyo, naye bwe balaba bino bamanyirawo nti okwo kwali kwerimba.

Bagundi mulimba, muleme kukyusa Nalufenya kumuggya ku Kiyira kumuleeta mu Kampala wakati, okutulugunya abantu n’obukambwe obutalina alina.

Ensi ng’enaagwa eddalu ekkankada etandikira ku balina kugirambika okuva ku mulamwa ne bawabya mpabye mu bugenderevu nga bakola ebikontana n’amateeka ge bazze bakuuma obutiribiri.

Abakuumaddembe abasiiwuuka empisa mutuyambe mweyise mu ngeri eyeekikugu, muleme kulalambaza nsi yaffe kutuuka kugigeraageranya ku biseera bya State Research eby’emirembe gya Idi Amin ebyali byerabirwa.

Abavunaanyizibwa ku baserikale bano musitukiremu mubakangavvule mu ngeri ya “Bbwaddene ligambwako nnyini lyo”, muleke kubattira ku liiso kubanga bwe mutaakole ekyo baakugenda mu maaso n’ebikolwa ebisindika mu ddalu ekkalu bwe kkalukkalu erikutuusa n’okwegomba eyawuba.

Bwe mutaakole ekyo nga muwaddeyo ensi yaffe okulalukira ddala n’engoye ezeetikke ku mutwe nga bw’eyita baliraanwa okwerolera amawano.

Ate ensi bw’enaatabuka ejja kutandikira ku basajja abo abagidobonkanya bamaanyuuke bute mu Kampala ng’abantu bwe babayisaako obuswanyu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Jip3 220x290

Bobi Wine bamusondedde ddoola mu...

Bobi Wine bamusondedde ddoola mu Amerika

Rem2 220x290

Halimah Namakula ayogedde ku nsonga...

Halimah Namakula ayogedde ku nsonga ya Rema ne Kenzo omulundi gwe ogusookedde ddala

Tip2 220x290

Halimah Namakula ayingiddewo okuva...

Halimah Namakula ayingiddewo okuva mu America yesunga mukolo gwa Rema

Kylianmbappe1 220x290

Mbappe yandiryawo Neymar ng’omuzannyi...

KYLIAN Mbappe yandiryawo Neymar ng’omuzannyi asinga ebbeeyi mu nsi yonna.

Kip2 220x290

Maama afudde n’abaana be

Maama afudde n’abaana be