TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ebintu abazadde abalinawo bye bassaako essira mu kufumbiza omuwala

Ebintu abazadde abalinawo bye bassaako essira mu kufumbiza omuwala

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd October 2018

Ebintu abazadde abalinawo bye bassaako essira mu kufumbiza omuwala

Hab2 703x422

“..NZE kale ne mmala ndeeta omulenzi wange ne bamugaana olw’obutatuukiriza bisaanyizo bazadde bange bye baagala ηηenda naye lwa mpaka ne tulaba gye banzigya..,” bwatyo omuwala ono eyategeerekese nga Maureen bwe yagambye banne bwe yabadde nabo, bwe twabadde mu takisi edda e Kireka.

Wadde banne baagezezzaako okumugamba nti okujeemera abazadde kikyamu nga naye abaddamu nti eby’abazadde okusiimira abaana baabwe ababeezi byakoma dda. Maureen yagasseeko nti; mukimanyi nti abawala bangi abalemedde awaka naye ng’entabwe evudde ku bazadde baabwe?

Yagambye nti abazadde ensangi zino bassaawo obukwakkulizo bungi ku musajja gwe baagala atwale muwala waabwe, oluusi okukkakkana ng’omuwala asigadde ku luggya.

Ssenga Hamidah Namatovu alambika abantu mu nsonga z’obufumbo yagambye nti waliwo obukwakkulizo abazadde ennaku zino bwe bateeka ku basajja abaagala okuwasa bawala baabwe ne bibalemesa era okukkakkana ng’abawala badibidde ku luggya.

Obumu ku bukwakkulizo n’ebibuuzo abazadde bye babuuza mulimu; 1 Omusajja yazimba oba akyapangisa? Abazadde bangi tebaagala bawala baabwe kugenda na musajja nga tannazimba. Kino oluusi kikanga omusajja naddala nga tannazimba era bawunzika babivuddeko ne weesanga ng’omuwala bamufunidde omusajja gw’atayagala olw’okuba yazimba so nga mu butuufu bw’obeera n’omuntu gw’oyagala musobola okwezimba nga muli basanyufu.

2 Ku akawunti ye kuliko ssente mmeka? Waliwo abazadde abatayagala kulaba baana baabwe nga babonaabona ng’ate bo bakyalina ssente ezisobola okubalabirira. Ab’ekika kino bwe bamanya nti omusajja ayogereza muwala waabwe taweza ssente ku akawunti nga bamumugaana. Ate abamu tebakoma ku ssente kubeera ku akawunti, baba baagala n’okumanya amakubo g’aggyamu ssente ezo bakakase oba ddala anaalabirira omwana waabwe.

3 Omusajja avuga mmotoka kika ki? Abazadde abamu baba baagala okumanya oba omusajja alina ku kiraasi.

Era bw’aba talina mmotoka bayinza okuwaliriza muwala waabwe okumuleka, kuba kabonero akalaga nti musajja mwavu, ajja okulabya muwala waabwe ennaku. Eno y’ensonga lwaki abavubuka abamu bw’aba n’omuwala gw’akwana, yeeyazika emmotoka ku mikwano oba okugipangisa okulaga omuwala nti avuga.

4 Akkiririza mu famire pulaaningi. Kino kisinga kubeera mu bamaama. Bano baba tebaagala bawala baabwe kubazaalamu baana bangi nga batya nti bayinza okukaddiwa amangu. Bano baagala waakiri omuwala azaale abaana babiri oba basatu, olwo omuwala adde ku famire pulaaningi. Wabula ensonga eno etera okutiisa abasajja naddala abaagala okuzaala abaana abawera era bw’alaba omuwala ne bazadde be ekya famire bakiremeddeko, ayinza okusalawo omuwala okumukyawa.

5 Omusajja anaakuwa eddembe okujjanga okutulaba buli w’onooyagalira? Waliwo bamaama abatayagala bawala baabwe kubava ku lusegere. Ow’ekika kino bw’afumbiza omuwala era aba ayagala agere akaseera akomewo awaka abalabeko era bwe kiba kisoboka bamukkirize asule.

Bano bateerawo abako akakwakkulizo okubakkirizanga okukomawo awaka okulaba ku bazadde n’oluusi okumutumya agende abalabeko n’okugenda ku mikolo egitegekeddwa ewaabwe. Kino abasajja kibakaluubiriza kubanga, omukyala okugenda ewaabwe kiba kitegeeza kubagulira bintu, ggwe ate omuwala aba anaagenda ngalo nsa? Kino nakyo kikanga omusajja kubanga abasajja abasinga bw’awasa aba amanyi nti y’alina obuyinza ku mukyala we so si bazadde be.

6 Omusajja anaasobola okutuwa ebintu bye tukwagalamu? Waliwo abazadde abasaba abasajja olukunkumuli lw’ebintu bye baagala mu bawala baabwe ne bakutama. Abazadde bangi baagala omusajja abagulire buli kintu kye batalina waka okugeza ng’emmotoka, ente, entebe, fi riigi, abamu basaba n’okubazimbira ennyumba ya kalina ng’omusajja atasobola kubawa bintu ebyo ebyokutwala muwala waabwe abiveeko.

Kino oluusi kikaluubiriza abasajja naddala abo ababeera bakyezimba era weesanga nga ku kyalo kuliko omuwala abantu gwe baakazaako erya ‘Nabintu’ ng’atabirina tamutwala ne weesanga nti mukazi wattu ne bwe yandyagadde okufumbirwa omuntu gw’asiimye abazadde bamulemesa n’afuuka ekisekererwa ku kyalo anti nga banne bafumbirwa bamulekawo.

7 Omusajja akola mulimu ki? Abazadde abamu balina emirimu gye baagala abasajja abeegwanyiza bawala baabwe gye balina okukola. Waliwo abazadde abaagala abasajja nga bakola emirimu nga badokita, ababaka ba palamenti, bayinginiya, abavuzi b’ennyonyi n’abakozi b’emirimu emirala gye tuyita egy’ebbeeyi.

Kino kiremesa abantu abalala okufuna omukisa olw’okuba tebakola mirimu bazadde ba muwala gye bataagala so ng’omulimu gwonna bw’oba ng’osobola okufunamu ssente ezikumala ne famire yo teweetaaga kujulirira bakola mu banka. 8 Omusajja yasoma kyenkana ki? Mu butuufu waliwo abazadde abayitiriza amateeka n’obukwakkulizo ne bakutama.

Osanga omuzadde nga ye yalayira nti omusajja alitwala muwala we alina okuba nga yasoma nnyo ebitabo n’afuna ne diguli, kyokka nga bano bw’otunula mu ggwanga be batono. Kino kiremesa nnyo abasajja abatafuna mukisa kusoma kufuna diguli so ng’omuntu bw’asoma n’atuuka ku yunivasite tumubalira mu bayivu.

9 Omusajja gw’oleeta asoma ddiini ki? Guno omuze okusinga gubeera nnyo mu bataata abalina ku nsimbi abasimbira abaana baabwe amakuuli naddala ssinga aleeta omusajja nga si wa nzikiriza ye. Osanga Omusiraamu ng’ayagala muwala we aleete omusajja nga naye Musiraamu n’Omukatuliki bwatyo.

Kino kireetawo okusosola mu nzikiriziganya ne kiremesa omuwala okugenda n’omuntu ye gw’alaba nti ye mutuufu n’agenda n’oweddiini kitaawe gy’ayagala n’atafuna mirembe awaka. Ssenga Hamidah Namatovu agamba nti tekyandibadde kibi abazadde kumanya oyo atwala muwala waabwe n’ebimukwatako wabula tebalina kubalingiriza.

Omusajja bw’abeera mulamu bulungi n’omanya n’abantu be gye bamuzaala nga tebalina buzibu, ng’alina ne ku ssente ezisobola okulabirira muwala wo n’atasiiba oba natasula njala, tewali nsonga lwaki osalira omusajja ssente z’alina okubeera nazo okuwasa muwala wo kubanga waliwo n’abalina ssente ennyingi naye ng’awaka tewali ssanyu kyokka nga be tutwala ng’abaavu ekibanyiriza mirembe na kwekkiririzaamu. Noolwekyo, ssinga abazadde tebakyuseemu ku bukwakkulizo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Allegri2 220x290

Allegri ayagala kukola na Evra...

Allegri ayagala bamuwe ogw'okutendeka ManU era agamba ni waakukola ne Evra.

Rape2 220x290

Ebibonerezo 12 ebiteereddwa ku...

WALIWO ebibonerezo ebikakali ebiteekeddwa mu bbago ly’etteeka ly'akaboozi nga ssinga omuntu omusango gumusinga...

Tteeka1 220x290

Ebintu 10 ebivaako abakazi okwetamwa...

Omukazi ayinza okukyawa akaboozi oba obutabeera mu mbeera za kwegatta olw’ensonga ezitali zimu.

Genda 220x290

Sheikh Muzaata: Kuva dda nga musajja...

SHEIKH NUHU MUZAATA Batte yazaalibwa mu myaka gya 1950 e Bwayise mu Lufula Zooni okumpi ne Kimombasa mu maka g'omugenzi...

Tteeka2 220x290

Baleese etteeka ku kunyumya akaboozi...

GGWE ssebo abadde alowooleza mu bya, ‘omusajja tammwa kantu’, bukukeeredde! Palamenti ereese etteeka mw’osobola...