TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eyakubye owa DP baliraanwa be bamukaaba- Yakawasa abakazi basatu nga banoba!

Eyakubye owa DP baliraanwa be bamukaaba- Yakawasa abakazi basatu nga banoba!

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd October 2018

Eyakubye owa DP baliraanwa be bamukaaba- Yakawasa abakazi basatu nga banoba!

Deb2 703x422

OMUJAASI eyasinze okwolesa ettima nga bakwata owa DP Yusuf Kawooya abatuuze ku kitundu gy’abeera nabo bamukaaba. Abatuuze b’e Kyebando mu Nsooba Zooni mu Kampala omusajja ono Simon Kiryahika gy’abeera bamwogerako ng’omusajja omuzibu nti era ne bw’asanga obwana obuzannyira ku kkubo erimutwala ewuwe, abuyisaamu empi ne bubuna emiwabo olwo ye ne yeeyongerayo.

Awaka talinaawo mukazi era abadde yaakafuna abakazi basatu wabula nga bonna banoba nga buli omu azaddewo omwana omu ng’abatuuze ku kitundu bagamba nti kiva ku bukambwe obususse bw’abalaga.

Alina abaana basatu wabula buli mwana ne nnyina. Abapangisa okumpi n’ennyumbaSimon gy’abeerako nabo bamuwanda lulusu olw’engeri gy’abatiisatiisa nti era olumu ‘akookinga’ emmundu naye nga talina kigimukookingisa okuggyako okubalaga nti tasaaga alina emmundu. Simon Kiryahika 41, bamuzaala Kisoro kyokka yajja mu Kampala nga muto era n’ayiga Oluganda.

Abatuuze ku kyalo bagamba nti baasooka kumumanya ng’omuvubuka asuubula cakalacakala ku Luwuum Street mu Kampala naye baagenda okwekanga ng’atandise okukolagana n’abakuumaddembe era ekyaddako nga bamwogerako nga “Informer” (awa abeebyokwerinda amawulire) era mu kiseera kitono nga bamulaba n’emmundu era baalwawo okukitegeera nti akola n’amagye.

Ono ye musajja eyabadde mu ssaati ey’ebikuubo ebya Bbulu eyabadde ow’ekiwago nga yalabiddwa mu katambi akaakwatiddwa aba Record TV ng’akuba Kawooya emmundu mu mbiiriizi era bwe yalabye tekimumalidde, n’amufumita ekigala ky’emmundu ku bbunwe wansi w’olubuto okumpi n’ekiwato.

Simon Kiryahika akulidde mu Kyebando era kye kitundu kye kimu w’apangisa ennyumba mw’asula kati. Yakuzibwa nnyina mu mbeera ey’obugubi era teyasoma kugenda wala kubanga nnyina yafa ng’akyali muvubuka era eby’okusoma ne bikoma awo n’atandika ‘okupangirira obulamu’ mu Kampala.

Kiryahika yazaalibwa ne banne abalala babiri, Vincent ne Alex era baakulira wamu mu Nsooba okumpi ne Mulago mu nnaku ey’ekitalo wabula Alex yakyusa amannya oluvannyuma lw’Okusiraamuka nga kati ye Ashraf.

Abataka mu Nsooba abaasabye amannya gaabwe okusirikirwa baategeezezza nti Kiryahika yakula wa ffujjo nnyo era mu myaka gye egy’okuvubuka yatendekako ebikonde era ng’atera okubeera mu ‘jjiimu’ n’afuna ekiwago nga tewali muvubuka wa myaka gye amwegezaamu. “ Olumu Simon yakubako abalenzi bana omulundi gumu olw’akawala ke baali bavuganyaako era okuva olwo abavubuka bonna ku kyalo tebaddamu kumwehhanga”, omu ku bantu abamumanyi obulungi bwe yatunyumirizza.

Yagasseeko nti Kiryahika y’omu ku bavubuka abaakula nga boogerwako ng’abalimu engalo nti era baakimussangako nti ku nguudo ez’omu Kampala abeera mu bibinja ebitigomya abantu naddala ku nguudo ssatu: Wilson, Johnstone ne Luwum kwe bagamba kwe yabeeranga ennyo. “ Simon yayingira Kampala mu myaka gya 1990 era olw’effujjo n’ekiwago kye, abayaaye baamulonda okukulira ekikoosi kyabwe ekyatigomyanga abantu mu Kampala mu biseera ebyo.

ENGERI GYE YAYINGIRA AMAGYE Omu ku banne bwe baakula mu Nsooba kyokka nga yagaanyi okwogera amannya ge yatugambye nti Kiryahika okuyingira obusirikale kyaddirira essimu ey’ebbeeyi eyabbibwa, nnannyini yo n’akozesa aba CMI abaagirondoola ne bagikwata ne Simon kyokka n’abagamba nti alina omuntu gwe yali yagigulako.

Yasaba abaserikale abatwale ow’omuntu eyagimuguza n’abakulemberamu okugenda mu kitundu kya Nsooba n’abalaga omuvubuka eyali aginyakudde wabula nga wa kikoosi kye (Simon).

Olwo Simon yali ku mpingu n’asaba abaserikale bamusumulule asobole okubayambako okukwata omubbi kubanga yali atandise okubaddukako. Obukodyo Simon bwe yakozesa mu kukwata omubbi, bwasanyusa abaserikale olw’engeri gye yamubuukira nga kamunye n’amukuba ekigwo ku ttaka, amangu ago n’amunyoola emikono n’ensingo, abaserikale ne basigala nga bamunyenyeza mutwe.

Baamuwa omukisa abeegatteko kubanga obumanyirivu bwe amagye gabwetaaga mu kufufugazza ababbi n’abamenyi b’amateeka era awo Simon teyadde mabega. Amagye gaamwegombako ekintu ekirala kimu eky’okumanya obunyomero bwa Kampala bwonna era mu kumutendeka

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kakozaemmotokazeazilabiriraokusikirizabakasitomawebuse 220x290

Mmotoka enkadde mwe nkola ssente...

Wazir Kakooza alaga lwaki omuntu yeetaaga kuyiiya kyokka okukola ssente mu kifo ky'okunoonya emirimu.

Miss 220x290

Abavuganya mu mpaka za Miss Uganda...

Abawala 22 abavuganya mu mpaka za Miss Uganda battunse mu mpaka z'okwolesa talanta

Eyeclinicwebuse 220x290

Kw'olabira amaaso ageetaaga okujjanjabwa...

Kebeza amaaso go buli mwaka okutangira obuzibu okusajjuka ssinga gabeera malwadde

Img20190718132844webuse 220x290

Abakyala mukole ebiraamo okutangira...

Abakyala muve mu kwezza emabega mukole ebiraamo okuwonya abaana bammwe okubbibwa n'obutafuna mu ntuuyo zammwe

Bala3 220x290

Abaabadde ne Prince Omar ng'akwata...

OMUYIMBI amanyiddwa nga Prince Omar bwe yabadde akola vidiyo ye abaamuwerekeddeko baalidde emichomo gyennyama kw'ossa...