TOP
  • Home
  • Agebwelu
  • Putin asuubizza okuyamba Uganda mu bya tekinologiya

Putin asuubizza okuyamba Uganda mu bya tekinologiya

By Musasi wa Bukedde

Added 21st October 2018

PULEZIDENTI wa Russia, Vladimir Putin, akubagizza Uganda olw’okufiirwa abantu abasoba mu 46 abaabuutikiddwa ettaka e Bugisu.

Dpn6kdew0aa2dy 703x422

Mu ngeri y’emu Pulezidenti Museveni ayise Abarussia okuleeta wano ssente bakole bizinensi n’abasuubiza okubafunira ettaka n’okubasonyiwa emisolo.

Russia nayo esiimye KCCA olw’okukkiriza okutuuma olumu ku nguudo z’omu Kampala, Yuri Gagarin, ng’ono ye muntu eyasooka okubuukira mu kizungirizi n’atumbiira mu bwengula okumala eddakiika 108 mu 1961. Yali Murussia.

Obubaka bwa Putin obwakwasidwa Pulezidenti Museveni era bwetikkiddwa omumyuka wa minisita avunaanyizibwa ku nsonga za tekinoligiya n’ebyamawulire, Alexey Volin.

Ku mukolo ogwabadde mu maka g’Obwapulezidenti  e Nakasero, Russia ne Uganda kwe baateeredde emikono ku ndagaano y’enkolagana y’amawanga gombi mu bya tekinologiya n’empuliziganya.

Minisita w’ebyamawulire Frank Tumwebaze ye yataddeko omukono ku lwa Uganda.

Enkolagana egenda kubeera mu bya leediyo, okunoonyereza n’okutendeka abakugu mu tekinoligiya, okukwanaganya ebikwata ku biwandiiko bya gavumenti, okugabira abatuuze kaadi za densite z'eggwanga n’ebyobulamu.

Volin, era y’omu ku bakulira enkolagana ya Uganda ne Russia mu by’enfuna ne ssayansi yagambye nti Russia ng’eyita mu kitebe kyayo wano yataddewo ekifo amakampuni gaayo agaagala okuleeta ssente mu Uganda we gayinza okuyambibwa.

Minisita w’eggwanga ow’ensonga z’ebweru  Okello Oryem yagambye nti gavumenti zombi zitaddewo ekiseera endagaano z’enkolagana ze zikola we zirina okussibwa mu nkola.

Omubaka wa Russia mu Uganda, Alexander Polyakov yabaddewo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tip2 220x290

Tweyagala ffekka ffekka...

Tweyagala ffekka ffekka...

Hib3 220x290

Faaza, okikoze!

Faaza, okikoze!

Mag2 220x290

Muzeeyi ndaba ku ki?

Muzeeyi ndaba ku ki?

Knock 220x290

Abakambwe b'emmundu balumbye essundiro...

ABANTU babiri baakubiddwa amasasi ne bafa mu kibuga ky’e Kamuli oluvannyuma lw’ababbi abajjidde ku pikipiki okulumba...

Deb2 220x290

Okulima ennyaanya ku musana kunfunira...

Okulima ennyaanya ku musana kunfunira kiralu