TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Owa DP gwe baatulugunyizza nga bamukwata tannaggulibwako musango gwonna

Owa DP gwe baatulugunyizza nga bamukwata tannaggulibwako musango gwonna

By Musasi wa Bukedde

Added 21st October 2018

Abakulembeze mu DP baasazeewo okutwala balooya e Kireka bagezeeko okumanya ekyakwasizza Kawooya n’okufuba okulaba ng’ayimbulwa.

4450693320751987158357208545990724305289216n 703x422

Abaserikale nga batulugunya Kawooya

Abakulembeze mu DP baasazeewo okutwaala balooya e Kireka bagezeeko okumanya ekyakwasizza Kawooya n’okufuba okulaba ng’ayimbulwa.

Baasazeewo n’okwekubira enduulu mu kakiiko k’eddembe ly’obuntu bakasabe kakolewo ekyenjawulo kubanga eddembe ly’omuntu waabwe lyalinnyiriddwa nnyo era okwongera okumusiba kiteeka obulamu bwe mu buzibu.

Bannamateeka okuli Caleb Alaka , Samuel Muyizi, Keneth Paul Kakande n’abalala okuva mu kkampuni ya Lukwago and Co. Advocates be baayunguddwa nga bakolaganira wamu ne Yusuf Nsibambi.

Omu ku bali mu nteekateeka eno Mubarak Kawooya yategeezezza nti amawulire ge balina ku musibe matono nnyo era baagala abaserikale bamukkirize alabweko abantu ba biti bisatu ssemateeka b’awa enkizo okuli aba famire ye, abasawo be ne balooya be.

Kawooya yagambye nti kye baasembye okutegeera nga Kawooya tannaba kuggulwako musango gwonna era balinze okulaba omusango ogunaamuteekebwako olwo balyoke bategeke we batandikira okubinafuya kubanga bateebereza nti yakwatiddwa lwa byabufuzi. Kawooya abadde atuula mu nkiiko ez’enteekateeka ya People Power.

Abakulembeze naddala mu DP babadde bamwesiga olw’obumalirivu era yasooka kukolera Haji Nasser Ntege Sebaggala (Seya), Ssebaana Kizito, Micheal Mabikke era kati abadde akola mirimu gye egyekuusa ku by’ettaka.

Bagamba nti Kawooya abadde yaweereddwa obuvunaanyizibwa obwenjawulo obw’enjawulo okukulira abatimba ebipande by’ekivvulu kya Bobi Wine ekya Kyarenga ekyakyusiddwa ne kyongerwayo omwezi ogujja.

Abalala balowooza nti abaserikale baabadde baanoonya dda Kawooya nga yababula.

Kigambibwa nti Kawooya ye yaggyawo emisanvu egyali gissiddwa mu kkubo okutangira Bobi Wine okweyongerayo mu kampeyini za Arua kyokka obupande n’abusikawo era ye bwe yalaba bitabuse n’abulawo.

Kyokka abamu ku bamumanyi byonna babiwakanyizza nga bagamba nti Kawooya talina nkiiko z’abadde yeenyigiramu era si mumenyi wa mateeka.

Kawooya okukwatibwa abadde yaakasindika mukyaala we okukola e Jordan basobole okugaziya ku nnyingiza ya famire era nga ye yasigala n’abaana bonna basatu okuli Hanifar Kibirige, Alif Kabuye ne Sharimah Zawedde awaka nga y’abalabirira.

Abadde akeera kubatwaala ku somero ate olweggulo n’agenda n’abaggyayo kyokka kati basigadde mu bbanga.

Ab’emikwano baagenze ku ssomero eriyitibwa New Generation P/S erisangibwa e Namavundu ne basaba abasomesa bayambe okukuumira abaana ba Kawooya mu kisulo ky’essomero kubanga kitaabwe abadde abakeeza ku ssomero buli ku makya yafunye obuzibu ate tebamanyi lw’ayinza kuyimbulwa.

Essomero lyakkirizza kubanga abamu ku basomesa baabadde bamaze n’okulaba akatambi obwedda akasaasaana ng’omuzadde waabwe atulugunyizibwa abaserikale.

Omu ku batuuze Justine Najjuuko yagambye nti Kawooya y’abadde abeera n’abaana era ng’akomawo ng’obudde bukyaali.

Bwe baamukutte yagenze alaajana nti abaana be tamanyi agenda kubalabirira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pp 220x290

Abayimbi Bannayuganda battunse...

Abajamaica;Christopher Martin ne D-Major bakubye Bannayuganda emiziki egibaccamudde

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...

Bazigu1 220x290

Abazigu balumbye amaka e Munyonyo...

ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka...